M’Cheyne Bible Reading Plan
Emyaka gya Asa egyasembayo
16 (A)Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omukaaga ogw’obufuzi bwa Asa, Baasa kabaka wa Isirayiri n’alumba Yuda, n’azimba ebigo ku Laama okuziyiza omuntu yenna okuyingira wadde okufuluma mu nsalo ya Asa kabaka wa Yuda.
2 Awo Asa n’addira ffeeza ne zaabu ebyali mu mawanika ga yeekaalu ya Mukama, n’ebyali mu lubiri lwa kabaka, n’abiweereza Benikadadi kabaka w’e Busuuli, eyabeeranga e Ddamasiko, n’aweereza n’obubaka nti, 3 (B)“Wabeerewo endagaano wakati wo nange, ng’eri eyaliwo wakati wa kitange ne kitaawo. Laba, nkuweerezza ffeeza ne zaabu omenyewo endagaano yo wakati wo ne Baasa kabaka wa Isirayiri, anveeko.”
4 Benikadadi n’akkiriziganya ne kabaka Asa, era n’aweereza abaduumizi b’eggye lye okulumba ebibuga bya Isirayiri; ne bawamba Yiyoni, ne Ddaani ne Aberumayimu, n’ebibuga byonna eby’amaterekero ebya Nafutaali. 5 Awo Baasa bwe yawulira ekyo, n’alekeraawo okuzimba mu Laama, n’omulimu n’agukomya. 6 Kabaka Asa n’aleeta Yuda yenna e Laama, ne baggyayo amayinja n’embaawo Baasa bye yali azimbisa, Asa n’abikozesa okuzimba Geba ne Mizupa.
7 (C)Mu biro ebyo Kanani omulabi n’ajja eri Asa kabaka wa Yuda, n’amugamba nti, “Olw’okwesiga kabaka w’e Busuuli mu kifo ky’okwesiga Mukama Katonda wo, eggye lya kabaka w’e Bwasuli kyelivudde likuddukako. 8 (D)Abaesiyopiya n’Abalubimu tebaali ggye ddene nga balina amagaali mangi n’abeebagala embalaasi bangi? Naye, olwokubanga weesiga Mukama, kyeyava abagabula mu mukono gwo. 9 (E)Kubanga amaaso ga Mukama galaba wonna mu nsi, nga ganyweza emitima gy’abo abamwesigira ddala. Ky’okoze kya busirusiru, era okuva ne leero ojja kubeeranga n’entalo.”
10 Awo Asa n’anyiigira nnyo omulabi, n’amuteeka ne mu kkomera. Mu kiseera kye kimu Asa n’ayisa bubi nnyo abantu abamu.
11 Ebyafaayo eby’obufuzi bwa Asa okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri. 12 (F)Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwenda ogw’obufuzi bwe, Asa n’alwala ebigere. Newaakubadde ng’obulwadde bweyongera, teyanoonyanga buyambi okuva eri Mukama, yabunoonyanga mu basawo bokka. 13 Awo mu mwaka ogw’amakumi ana mu ogumu ogw’obufuzi bwe, Asa ne yeebakira awamu ne bajjajjaabe. 14 (G)N’aziikibwa mu ntaana gye yali yeezimbidde mu kibuga kya Dawudi. Ne bamuteeka ku kitanda ekyaliko obuloosa obwenjawulo n’obuwoowo obwa buli kika, ne bamukumira n’ekyoto ky’omuliro kinene nnyo okujjukira bye yakola.
Omuzingo gw’Ekitabo n’Omwana gw’Endiga
5 (A)Awo ne ndaba omuzingo gw’ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw’Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka, nga guwandiikiddwamu munda ne kungulu era nga guteekeddwako obubonero bw’envumbo musanvu. 2 Ne ndaba malayika ow’amaanyi ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’abuuza nti, “Ani asaanidde okubembulula obubonero obusibiddwa ku muzingo gw’ekitabo guno alyoke aguzingulule?” 3 Ne wataba n’omu mu ggulu newaakubadde ku nsi, wadde wansi w’ensi, eyayinza okugwanjuluza wadde okugutunulamu. 4 Awo ne nkaaba amaziga mangi, kubanga tewaalabikawo n’omu eyasaanira okwanjuluza omuzingo newaakubadde okugutunulamu. 5 (B)Awo omu ku bakadde abiri mu abana n’aŋŋamba nti, “Lekeraawo okukaaba, kubanga, laba, empologoma ey’omu kika kya Yuda, ow’omu lulyo lwa Dawudi, yawangula, era y’ayinza okukutula obubonero omusanvu obw’envumbo n’okuzingulula omuzingo gw’ekitabo.”
6 (C)Ne ndaba nga ali ng’Omwana gw’Endiga ng’attiddwa ng’ayimiridde wakati w’entebe ey’obwakabaka n’ebiramu ebina, ne wakati w’abakadde, ng’alina amayembe musanvu n’amaaso musanvu, gy’emyoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu buli kitundu eky’ensi. 7 (D)N’asembera n’aggya omuzingo gw’ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw’Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka. 8 (E)Bwe yagukwata, ebiramu ebina n’abakadde amakumi abiri mu abana, ne bagwa mu maaso g’Omwana gw’Endiga ne bavuunama, buli omu ng’alina ennanga era ng’akutte ekibya ekya zaabu, ekyali kijjudde obubaane obwakaloosa nga butegeeza okusaba kw’abantu abatukuvu. 9 (F)Baali bamuyimbira oluyimba oluggya nti,
“Ggw’osaanidde okutoola omuzingo gw’ekitabo,
n’okusumulula ebigusibye n’okuguzingulula,
kubanga wattibwa,
omusaayi gwo ne gununula abantu ba Katonda okubaggya mu buli kika,
na buli lulimi, na buli ggwanga, na buli nsi.
10 (G)N’obafuula obwakabaka ne bakabona ba Katonda okumuweerezanga,
era be balifuga ensi.”
11 (H)Awo ne ndaba era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika enkumi n’enkumi, n’enkuyanja nga beetoolodde entebe ey’obwakabaka awamu n’ebiramu biri n’abakadde bali. 12 (I)Ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
“Omwana gw’Endiga eyattibwa,
asaanidde okuweebwa obuyinza, n’obugagga, n’amagezi n’amaanyi,
n’ekitiibwa, n’ettendo n’okwebazibwa!”
13 (J)Ne ndyoka mpulira buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi ne wansi w’ensi ne mu nnyanja ne byonna ebigirimu nga bitendereza nti,
“Okutenderezebwa, n’ettendo, n’ekitiibwa,
n’amaanyi by’Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka awamu n’Omwana gw’Endiga,
Emirembe n’emirembe.”
14 (K)Ebiramu ebina ne biddamu nti, “Amiina.” N’abakadde ne bavuunama ne bamusinza.
Mukama ayita Abantu be okudda gy’ali
1 (A)Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo omufuzi w’e Buperusi mu mwezi ogw’omunaana, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi, nga kigamba nti:
2 (B)“Mukama yasunguwalira nnyo bajjajjammwe. 3 (C)Naye kaakano mubagambe nti: Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti, ‘Mudde gye ndi,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye, ‘nange nadda gye muli,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 4 (D)Temuba nga bajjajjammwe, bannabbi ab’edda be baakoowoolanga nti, ‘Muve mu makubo gammwe amabi, n’ebikolwa byammwe ebikyamu.’ Naye tebampuliriza wadde okuŋŋondera, bw’ayogera Mukama. 5 Ye bajjajjammwe bali ludda wa? Ye bannabbi babeera balamu emirembe gyonna? 6 (E)Ebigambo byange n’ebiragiro bye nalagira abaddu bange, bannabbi, eri bajjajjammwe tebyatuukirira?
“Ne balyoka beenenya ne bagamba nti, ‘Mukama ow’Eggye bye yasuubiza okutukola olw’empisa zaffe embi n’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu, bw’atyo bw’atukoledde ddala.’ ”
Nnabbi Ayolesebwa Embalaasi
7 Ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya, mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu gwe bayita Sebati, mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya mutabani wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi nga kigamba nti.
8 (F)Nalaba ekiro ng’omusajja yeebagadde embalaasi emyufu era yali ayimiridde mu miti emikadasi mu kiwonvu. Emabega we waaliyo embalaasi endala, enjeru, n’eza kikuusikuusi, n’emyufu.
9 (G)Awo ne mbuuza nti, “Mukama wange bino bitegeeza ki?” Malayika eyali ayogera nange n’aŋŋamba nti, “Nzija kukulaga kye bitegeeza.”
10 (H)Awo omusajja eyali ayimiridde mu miti n’addamu nti, “Ezo embalaasi Mukama z’asindise okulawuna ensi.” 11 (I)Ne ziddamu malayika wa Mukama eyali ayimiridde mu miti nti, “Tubunye ensi yonna, era laba ensi yonna esiriikiridde teriimu kanyego eteredde mirembe.”
12 (J)Awo malayika wa Mukama n’agamba nti, “Ayi Mukama ow’Eggye, olituusa ddi obutakwatirwa Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda kisa, by’osunguwalidde okumala emyaka ensanvu?” 13 (K)Mukama n’alyoka addamu malayika eyali ayogera nange ebigambo ebirungi, ebigambo ebizzaamu amaanyi.
14 (L)Awo malayika eyali ayogera nange n’agamba nti, “Langirira ogambe nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Yerusaalemi ne Sayuuni mbikwatiririddwa obuggya obw’amaanyi, 15 (M)naye nyiigidde nnyo amawanga agali mu mirembe, kubanga abantu bange nnali mbanyiigiddeko katono naye bo ne bababonyaabonyeza ddala.’
16 (N)“Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nkomyewo mu Yerusaalemi n’ekisa. Ennyumba yange ne Yerusaalemi kyonna, bijja kuzimbibwa,’ bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
17 (O)“Yogera n’eddoboozi ery’omwanguka nti, Mukama Katonda ow’Eggye alangiridde nti, ‘Ebibuga byange bijja kuddamu okukulukuta obugagga, era Mukama alizzaamu Sayuuni amaanyi, ne yeeroboza Yerusaalemi.’ ”
18 Awo ne nnyimusa amaaso gange, era laba, ne ndaba amayembe ana. 19 (P)Malayika eyali ayogera nange ne mubuuza nti, “Amayembe ago gategeeza ki?”
N’anziramu nti, “Gategeeza obuyinza obwasaasaanya abantu ab’omu Yuda, n’ab’omu Isirayiri, n’ab’omu Yerusaalemi.”
20 Awo Mukama n’andaga abaweesi bana. 21 (Q)Ne mbuuza nti, “Abo bazze kukola ki?”
N’addamu nti, “Ago amayembe, bwe buyinza obwasaasaanya Yuda nga tewali na muntu ayimusa mutwe gwe; naye abaweesi abana bazze okubatiisa era n’okubazikiriza, ago amawanga agaasitukira ku nsi ya Yuda okusaasaanya abantu baamu.”
Yesu n’Omukazi Omusamaliya
4 (A)Awo Yesu bwe yamanya nti Abafalisaayo bategedde nti abantu bangi bafuuse bayigirizwa be, era ng’abatiza bangi okusinga Yokaana, 2 newaakubadde nga Yesu yennyini teyabatiza wabula abayigirizwa be, be baabatizanga, 3 (B)n’ava e Buyudaaya n’addayo e Ggaliraaya.
4 Kyali kimugwanira okuyita mu Samaliya. 5 (C)Awo n’atuuka mu kibuga ky’e Samaliya ekiyitibwa Sukali, nga kiri kumpi n’ekibanja Yakobo kye yawa mutabani we Yusufu. 6 Awo we waali oluzzi lwa Yakobo. Yesu yali akooye olw’olugendo lwe yatambula, n’atuula awo ku luzzi. Obudde bwali ng’essaawa mukaaga ez’omu ttuntu.
7 Awo omukazi Omusamaliya bwe yajja okukima amazzi, Yesu n’amugamba nti, “Mpa ku mazzi nnyweko.” 8 (D)Mu kiseera ekyo abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugulayo ku mmere. 9 (E)Awo omukazi Omusamaliya n’amugamba nti, “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze Omusamaliya amazzi okunywa?” Kubanga Abayudaaya nga tebakolagana na Basamaliya. 10 (F)Yesu n’amuddamu nti, “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, n’oyo akugamba nti mpa nnywe ku mazzi bw’ali ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.”
11 Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, tolina kalobo, n’oluzzi luwanvu nnyo. 12 (G)Ate n’ekirala, ggwe oli mukulu okusinga jjajjaffe Yakobo eyatuwa oluzzi luno ate nga yanywangamu ye n’abaana be n’ensolo ze?”
13 Yesu n’amuddamu nti, “Buli muntu yenna anywa ku mazzi gano ennyonta eriddamu okumuluma. 14 (H)Naye buli anywa ku mazzi nze ge ndimuwa, talirumwa nnyonta emirembe gyonna era galifuuka mu ye ensulo etekalira, ne gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”
15 (I)Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, mpa ku mazzi ago, ennyonta eremenga kunnuma era nneme kujjanga wano kukima mazzi.”
16 Yesu n’amugamba nti, “Genda oyite balo, okomewo.”
17 Omukazi n’amuddamu nti, “Sirina baze!”
Yesu n’amugamba nti, “Oyogedde kituufu nti tolina balo. 18 Kubanga walina babalo bataano, naye oyo gw’olina kaakano si balo. Ekyo oyogedde mazima.”
19 (J)Omukazi n’agamba Yesu nti, “Ssebo, ndaba ng’oli nnabbi. 20 (K)Ku lusozi luno bajjajjaffe kwe baasinzizanga. Naye mmwe mugamba nti, Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.”
21 (L)Yesu n’amugamba nti, “Mukazi wattu nzikiriza, kubanga ekiseera kijja kye mutalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno wadde mu Yerusaalemi. 22 (M)Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya. 23 (N)Naye ekiseera kijja, era kituuse, abo abasinziza mu mazima bwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Kitaffe anoonya abo abamusinza era n’abo abamusinza kibagwanira okumusinzanga mu mwoyo ne mu mazima. 24 (O)Kubanga Katonda Mwoyo n’abo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.” 25 (P)Omukazi n’amugamba nti, “Weewaawo, mmanyi nti Masiya, gwe bayita Kristo, ajja. Ye bw’alijja, alitutegeeza ebintu byonna.” 26 (Q)Yesu n’amugamba nti, “Nze nzuuno ayogera naawe.”
27 (R)Awo mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bakomawo. Ne beewuunya okulaba ng’ayogera n’omukazi. Kyokka ne watabaawo amubuuza nsonga emwogezezza naye wadde bye babadde boogerako. 28 Awo omukazi n’aleka awo ensuwa ye n’agenda mu kibuga n’ategeeza abantu nti, 29 (S)“Mujje mulabe omuntu antegeezezza buli kye nnali nkoze. Ayinza okuba nga ye Kristo?” 30 Ne bava mu kibuga ne bajja eri Yesu.
31 (T)Mu kiseera ekyo abayigirizwa baali beegayirira Yesu alye ku mmere, nga bagamba nti, “Labbi lya ku mmere.” 32 (U)N’abaddamu nti, “Nze nnina ekyokulya mmwe kye mutamanyi.”
33 Awo abayigirizwa ne beebuuzaganya nti, “Waliwo omuntu amuleetedde ekyokulya?” 34 (V)Yesu n’abaddamu nti, “Ekyokulya kyange kwe kukola eyantuma by’ayagala, era n’okutuukiriza omulimu gwe. 35 (W)Mmwe temugamba nti, ‘Ekyasigaddeyo emyezi ena amakungula gatuuke?’ Kale muyimuse amaaso gammwe, mutunuulire ennimiro! Amakungula gatuuse. 36 (X)Akungula asasulwa empeera ye era n’akuŋŋaanyiza ebibala mu bulamu obutaggwaawo, olwo asiga n’akungula balyoke basanyukire wamu. 37 (Y)Bwe kityo ekigambo nti, ‘Omu asiga omulala n’akungula,’ kyekiva kiba eky’amazima. 38 Mbatumye mmwe okukungula kye mutaasiga. Abalala be baasiga naye mmwe mugobolodde.”
Abasamaliya bangi bakkiriza
39 (Z)Abasamaliya bangi ab’omu kibuga abaamukkiririzaamu olw’ebyo omukazi bye yabategeeza, ng’abagamba nti, “Antegeezezza buli kye nnali nkoze!” 40 Awo Abasamaliya bwe bajja eri Yesu ne bamwegayirira yeeyongere okubeera nabo, n’abeera nabo ennaku bbiri. 41 Bangi ne bakkiriza olw’ebyo bye yabategeeza. 42 (AA)Awo ne bagamba omukazi nti, “Tumukkiriza si lwa bigambo byo byokka, naye naffe twewuliridde ebigambo bye. Ddala tutegedde nga ye Mulokozi w’ensi.”
Yesu Awonya Mutabani w’Omukungu
43 (AB)Ennaku ezo ebbiri bwe zaggwaako, Yesu n’ava e Samaliya n’alaga e Ggaliraaya. 44 (AC)Ye yennyini yagamba nti, “Nnabbi taweebwa kitiibwa mu nsi gy’asibuka.” 45 (AD)Awo Abagaliraaya ne bamwaniriza n’essanyu lingi nnyo, kubanga baali bamaze okulaba eby’amagero bye yakolera mu Yerusaalemi bwe baali ku Mbaga ey’Okuyitako.
46 (AE)Yesu n’akomawo mu Kaana eky’e Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi wayini. Waaliyo omukungu wa gavumenti ow’e Kaperunawumu eyalina mutabani we nga mulwadde. 47 (AF)Omukungu bwe yawulira nga Yesu avudde e Buyudaaya azze e Ggaliraaya, n’agenda gy’ali n’amusaba agende amuwonyeze mutabani we eyali okumpi n’okufa.
48 (AG)Yesu n’amugamba nti, “Temusobola kunzikiriza nga temulabye ku bubonero na byamagero?”
49 Omukungu n’amugamba nti, “Mukama wange, nkusaba oserengete ojje ng’omwana wange tannafa!”
50 Awo Yesu n’amugamba nti, “Ggenda mutabani wo awonye!” Omusajja n’akkiriza Yesu ky’amugambye n’agenda.
51 Naye bwe yali ng’akyali mu kkubo abaddu be ne bamusisinkana ne bamutegeeza nti mutabani we awonye. 52 N’ababuuza ekiseera omulenzi we yassuukidde. Ne bamuddamu nti, “Jjo olw’eggulo essaawa nga musanvu omusujja ne gumuwonako!”
53 (AH)Awo Kitaawe w’omulenzi n’ajjukira nga ky’ekiseera ekyo Yesu we yamugambira nti, “Mutabani wo awonye.” Awo omukungu oyo n’ab’enju ye bonna ne bakkiriza.
54 (AI)Kino kye kyamagero ekyokubiri Yesu kye yakola ng’akomyewo e Ggaliraaya ng’avudde e Buyudaaya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.