Add parallel Print Page Options

26 (A)N’oluvannyuma lwa wiiki enkaaga mu ebbiri, eyafukibwako amafuta alisalibwako, era taliba na kintu. Abantu ab’omufuzi balijja ne bazikiriza ekibuga n’awatukuvu, n’enkomerero ye erijja ng’amataba, n’entalo era n’okuzika okwalagirwa biryeyongera okutuusa ku nkomerero.

Read full chapter

32 Ekyawandiikibwa kye yali asoma nga kigamba bwe kiti nti:

“Yatwalibwa ng’endiga egenda okuttibwa.
    Ng’omwana gw’endiga bwe gusiriikirira nga bagusalako ebyoya,
    naye bw’atyo teyayasamya kamwa ke.
33 (A)Yajoogebwa n’atalamulwa mu bwenkanya.
    Ani alyogera ku bazzukulu be?
    Kubanga ekiseera kye eky’obulamu bwe ku nsi kyakoma!”

Read full chapter

12 (A)Kyendiva mmuwa ekifo eky’ekitiibwa mu bangi,
    era aligabira bangi omunyago
kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa okufa,
    n’abalirwa wamu n’abakozi b’ebibi.
Era yeetikka ebibi by’abangi
    era ne yeegayiririra abakozi b’ebibi.

Read full chapter