Add parallel Print Page Options

34 (A)ne bawa Yesu wayini atabuddwamu omususa, naye bwe yakombako n’amugaana.

Read full chapter

23 (A)Ne baddira wayini atabuddwamu envumbo ne bamuwa anyweko, naye n’amugaana.[a]

Read full chapter

Footnotes

  1. 15:23 Wayini atabuddwamu envumbo kyali kyakunywa ekyakendezanga ku bulumi. Envumbo kimera ekisangibwa mu ddungu ly’e Buwalabu ne mu bitundu ebimu ebya Afirika

Okufa kwa Yesu

28 (A)Yesu bwe yamanya nga byonna biwedde, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire, n’ayogera nti, “Ennyonta ennuma.” 29 (B)Waali wateekeddwawo ekibya ekijjudde wayini omukaatuufu, ne bannyikamu ekyangwe, ne bakiteeka ku kati ka ezobu ne bakiteeka ku mumwa gwa Yesu. 30 (C)Bwe yakombako n’agamba nti, “Kiwedde.” N’akutamya omutwe gwe n’awaayo obulamu bwe.

Read full chapter