Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 95

95 (A)Mujje tuyimbire Mukama;
    tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.
(B)Tujje mu maaso ge n’okwebaza;
    tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.

(C)Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu;
    era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.
Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe;
    n’entikko z’ensozi nazo zize.
(D)Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola;
    n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.

(E)Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge;
    tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.
(F)Kubanga ye Katonda waffe,
    naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye,
    era tuli ndiga ze z’alabirira.

Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,
    (G)“Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba[a],
    ne ku lunaku luli e Maasa[b] mu ddungu;
(H)bajjajjammwe gye bangezesa;
    newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.
10 (I)Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana;
    ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,
    era tebamanyi makubo gange.’
11 (J)Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
    ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”

Zabbuli 69

Ya Mukulu wa Bayimbi. Mu ddoboozi ery’Amalanga. Zabbuli ya Dawudi.

69 (A)Ondokole, Ayi Katonda,
    kubanga amazzi gandi mu bulago.
(B)Ntubira mu bitosi
    nga sirina we nnywereza kigere.
Ntuuse ebuziba
    n’amataba gansaanikira.
(C)Ndajanye ne nkoowa,
    n’emimiro ginkaze.
Amaaso ganzizeeko ekifu gakooye
    olw’okutunula enkaliriza nga nnindirira Katonda wange.
(D)Abo abankyayira obwereere
    bangi okusinga enviiri ez’oku mutwe gwange;
abalabe bange bangi
    abannoonya okunzita awatali nsonga;
ne mpalirizibwa mbaddizeewo
    ekyo kye sibbanga.

(E)Ayi Katonda, omanyi obusirusiru bwange,
    n’okusobya kwange tekukukwekeddwa.

Sisaana kuswaza
    abo abakwesiga,
    Ayi Mukama, Mukama ow’Eggye.
Abo abakunoonya
    baleme kuswazibwa ku lwange,
    Ayi Katonda wa Isirayiri.
(F)Ngumiikirizza okuvumwa ku lulwo,
    n’amaaso gange ne gajjula ensonyi.
(G)Nfuuse nga omugwira eri baganda bange,
    munnaggwanga eri abaana ba mmange.
(H)Nzijudde obuggya olw’ennyumba yo,
    n’abo abakuvuma bavuma nze.
10 (I)Bwe nkaaba ne nsiiba,
    ekyo nakyo ne kinvumisa.
11 (J)Bwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka eky’okuzanyisa kyabwe.
12 (K)Abo abatuula ku mulyango gw’ekibuga banduulira,
    era nfuuse luyimba lw’abatamiivu.

13 (L)Naye nze, Ayi Mukama, nsaba ggwe,
    mu kiseera eky’ekisa kyo.
Olw’okwagala kwo okungi, onnyanukule, Ayi Katonda,
    ondokole nga bwe wasuubiza.
14 (M)Onnyinyulule mu ttosi
    nneme okutubira;
omponye abankyawa,
    onzigye mu mazzi amangi;
15 (N)amataba galeme okumbuutikira
    n’obuziba okunsanyaawo,
    n’ennyanja ereme okummira.

16 (O)Onnyanukule, Ayi Mukama olw’obulungi bw’okwagala kwo;
    onkyukire olw’okusaasira kwo okungi.
17 (P)Tokisa muddu wo maaso go; yanguwa okunziramu,
    kubanga ndi mu kabi.
18 (Q)Onsemberere onziruukirire,
    onnunule mu balabe bange.

19 (R)Omanyi bwe nsekererwa, ne bwe nswazibwa ne bwe siteekebwamu kitiibwa,
    era n’abalabe bange bonna obamanyi.
20 (S)Okusekererwa kunkutudde omutima
    era kummazeemu amaanyi.
Nanoonya okusaasirwa ne kumbula,
    n’ow’okumpooyawooya naye nga simulaba.
21 (T)Mu kifo ky’emmere bampa mususa,
    era bwe nalumwa ennyonta bampa nkaatu.

22 Emmere yaabwe gye bategese okulya ebafuukire ekyambika,
    n’embaga zaabwe ez’ebiweebwayo zibafuukire omutego.
23 (U)Amaaso gaabwe gazibe baleme okulaba,
    n’emigongo gyabwe gyewetenga ennaku zonna.
24 (V)Bayiweeko ekiruyi kyo,
    obamalewo n’obusungu obw’amaanyi go obungi.
25 (W)Ebifo byabwe bifuuke bifulukwa,
    waleme kubaawo n’omu abeera mu weema zaabwe.
26 (X)Kubanga bayigganya oyo gw’ofumise,
    ne boogera ku bulumi bw’oyo gw’olumizza.
27 (Y)Bavunaane omusango kina gumu,
    era tobaganya kugabana ku bulokozi bwo.
28 (Z)Bawanduukululwe mu kitabo ky’obulamu;
    baleme kulabika ku lukalala lw’abatuukirivu.

29 (AA)Ndi mu bulumi era mu nnaku;
    obulokozi bwo, Ayi Katonda, bunkuume.
30 (AB)Nnaatenderezanga erinnya lya Katonda nga nnyimba;
    nnaamugulumizanga n’okwebaza.
31 (AC)Kino kinaasanyusanga Mukama okusinga okumuwa ente ennume,
    oba okumuwa seddume n’amayembe gaayo, n’ebigere byayo.
32 (AD)Abaavu banaakirabanga ne basanyuka;
    mmwe abanoonya Katonda omutima gwammwe ne gubeera omulamu.
33 (AE)Kubanga Mukama awulira abo abali mu kwetaaga,
    era ababe ne bwe baba mu busibe, tabanyooma.

34 (AF)Kale eggulu n’ensi bimutenderezenga
    awamu n’ennyanja zonna n’ebyo ebizirimu.
35 (AG)Kubanga Katonda alirokola Sayuuni,
    n’ebibuga bya Yuda n’abizimba buggya,
abantu ne babibeerangamu nga byabwe.
36     (AH)Abaana b’abaweereza be balikisikira;
    n’abo abaagala erinnya lya Mukama omwo mmwe banaabeeranga.

Zabbuli 73

EKITABO III

Zabbuli 73–89

Zabbuli ya Asafu.

73 (A)Ddala Katonda mulungi eri Isirayiri
    n’eri abo abalina omutima omulongoofu.

Naye nze amagulu gange gaali kumpi okutagala
    era n’ebigere byange okuseerera.
(B)Kubanga nakwatirwa ab’amalala obuggya;
    bwe nalaba ababi nga bagaggawala nnyo.

Kubanga tebalina kibaluma;
    emibiri gyabwe miramu era minyirivu.
(C)Tebeeraliikirira kabi konna ng’abalala.
    So tebalina kibabonyaabonya.
(D)Amalala kyegavudde gabafuukira ng’omukuufu ogw’omu bulago,
    n’obukambwe ne bubafuukira ekyambalo.
(E)Bagezze n’amaaso gaabwe ne gazimbagatana;
    balina bingi okusinga bye beetaaga.
(F)Baduula era emboozi zaabwe zijjudde eby’okujooga.
    Batiisatiisa abalala n’okubeeragirako.
Emimwa gyabwe gyolekedde eggulu;
    n’ennimi zaabwe zoogera eby’okwewaanawaana buli wantu.
10 Abantu ba Katonda kyebava babakyukira
    ne banywa amazzi mangi.
11 Era ne beebuuza nti, “Katonda bino abimanyi atya?
    Ali Waggulu Ennyo abitegeera?”

12 (G)Aboonoonyi bwe bafaanana bwe batyo;
    bulijjo babeera mu ddembe, nga beeyongera kugaggawala.

13 (H)Ddala omutima gwange ngukuumidde bwereere obutayonoona,
    n’engalo zange ne nzinaaba obutaba na musango.
14 Naye mbonaabona obudde okuziba,
    era buli nkya mbonerezebwa.

15 Singa ŋŋamba nti njogere bwe nti,
    nandibadde mukuusa eri omulembe guno ogw’abaana bo.
16 (I)Bwe nafumiitiriza ntegeere ensonga eyo;
    nakisanga nga kizibu nnyo,
17 (J)okutuusa lwe nalaga mu watukuvu wa Katonda,
    ne ntegeera enkomerero y’ababi.

18 (K)Ddala obatadde mu bifo ebiseerera;
    obasudde n’obafaafaaganya.
19 (L)Nga bazikirizibwa mangu nga kutemya kikowe!
    Entiisa n’ebamalirawo ddala!
20 (M)Bali ng’omuntu azuukuse n’ategeera nti yaloose buloosi;
    era naawe bw’otyo, Ayi Mukama,
    bw’oligolokoka olinyooma embeera yaabwe omutali nsa.

21 Omutima gwange bwe gwanyiikaala,
    n’omwoyo gwange ne gujjula obubalagaze,
22 (N)n’aggwaamu okutegeera ne nfuuka ataliiko kye mmanyi,
    ne mba ng’ensolo obusolo mu maaso go.

23 Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo;
    gw’onkwata ku mukono gwange ogwa ddyo.
24 (O)Mu kuteesa kwo onkulembera,
    era olintuusa mu kitiibwa.
25 (P)Ani gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe?
    Era tewali na kimu ku nsi kye neetaaga bwe mba naawe.
26 (Q)Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa;
    naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange,
    era ye wange ennaku zonna.

27 (R)Kale laba, abo bonna abatakussaako mwoyo balizikirira;
    kubanga bonna abatakwesiga obamalirawo ddala.
28 (S)Naye nze kye nsinga okwetaaga kwe kubeera okumpi ne Katonda wange.
    Ayi Mukama Katonda, nkufudde ekiddukiro kyange;
    ndyoke ntegeezenga abantu bonna ebikolwa byo eby’ekyewuunyo.

Yeremiya 5:1-9

Tewali n’Omu mugolokofu

(A)“Dduka ogende eno n’eri mu nguudo za Yerusaalemi,
    tunulatunula olabe,
    noonya wonna we bakuŋŋaanira,
bw’onoosanga omuntu omu bw’ati
    omwesimbu ow’amazima,
    nnaasonyiwa ekibuga kino.
(B)Ne bwe boogera nti, ‘Nga Mukama bwali omulamu;’
    baba balayirira bwereere.”

(C)Ayi Mukama Katonda, amaaso go teganoonya mazima?
    Wabakuba naye ne batawulira bulumi wababetenta,
    naye ne bagaana okukangavvulwa.
Beeyongedde kukakanyala, bagubye obwenyi okusinga n’amayinja;
    era bagaanyi okwenenya.
(D)Ne njogera nti,
    “Bano baavu abasirusiru.
Kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama,
    amateeka ga Katonda waabwe.
(E)Kale ndigenda eri abakulembeze
    njogere nabo;
Kubanga bamanyi ekkubo lya Mukama,
    amateeka ga Katonda waabwe.”
Naye nabo bwe batyo baali baamenya dda ekikoligo
    nga baakutula ebisiba.
(F)Noolwekyo empologoma eriva mu kibira n’ebalya,
    n’omusege ogw’omu ddungu gulibasaanyaawo.
Engo erikuumira okumpi n’ebibuga byabwe,
    buli muntu abifuluma ayuzibweyuzibwe;
Kubanga ebibi byabwe bingi,
    okudda ennyuma kunene.

(G)“Mbasonyiwe ntya?
    Abaana bammwe banvuddeko,
    ne balayiririra bakatonda abatali bakatonda.
Bwe nabaliisa ne bakkuta, badda mu kwenda,
    ne beekuŋŋaanya ku nnyumba z’abenzi.
(H)Baali ng’embalaasi ennume ezikkuse ezitaamye,
    buli muntu ng’akaayanira muka munne.
(I)Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo?
    bw’ayogera Mukama,
Lwaki siwoolera ggwanga ku nsi
    efaanana bw’etyo?”

Abaruumi 2:25-3:18

25 (A)Okukomolebwa kugasiza ddala bw’okwata amateeka, naye bw’otagatuukiriza tewaba njawulo wakati wo n’atali mukomole. 26 (B)Kale obanga atali mukomole akwata amateeka, talibalibwa ng’eyakomolebwa? 27 (C)Noolwekyo ataakomolebwa mu buzaaliranwa naye ng’akuuma amateeka, alikusaliza omusango gwe alina amateeka amawandiike n’otagatuukiriza ate nga wakomolebwa.

28 (D)Okweyisa ng’Omuyudaaya ate nga wakomolebwa, tekikufuula Muyudaaya yennyini. 29 (E)Okuba Omuyudaaya yennyini oteekwa okugondera amateeka. Okukomolebwa okutuufu kwe kukomolebwa okubaawo mu mutima, so si okw’omubiri. Omuntu ng’oyo atenderezebwa Katonda, so si abantu.

Obwesigwa bwa Katonda

Kaakano olwo Omuyudaaya alina nkizo ki? Oba okukomolebwa kugasa ki? (F)Kugasa nnyo mu ngeri nnyingi. Okusookera ddala, Abayudaaya be baateresebwa ebigambo bya Katonda.

(G)Kituufu nti abamu ku bo tebakkiriza bigambo ebyo. Obutakkiriza bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda, olw’okuba nga bo tebaalina kukkiriza? (H)Tekisoboka. Katonda ye wa mazima, newaakubadde nga buli muntu yenna mulimba. Ebyawandiikibwa bigamba nti,

“Olyoke otuukirire mu bigambo byo,
    era osinge bw’osala omusango.”

(I)Naye obanga obutali butuukirivu bwaffe bulagira ddala obutuukirivu bwa Katonda, tunaayogera ki? Kikyamu Katonda okutunyiigira era n’atubonereza? Mu kino njogera ng’omuntu. (J)Nedda, sikikyamu. Katonda alisalira atya ensi omusango? (K)Naye obanga obulimba bwammwe bweyongera okugulumiza Katonda, nga kiraga Katonda bw’ali ow’amazima, oyinza okwebuuza lwaki okyasalirwa omusango ng’omwonoonyi? (L)Era okyayinza okwongerako na kino nti tukolenga ebibi mulyoke muveemu ebirungi, ng’abamu bwe batuwaayiriza nti, bwe tugamba. Kyokka Katonda mwenkanya, era alibasalira nga bwe kibagwanira.

Tewali mutuukirivu n’omu

(M)Bino byonna bitegeeza ki? Kitegeeza nti ffe Abayudaaya tuli bulungi nnyo okusinga abantu abalala bonna? Nedda, n’akatono. Ffenna tufugibwa kibi, ne bwe baba Abayudaaya oba Abaamawanga. 10 Ng’ebyawandiikibwa bwe bigamba nti:

“Tewali mutuukirivu n’omu.
11     Tewali ategeera
    wadde anoonya Katonda.
12 (N)Bonna baakyama,
    bonna awamu baafuuka kitagasa;
tewali n’omu akola obulungi,
    tewali n’omu.”
13 (O)“Emimiro gyabwe giringa entaana ezaasaamiridde,
    n’emimwa gyabwe gijjudde obulimba.”
“Buli kigambo ekibavaamu kiri ng’obusagwa bw’omusota.”
14     (P)“Emimwa gyabwe gijjudde okukolima n’obukyayi.”
15 “Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi,
16     buli gye balaga baleka abantu baayo mu kuzikirira na mu nnaku njereere.
17 Tebamanyi kkubo lya mirembe.”
18     (Q)“N’okutya tebatya Katonda.”

Yokaana 5:30-47

30 (A)Kyokka Nze siyinza kukola kintu kyonna ku bwange. Kitange nga bw’aŋŋamba bwe nkola, era n’omusango gwe nsala gwa nsonga kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by’ayagala. 31 (B)Singa nneeyogerako nzekka, bye nneyogerako tebiba bya mazima. 32 (C)Waliwo ategeeza gwe ndi, era mmanyi nga bya njogerako bya mazima.

33 (D)“Mmwe mwatuma ababaka eri Yokaana, era ayogedde eby’amazima. 34 (E)Ebigambo ebinkakasa tebiva mu muntu, naye ebyo mbyogera mulyoke mulokolebwe. 35 (F)Oyo ye yali ettaala eyayaka okubaleetera ekitangaala, ne musalawo mubeere mu kitangaala ekyo akaseera katono.

36 (G)“Naye nnina ebinkakasa okukira ebyo ebya Yokaana, bye byamagero bye nkola, Kitange bye yampa, era bikakasa nti Kitange ye yantuma 37 (H)ne Kitange yennyini eyantuma akakasa ebinkwatako. Temuwuliranga ku ddoboozi lye wadde okulaba ekifaananyi kye. 38 (I)N’ekigambo kye tekiri mu mmwe, kubanga temukkiriza oyo gwe yatuma. 39 (J)Munoonya mu Byawandiikibwa kubanga mulowooza nti muyinza okubifuniramu obulamu obutaggwaawo. Kyokka Ebyawandiikibwa ebyo bye binjulira. 40 Naye temwagala kujja gye ndi mulyoke mufune obulamu obutaggwaawo.

41 (K)“Sinoonya kusiimibwa bantu. 42 Naye mmwe mbamanyi temuliimu kwagala kwa Katonda. 43 Nzize mu linnya lya Kitange ne mutannyaniriza. Omulala bw’anajja ku bubwe oyo mujja kumwaniriza. 44 (L)Kale muyinza mutya okukkiriza nga munoonya kusiimibwa bantu bannammwe, so nga temunoonya kusiimibwa Katonda oyo Omu yekka?

45 (M)“Naye temulowooza nti ndibawawaabira eri Kitange. Abawawaabira ye Musa, mmwe gwe mulinamu essuubi. 46 (N)Singa Musa mumukkiriza, nange mwandinzikirizza, kubanga yampandiikako. 47 (O)Kale obanga temukkiriza bye yawandiika, munakkiriza mutya ebigambo byange?”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.