Zabbuli 40:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Anjigirizza oluyimba oluggya,
oluyimba olw’okutenderezanga Katonda waffe.
Bangi bino balibiraba ne batandika okutya Mukama
n’okumwesiganga.
Okubikkulirwa 4:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)“Mukama waffe era Katonda waffe,
osaanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza,
kubanga gwe watonda ebintu byonna
era byonna byatondebwa ku lulwo
era gwe wasiima okubiteekawo.”
Abaebbulaniya 9:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Teyayingira na musaayi gwa mbuzi wadde ogw’ente ennume, naye yayingira mu Watukuvu w’Awatukuvu omulundi gumu gwokka n’omusaayi gwe; bw’atyo ye yennyini n’atufunira obulokozi obutaggwaawo.
Read full chapter
1 Abakkolinso 6:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Kubanga mwagulibwa na muwendo, noolwekyo emibiri gyammwe gigulumizenga Katonda.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.