Add parallel Print Page Options

10 (A)buli vviivi ery’abo abali mu ggulu n’abali ku nsi,
    era n’abali wansi w’ensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu,

Read full chapter

13 (A)Yali akoze ekituuti eky’ekikomo, ekyali mita bbiri ne desimoolo ssatu obuwanvu n’obugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu, n’obugulumivu mita emu ne desimoolo ssatu, era ng’akitadde wakati mu luggya olw’ebweru era kye yali ayimiriddeko. N’afukamira mu maaso g’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, n’ayimusa emikono gye eri eggulu.

Read full chapter

(A)Mumanye nga Mukama ye Katonda;
    ye yatutonda, tuli babe,
    tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye.

Read full chapter

(A)Isirayiri asanyukirenga eyamutonda;
    n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe!

Read full chapter

(A)Ku lunaku luli abantu balirowooza ku Mutonzi waabwe,
    n’amaaso gaabwe galikyukira Omutukuvu wa Isirayiri.

Read full chapter

10 (A)Awo Danyeri bwe yamanya ng’etteeka liwandiikiddwa, n’agenda ewuwe mu nnyumba ye, n’ayambuka mu kisenge kye ekya waggulu ekyalina amadirisa nga goolekedde Yerusaalemi, n’afukamiranga emirundi esatu olunaku, n’asabanga era ne yeebazanga Katonda we nga bwe yakolanga bulijjo. 11 Awo abasajja bali ne bateekateeka okugenda ng’ekibiina ne basanga Danyeri ng’asaba era nga yeegayirira Katonda we.

Read full chapter

14 (A)Isirayiri yeerabidde omutonzi we,
    n’azimba embiri,
    ne Yuda ne yeeyongera okuzimba ebibuga ebiriko bbugwe;
naye ndisindika omuliro ku bibuga byabwe,
    ne gwokya ebigo byabwe.”

Read full chapter