Add parallel Print Page Options

15 (A)Nteeka obulabe
    wakati wo n’omukazi,
    ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi;
ezzadde lye linaakubetentanga omutwe,
    naawe onoolibojjanga ekisinziiro.

Read full chapter

(A)Awo Musa n’aweesa omusota ogw’ekikomo, n’aguwanika ku mulongooti. Kale buli eyabojjebwanga omusota n’atunula ku musota ogw’ekikomo, ng’awona, ng’aba mulamu.

Read full chapter

Okusuubizibwa Nnabbi Omuggya

15 (A)Mukama Katonda wo agenda kukuyimusiza Nnabbi ali nga nze, ng’amuggya mu bantu bo. Nnabbi oyo mumuwulirizanga era mumugonderanga.

Read full chapter

14 (A)Noolwekyo Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba omuwala atamanyi musajja alizaala omwana wabulenzi era alituumibwa erinnya Emmanweri.

Read full chapter

(A)Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe,
    omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe,
    n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye.
N’erinnya lye aliyitibwa nti,
    Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna,
    Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.

Read full chapter

10 (A)Laba, Mukama Katonda ajja n’amaanyi mangi
    era afuga n’omukono gwe ogw’amaanyi ag’ekitalo.
Laba empeera ye eri mu mukono gwe,
    buli muntu afune nga bw’akoze.

Read full chapter

11 (A)Aliisa ekisibo kye ng’omusumba,
    akuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe
n’abasitula mu kifuba kye,
    n’akulembera mpola mpola ezibayonsa.

Read full chapter

53 (A)Ani akkiriza ebigambo byaffe,
    era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?
(B)Kubanga yakulira mu maaso ga Mukama ng’ekisimbe ekigonvu
    era ng’omulandira oguva mu ttaka ekkalu.
Teyalina kitiibwa wadde obulungi obutusikiriza tulage gy’ali;
    tewaali kalungi mu ye katumwegombesa.
(C)Yanyoomebwa n’agaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku n’obuyinike.
    Tetwayagala na kumutunulako,
ng’omuntu gwe wandikubye amabega ng’ayitawo,
    bwe twamunyooma ne tutamuyitamu ka buntu.

(D)Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, n’atwala ennaku yaffe,
    obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga.
Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe
    kyali kibonerezo okuva eri Katonda.
(E)Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe.
    Yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe.
Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera n’emirembe.
    Ebiwundu bye, bye bituwonya.
Ffenna twawaba ng’endiga;
    buli omu ku ffe n’akwata ekkubo lye;
Mukama n’amuteekako
    obutali butuukirivu bwaffe ffenna.

(F)Yanyigirizibwa era n’obonyaabonyezebwa
    naye talina kye yanyega,
yali ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa,
    era ng’endiga bwesirika obusirisi mu maaso g’abo abagisalako ebyoya bwesirika,
    bw’atyo bwe yasirika.
(G)Mu kunyigirizibwa n’okusalirwa omusango yatwalibwa.
    Ani amanyi ku bye zadde lye?
Yaggyibwa mu nsi y’abalamu,
    ng’akubiddwa olw’okusobya kw’abantu, bange.
(H)Ne bamussa mu ntaana n’abakozi b’ebibi,
    n’aziikibwa n’abagagga mu kufa kwe,
newaakubadde nga teyazza musango
    wadde akamwa ke okwogera eby’obulimba.

10 (I)Songa ate yali nteekateeka ya Mukama okumubetenta,
    era n’okumuleetera okubonaabona.
Naye wadde nga Mukama yafuula obulamu bwe, okuba ekiweebwayo olw’ekibi, aliraba ezzadde,
    era obulamu bwe bulyongerwako, n’ebyo Mukama by’asiima biriraba omukisa mu mukono gwe.
11 (J)Oluvannyuma lw’okubonaabona kw’obulamu bwe,
    bw’aliraba ku ebyo ebiva mu kubonaabona kwe, omutima gwe gulitereera.
Era olw’ebyo bye yayitamu omuweereza wange omutuukirivu alireetera bangi okubalirwa obutuukirivu;
    era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.
12 (K)Kyendiva mmuwa ekifo eky’ekitiibwa mu bangi,
    era aligabira bangi omunyago
kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa okufa,
    n’abalirwa wamu n’abakozi b’ebibi.
Era yeetikka ebibi by’abangi
    era ne yeegayiririra abakozi b’ebibi.

23 (A)Ndiziwa omusumba omu, omuweereza wange Dawudi, alizirunda; alizirabirira era aliba musumba waabwe.

Read full chapter

24 (A)“Wiiki nsavu ze ziweereddwa abantu bo n’ekibuga kyo ekitukuvu okukomya ebikolwa byabwe ebibi, n’okuleka ebibi, n’okutangiririrwa olw’ebikolwa ebitali bya butuukirivu, n’okuleeta obutuukirivu obutaliggwaawo, n’okukakasa ebyo ebyayolesebwa n’ebyo ebyalangibwa, n’okufuka amafuta ku asinga obutukuvu.

Read full chapter

20 (A)Olikola eby’amazima bye wasuubiza Yakobo,
    n’ebyekisa bye wasuubiza Ibulayimu,
nga bwe weeyama eri bajjajjaffe
    okuva mu nnaku ez’edda.

Read full chapter

(A)“Laba, ntuma omubaka wange, alinkulembera era alirongoosa ekkubo nga sinnajja: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba ajja,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

Read full chapter

45 (A)Firipo bwe yalaba Nassanayiri, n’amugamba nti, “Tulabye Yesu mutabani wa Yusufu ow’e Nazaaleesi, Musa ne bannabbi gwe baawandiikako.”

Read full chapter