Add parallel Print Page Options

25 (A)Mukama anaakulekeranga abalabe bo ne bakuwangulanga. Onoobalumbiranga mu kkubo limu, kyokka n’obadduka ng’obunye emiwabo mu makubo musanvu. Olifuuka kyakikangabwa mu maaso g’amawanga gonna ag’oku nsi.

Read full chapter

18 (A)Ne baleka yeekaalu ya Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, ne baweerezanga Baasera n’ebifaananyi, obusungu bwa Katonda kyebwava bubuubuukira ku Yuda ne Yerusaalemi.

Read full chapter

16 (A)Ensi yaabwe ya kusigala matongo,
    ekintu eky’okusekererwa emirembe gyonna,
abo bonna abayise balyewuunya
    era ne banyeenya emitwe gyabwe.

Read full chapter

(A)Ndidibaga ekibuga kino ne nkifuula eky’okusekererwa, n’abo bonna abayitawo bennyamire era baseke olw’ebiwundu byakyo byonna.

Read full chapter

(A)nzija kukoowoola abantu bonna ab’omu bukiikakkono n’omuddu wange Nebukadduneeza, balumbe ensi eno n’abantu baamu era n’ensi zonna ezibeetoolodde. Nzija kuzizikiririza ddala nzifuule ekintu eky’entiisa era eky’okusekererwa, era zoonoonekere ddala.

Read full chapter

18 (A)Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda, ne bakabaka baabyo n’abakungu basaanewo era bafuuke ekintu eky’entiisa n’okuzikirira, n’okusekererwa n’ekikolimo nga bwe bali kaakano.

Read full chapter