M’Cheyne Bible Reading Plan
Keezeekiya Atukuza Yeekaalu
29 (A)Keezeekiya yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka; n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Abiya muwala wa Zekkaliya. 2 (B)Keezeekiya n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola.
3 (C)Mu mwaka gwe ogwasooka, mu mwezi ogw’olubereberye, n’aggulawo enzigi za yeekaalu ya Mukama, n’aziddaabiriza. 4 N’ayingiza bakabona n’Abaleevi, n’abakuŋŋaanyiza mu luggya olugazi ku luuyi olw’ebuvanjuba, 5 (D)n’abagamba nti, “Mumpulirize Abaleevi, kaakano mwetukuze, ate mutukuze ne yeekaalu ya Mukama Katonda wa bajjajjammwe, muggye buli kitali kirongoofu mu watukuvu. 6 (E)Bajjajjaffe baayonoona, ne bakola ebitali birungi mu maaso ga Mukama Katonda waffe ne bamuvaako. Baggya amaaso gaabwe ku kifo Mukama gy’abeera, ne bamukuba amabega. 7 Baggalawo n’enzigi ez’ekisasi ne bazikiza n’ettabaaza, so tebootereza bubaane wadde okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa mu watukuvu eri Katonda wa Isirayiri. 8 (F)Obusungu bwa Mukama kyebwava bukka ku Yuda ne ku Yerusaalemi, era abafudde ekikangabwa, n’ekisekererwa era ekinyoomebwa, nga bwe mulaba n’amaaso gammwe. 9 (G)Bajjajjaffe kyebaava bagwa n’ekitala, ate batabani baffe, ne bawala baffe ne bakyala baffe bo ne batwalibwa mu busibe. 10 (H)Kaakano mmaliridde mu mutima gwange okukola endagaano ne Mukama, Katonda wa Isirayiri obusungu bwe obw’amaanyi butuveeko. 11 (I)Batabani bange temuddangayo kulagajjala nate, kubanga Mukama abalonze okuyimiriranga mu maaso ge okumuweerezanga, n’okumwoterezanga obubaane.”
12 (J)Awo Abaleevi ne batandika okukola era baali:
Makasi mutabani wa Amasayi,
ne Yoweeri mutabani wa Azaliya ab’omu lulyo lwa Bakokasi,
ne Kiisi mutabani wa Abudi,
ne Azaliya mutabani wa Yekalereri ab’omu lulyo lwa Merali,
ne Yowa mutabani wa Zimma,
ne Adeni mutabani wa Yowa ab’omu lulyo lwa Bagerusoni,
13 (K)ne Simuli ne Yeyeri
bazzukulu ba Erizafani,
ne Zekkaliya ne Mattaniya,
bazzukulu ba Asafu,
14 ne Yekweri ne Simeeyi,
bazzukulu ba Kemani,
ne Semaaya ne Wuziyeeri
bazzukulu ba Yedusuni.
15 (L)Ne bakuŋŋaanya baganda baabwe, ne beetukuza bo bennyini, n’oluvannyuma ne bayingira okutukuza yeekaalu ya Mukama nga kabaka bwe yali alagidde, ng’agoberera ebigambo bya Mukama. 16 (M)Bakabona ne bayingira mu watukuvu wa Mukama ne batukuzaamu. Ne bafulumya ebitaali birongoofu byonna ebyasangibwa mu yeekaalu ya Mukama ne babiteeka mu luggya lwa yeekaalu ya Mukama, Abaleevi ne babitwala ebweru mu Kiwonvu Kiduloni. 17 Okutukuza ne kutandika ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’olubereberye; ku lunaku olw’omunaana mu mwezi ogwo ne batuuka ku kisasi kya Mukama. Ne bamala ennaku munaana nga batukuza yeekaalu ya Mukama; ku lunaku olw’ekkumi n’omukaaga olw’omwezi ogw’olubereberye ne bamaliriza.
18 Awo ne bagenda eri kabaka Keezeekiya ne bamutegeeza nti, “Tutukuzizza yeekaalu ya Mukama yonna, ekyoto eky’okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebintu byakwo byonna, n’emmeeza ey’emigaati egy’okulaga n’ebintu byakwo byonna. 19 (N)N’ebintu byonna kabaka Akazi bye yaggyamu olw’obutali bwesigwa bwe, tubiteeseteese ne tubitukuza, era laba biri mu maaso g’ekyoto kya Mukama.”
20 Awo bwe bwakya, enkeera kabaka Keezeekiya n’akuŋŋaanya abakungu ab’omu kibuga, ne balaga mu yeekaalu ya Mukama. 21 (O)Ne baleeta ente ennume musanvu, n’endiga ennume musanvu, n’endiga ento nga nnume musanvu, n’embuzi ennume musanvu okuba ebiweebwayo olw’ekibi ku lw’obwakabaka, ne ku lwa watukuvu, ne ku lwa Yuda. N’alyoka alagira bakabona, bazzukulu ba Alooni okubiweerayo ku kyoto kya Mukama. 22 (P)Awo ne batta ente ennume, bakabona ne baddira omusaayi ne bagumansira ku kyoto, oluvannyuma ne batta endiga ennume ne bamansira omusaayi gwazo ku kyoto, n’oluvannyuma ne batta n’endiga ento ne bamansira omusaayi gwazo ku kyoto. 23 (Q)Embuzi ennume ezaali ez’ekiweebwayo ku lw’ekibi ne zireetebwa mu maaso ga kabaka n’ekibiina, ne bazisaako emikono gyabwe, 24 (R)n’oluvannyuma bakabona ne bazitta, ne bawaayo omusaayi gwazo ng’ekiweebwayo olw’ekibi ku kyoto, okutangiririra Isirayiri yenna, kubanga kabaka yali alagidde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo olw’ekibi ku lwa Isirayiri yenna.
25 (S)N’ateeka Abaleevi mu yeekaalu ya Mukama nga balina ebitaasa, entongooli, n’ennanga, ng’ekiragiro kya Dawudi, ne Gaadi omulabi wa kabaka ne Nasani nnabbi bwe kyali; kubanga ekiragiro ekyo kyava eri Mukama ng’ayita mu bannabbi be. 26 (T)Awo Abaleevi ne bayimirira nga bakutte ebivuga bya Dawudi, ne bakabona nga bakutte amakondeere.
27 (U)Keezeekiya n’alagira okuwaayo ssaddaaka ey’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. Era okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa bwe kwatandika, abayimbi nabo ne batandika okuyimbira Mukama, n’amakondeere n’ebivuga ebirala ebya Dawudi kabaka wa Isirayiri nabyo ne bivuga. 28 Ekibiina kyonna ne basinza, abayimbi ne bayimba, n’abamakondeere ne bagafuuwa, era ebyo byonna ne byongerwa okukolebwa okutuusa okuwaayo ssaddaaka ey’ekiweebwayo ekyokebwa bwe kwaggwa.
29 (V)Awo okuwaayo ebiweebwayo bwe kwaggwa, kabaka n’abo bonna abaaliwo ne bavuunama ne basinza. 30 Kabaka Keezeekiya n’abakungu ne balagira Abaleevi okuyimba nga batendereza Mukama mu bigambo bya Dawudi n’ebya Asafu omulabi. Ne bayimba nga batendereza n’essanyu, ne bavuunama ne basinza.
31 (W)Awo Keezeekiya n’ayogera nti, “Kaakano mwetukuzizza eri Mukama, musembere, muleete ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokwebaza mu yeekaalu ya Mukama.” Ekibiina ne kireeta ssaddaaka n’ebiweebwayo eby’okwebaza, n’abo bonna abeesiimira ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa.
32 Omuwendo gw’ebiweebwayo ebyokebwa ekibiina gwe kyaleeta gwali ente ennume nsanvu, n’endiga ennume kikumi, n’endiga ento nga nnume ebikumi bibiri, ng’ebyo byonna bye byali ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama. 33 N’ensolo ezatukuzibwa okuba ssaddaaka zaali ente ennume lukaaga, n’endiga enkumi ssatu. 34 (X)Wabula bakabona ne baba batono ne batayinza kubaaga biweebwayo ebyokebwa byonna, baganda baabwe Abaleevi ne babayambako okutuusa bakabona abalala bwe beetukuza; omulimu ne guggwa, kubanga Abaleevi baali beegendereza nnyo mu kwetukuza okusinga bakabona. 35 (Y)Ebiweebwayo ebyokebwa bingi, wamu n’amasavu ag’ebiweebwayo olw’emirembe, n’ebiweebwayo ebyokunywa ebyawerekerezebwa ku biweebwayo ebyokebwa.
Okuweereza mu yeekaalu ya Mukama ne kuzzibwawo. 36 Awo Keezeekiya n’abantu bonna ne bajaguza olw’ekyo Katonda kye yali akoledde abantu be mu bbanga ettono ennyo.
Bamalayika Omusanvu n’Ebibonoobono Omusanvu
15 (A)Awo ne ndaba akabonero akalala mu ggulu ak’amaanyi era nga ka kitalo bamalayika omusanvu nga balina ebibonoobono musanvu, olwo ekiruyi kya Katonda kiryoke kituukirire. 2 (B)Awo ne ndaba ekifaanana ng’ennyanja etangalijja ng’eri ng’endabirwamu erimu omuliro, era ku nnyanja eyo kwali kuyimiriddeko abo abaali bawangudde ekisolo n’ekifaananyi kyakyo awamu n’akabonero ak’omuwendo gwakyo, nga bakutte ennanga Katonda ze yabawa. 3 (C)Baali bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n’oluyimba lw’Omwana gw’Endiga nga lugamba nti,
“Ebikolwa byo bikulu era bya kyewuunyo,
ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna.
Amakubo go matukuvu era ga mazima,
ayi ggwe Kabaka w’amawanga.
4 (D)Ani ataakutye Ayi Mukama,
n’atagulumiza linnya lyo?
Ggwe wekka gwe Mutukuvu,
amawanga gonna galijja
ne gasinziza mu maaso go,
Kubanga ebikolwa byo eby’obutuukirivu birabise.”
5 (E)Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba Yeekaalu ng’eggaddwawo, lye kkuŋŋaaniro ly’obujulirwa mu ggulu. 6 (F)Awo bamalayika omusanvu abaalina ebibonoobono omusanvu ne bafuluma mu Yeekaalu nga bambadde engoye eza linena ennyonjo nga zimasamasa era nga beesibye mu bifuba byabwe enkoba eza zaabu. 7 (G)Ekimu ku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bijjudde ekiruyi kya Katonda omulamu era abeera omulamu emirembe n’emirembe. 8 (H)Awo Yeekaalu n’ejjula omukka ogwava mu kitiibwa kya Katonda n’emu maanyi ge, so tewaali muntu n’omu eyayinza okuyingira mu Yeekaalu okutuusa ebibonoobono omusanvu ebya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira.
11 (A)Ggulawo enzigi zo ggwe Lebanooni,
omuliro gwokye emivule gyo.
2 (B)Kaaba ggwe omuberosi, kubanga emivule gigudde!
Emiti emirungi ennyo gyonoonese.
Mukube ebiwoobe mmwe emyera gya Basani,
kubanga ekibira ekikwafu kigudde.
3 (C)Wuliriza ebiwoobe by’abasumba,
amalundiro gaabwe amalungi gazikirizibbwa.
Wuliriza okuwuluguma kw’empologoma.
Omuddo omulungi oguli ku Yoludaani guzikirizibbwa.
Abasumba Ababiri
4 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wange nti, “Lunda endiga zigejje ezinaatwalibwa okuttibwa. 5 (D)Abo abazigula bazitta ne batabaako musango. N’abo abazitunda ne bagamba nti, ‘Mukama atenderezebwe ngaggawadde!’ Abasumba baazo bennyini tebazikwatirwa kisa. 6 (E)Kubanga sikyaddayo kukwatirwa bantu ba nsi eno kisa,” bw’ayogera Mukama. “Ndiwaayo buli muntu okugwa mu mikono gya muliraanwa we, ne mu mikono gya kabaka we. Nabo balijooga ensi era sirigiwonya kuva mu mikono gwabwe.”
7 Awo ne nunda ekisibo ekyateekebwateekebwa okuttibwa, okusingira ddala ezaali zijoogebwa. Ne ntwala emiggo gy’abasumba ebiri, ogumu ne ngutuuma erinnya Kisa, omulala ne ngutuuma Kwegatta era ne ndiisa endiga. 8 Mu mwezi gumu ne neegobako abasumba basatu, emmeeme yange ng’ebakyaye era nabo nga bankyaye. 9 (F)Awo ne ndyoka ŋŋamba nti, “Siibeere musumba wammwe, ekinaafa leka kife, ekyokwonooneka kyonooneke, era leka ebyo ebisigaddewo biryaŋŋane, buli kimu kirye kinnaakyo.”
10 (G)Ne ndyoka nkwata omuggo gwange Kisa ne ngumenya, ne mmenya endagaano gye nnali nkoze n’abantu bonna. 11 Endagaano n’agikomya ku lunaku olwo era abasuubuzi b’endiga abaali bandaba ne bamanya nti ekyo kyali kigambo kya Katonda.
12 (H)Ne ndyoka mbagamba nti, “Bwe kiba nga kisaanidde mu maaso gammwe mumpe empeera yange; naye obanga temusiimye mulekeeyo.” Awo ne bambalira ensimbi eza ffeeza amakumi asatu.
13 (I)Awo Mukama n’aŋŋamba nti, “Zisuulire omubumbi,” omuwendo guno ogw’ekitalo gwe bansasula! Kale ne ntwala ensimbi amakumi asatu eza ffeeza ne nzisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama.
14 Awo ne mmenya omuggo gwange ogwokubiri Kwegatta, okulaga nti obumu obwali wakati wa Yuda ne Isirayiri bwali bukomye. 15 Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Twala nate ebintu eby’omusumba omusirusiru bye yandikozesezza. 16 Kubanga laba, nze nyimusizza omusumba mu nsi atafaayo ku ndiga ezizikirira era atanoonya zisaasaanye, era atayunga zimenyese wadde okuliisa ennamu, naye alya ensolo ensava ng’aziyuzaako ebinuulo.
17 (J)“ ‘Zimusanze omusumba wange ataliiko ky’agasa
agayaalirira ekisibo!
Ekitala kifumite omukono gwe ogwa ddyo, kiggyemu n’eriiso lye erya ddyo!
Omukono gwe gukalire ddala,
n’eriiso lye erya ddyo lizibire ddala!’ ”
Yesu Agumya Abayigirizwa be
14 (A)“Omutima gwammwe tegweraliikiriranga. Mukkiriza Katonda, era nange munzikirize. 2 (B)Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebisenge bingi, era ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Singa tekiri bwe kityo nandibagambye. 3 (C)Bwe ndimala okubateekerateekera ekifo ndikomawo, ne mbatwala gye ndi, Nze gye ndi nammwe gye muba mubeera. 4 Era gye ŋŋenda ekkubo mulimanyi.”
Yesu ly’Ekkubo Erituusa Abantu eri Kitaawe
5 (D)Tomasi n’amugamba nti, “Mukama waffe, tetumanyi gy’olaga, kale tuyinza tutya okumanya ekkubo?”
6 (E)Yesu n’addamu nti, “Nze kkubo, n’amazima n’obulamu. Tewali n’omu ajja eri Kitange wabula ng’ayita mu Nze. 7 (F)Singa muntegedde ne Kitange mwandimutegedde. Era okuva kaakano mumulabye era mumutegedde.”
8 Firipo n’amugamba nti, “Mukama waffe, tulage Kitaffe, kinaatumala.”
9 (G)Yesu n’amugamba nti, “Firipo, kasookedde mbeera nammwe ebbanga lino lyonna era tontegeeranga? Buli alaba Nze aba alabye Kitange! Kale lwaki ate oyogera nti, ‘Tulage Kitaffe?’ 10 (H)Tokkiriza nga Nze ndi mu Kitange era ne Kitange ali mu Nze? Ebigambo bye mbategeeza si byange ku bwange, wabula biva eri Kitange abeera mu Nze, era akola emirimu ng’ayita mu Nze. 11 (I)Kale munzikirize nti ndi mu Kitange era nga ne Kitange ali mu Nze. Oba si ekyo munzikirize olw’emirimu gyokka.
12 (J)“Ddala ddala mbagamba nti buli anzikiriza alikola emirimu egyo gye nkola, era alikola egisinga egyo, kubanga Nze ŋŋenda eri Kitange. 13 (K)Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. 14 Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga.”
Okusuubizibwa Mwoyo Mutukuvu
15 (L)“Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange, 16 (M)nange ndisaba Kitange n’abawa Omubeezi omulala anaabeeranga nammwe emirembe n’emirembe, 17 (N)Mwoyo ow’Amazima ensi gwe teyinza kufuna, kubanga temulaba era temumanyi. Naye mmwe mumumanyi kubanga abeera nammwe, era anaabeeranga mu mmwe. 18 (O)Siribaleka nga bamulekwa, ndikomawo gye muli. 19 (P)Mu bbanga ttono, ensi eneeba tekyandaba, naye mmwe nga mundaba. Kubanga Nze ndi mulamu, era nammwe muliba balamu. 20 (Q)Ku lunaku olwo mulitegeera nga Nze ndi mu Kitange, era nga muli mu Nze, nga nange ndi mu mmwe. 21 (R)Buli anjagala anaagonderanga ebiragiro byange; era kubanga anjagala, ne Kitange anaamwagalanga. Era nange nnaamwagalanga, era nnaamulabikiranga.”
22 (S)Yuda, atali Isukalyoti n’amugamba nti, “Mukama waffe, lwaki oyagala okweraga eri ffe so si eri ensi?” 23 (T)Yesu n’amuddamu nti, “Omuntu yenna anjagala anaagonderanga ekigambo kyange, ne Kitange anaamwagalanga, era Nze ne Kitange tunajjanga ne tubeera mu ye era tunaatuulanga mu ye. 24 (U)Oyo atanjagala tagondera bigambo byange. Ate ebigambo bye njogera si byange ku bwange wabula bya Kitange eyantuma. 25 Ebyo mbibabuulidde nga nkyali nammwe. 26 (V)Naye Omubeezi, Mwoyo Mutukuvu, Kitange gw’alituma mu linnya lyange, bw’alijja alibayigiriza ebintu byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba. 27 (W)Mbalekera emirembe, era mbawa emirembe gyange. Emirembe gye mbawa tegiringa egy’ensi. Noolwekyo temutyanga era temweraliikiriranga.
28 (X)“Mujjukire kye n’abagamba nti ŋŋenda era ndikomawo gye muli. Singa ddala mubadde munjagala mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange, kubanga Kitange y’ansinga ekitiibwa. 29 (Y)Kaakano mbabuulidde ebintu bino nga tebinnabaawo, bwe birituukirira mulyoke munzikirize. 30 (Z)Sikyayogera bintu bingi nammwe, kubanga omufuzi omubi ow’ensi eno ajja. Naye Nze tanninaako buyinza. 31 (AA)Kyokka ensi eryoke emanye nti njagala Kitange, nzija kukola Kitange ky’andagidde.
“Musituke tuve wano.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.