Add parallel Print Page Options

28 (A)Ekitiibwa ekyamwetooloolanga kyafaanana nga musoke mu bire ku lunaku olw’enkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi eky’ekitiibwa kya Mukama.

Bwe nakiraba, ne nvuunama, ne mpulira eddoboozi ly’oyo eyali ayogera.

Read full chapter

17 (A)Awo n’asembera okumpi ne we nnali nnyimiridde, ne ntya, ne neeyala wansi. Naye n’aŋŋamba nti, “Tegeera, ggwe omwana w’omuntu, ng’okwolesebwa, kwogera ku biro eby’enkomerero.”

Read full chapter

18 (A)Awo bwe yali akyayogera nange, ne nkwatibwa otulo otungi ennyo, ng’amaaso gange nga ngavuunise ku ttaka, ye n’ankwatako n’angolokosa.

Read full chapter

(A)Ani eyakola kino ng’ayita emirembe gy’abantu
    okuva ku lubereberye?
Nze Mukama ow’olubereberye
    era ow’enkomerero, nze wuuyo.”

Read full chapter

(A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama kabaka wa Isirayiri era Omununuzi we,
    Mukama Katonda ow’Eggye:
Nze w’olubereberye era nze nkomererayo
    era tewali Katonda mulala we ndi.

Read full chapter