Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 8

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

(A)Ayi Mukama, Mukama waffe,
    erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!

Ekitiibwa kyo kitenderezebwa
    okutuuka waggulu mu ggulu.
(B)Abaana abato n’abawere
    wabawa amaanyi okukutendereza;
ne basirisa omulabe wo
    n’oyo ayagala okwesasuza.
(C)Bwe ntunuulira eggulu lyo,
    omulimu gw’engalo zo,
omwezi n’emmunyeenye
    bye watonda;
(D)omuntu kye ki ggwe okumujjukira,
    omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?

(E)Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda;
    n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.
(F)Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo:
    byonna wabissa wansi w’ebigere bye,
ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,
n’ennyonyi ez’omu bbanga,
    n’ebyennyanja eby’omu nnyanja;
    era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.

(G)Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi
    era kkulu nnyo mu nsi yonna!

Zabbuli 138

Zabbuli Ya Dawudi.

138 (A)Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;
    ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
(B)Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,
    ne ntendereza erinnya lyo
    olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;
kubanga wagulumiza ekigambo kyo
    n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;
    n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.

(C)Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,
    nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;
    kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.

(D)Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,
    naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
(E)Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,
    naye ggwe okuuma obulamu bwange;
ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,
    era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
(F)Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;
    kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.
    Tolekulira ebyo bye watonda.

Olubereberye 3:1-15

Okujeema kw’Omuntu

(A)Kale nno omusota gwali mukalabakalaba okukira ensolo zonna ez’omu nsiko, Mukama Katonda ze yatonda. Ne gugamba omukazi nti, “Kazzi Katonda yagamba nti, ‘Temulyanga ku muti gwonna ogw’omu nnimiro!’ ”

Omukazi n’addamu omusota nti, “Tulya ku buli muti ogw’omu nnimiro, kyokka Katonda yatulagira nti, ‘Temulyanga ku kibala ky’omuti oguli wakati mu nnimiro, wadde okugukwatako, muleme okufa.’ ”

(B)Naye omusota ne gugamba omukazi nti, “Temugenda kufa. (C)Kubanga Katonda amanyi nga lwe muligulyako amaaso gammwe lwe galizibuka, era mulifaanana nga ye, okumanyanga ekirungi n’ekibi.”

(D)Awo omukazi bwe yalaba ng’omuti mulungi nga gusanyusa okutunulako era gwegombebwa okuleeta amagezi, n’anoga ekibala kyagwo n’alya; n’awaako ne bba naye n’alya. Awo amaaso gaabwe bombi ne gazibuka, ne bategeera nga baali bwereere; ne baluka amalagala g’emiti ne beekolera ebyokwambala.

(E)Awo ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng’atambula mu nnimiro, mu budde obuweeweevu. Omusajja n’omukazi ne beekweka mu miti Mukama Katonda aleme okubalaba. Naye Mukama Katonda n’ayita omusajja nti, “Oli ludda wa?”

10 N’addamu nti, “Mpulidde eddoboozi lyo mu nnimiro, ne ntya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka.”

11 N’amubuuza nti, “Ani akubuulidde nti oli bwereere? Olidde ku muti gwe nakulagira obutagulyangako?”

12 Omusajja n’addamu nti, “Omukazi gwe wampa okubeeranga nange y’ampadde ekibala ne ndya.”

13 (F)Mukama Katonda kwe kubuuza omukazi nti, “Kiki kino ky’okoze?”

Omukazi n’addamu nti, “Omusota gwe gunsenzesenze ne ndya.”

14 (G)Mukama Katonda n’agamba omusota nti, Kubanga okoze kino

okolimiddwa okukira ensolo zonna ez’awaka
    n’ez’omu nsiko,
oneekululiranga ku lubuto lwo
    era onoolyanga nfuufu
    ennaku zonna ez’obulamu bwo.
15 (H)Nteeka obulabe
    wakati wo n’omukazi,
    ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi;
ezzadde lye linaakubetentanga omutwe,
    naawe onoolibojjanga ekisinziiro.

Abaruumi 5:12-21

Okufa mu Adamu n’Obulamu mu Kristo

12 (A)Ekibi kyajja mu nsi olw’omuntu omu, ne kireeta okufa mu nsi. Mu ngeri y’emu olw’okuba nga bonna baayonoona, bonna balifa. 13 (B)Ekibi kyaliwo mu nsi ng’amateeka tegannabaawo. Kyokka Katonda teyagamba nti be balina okuvunaanyizibwa olw’ebibi byabwe, kubanga Amateeka gaali tegannabeerawo. 14 (C)Kyokka okufa kwali kukyafuga okuva ku Adamu okutuusa ku Musa, nga kutwaliramu n’abo abataayonoona mu ngeri Adamu gye yayonoonamu. Mu ngeri endala, Adamu ali mu kifaananyi kya Kristo eyajja oluvannyuma. 15 (D)Naye Katonda wa kisa nnyo, kubanga ekirabo kye yali agenda okutuwa, kyali kya njawulo ku kibi kya Adamu. Okwonoona kw’omuntu omu, Adamu, kwaleetera bangi okufa, kyokka ekisa kya Katonda n’ekirabo ekiri mu kisa ky’omuntu omu Yesu Kristo kyasukkirira nnyo ne kibuna mu bantu bangi. 16 Waliwo enjawulo nnene wakati w’ekibi kya Adamu n’ekirabo kya Katonda. Ekibi ekimu kyatuweesa ekibonerezo. Kyokka ekirabo kya Katonda kyatukkirizisa gy’ali, newaakubadde nga twonoona emirundi mingi. 17 (E)Obanga olw’okwonoona kw’omuntu omu okufa kwabuna, abaliweebwa ekisa kya Katonda n’ekirabo eky’obutuukirivu, tebalisinga nnyo okufugira mu bulamu olw’omuntu omu Yesu Kristo?

18 (F)Kale ng’abantu bonna bwe baasalirwa omusango olw’ekibi ekimu, bwe kityo n’olw’ekikolwa ekimu eky’obutuukirivu abantu bonna mwe baaweerwa obutuukirivu ne bafuna obulamu. 19 (G)Obujeemu bw’omuntu omu bwafuula abangi okuba aboonoonyi. Bwe butyo n’obuwulize bw’omuntu omu Yesu, bulifuula bangi okuba abatuukirivu.

20 (H)Amateeka gaatekebwawo, amaanyi g’ekibi galyoke galabisibwe. Kyokka ekibi bwe kyeyongera, ekisa kya Katonda kyo ne kyeyongera nnyo okusingawo. 21 (I)Ng’ekibi bwe kyafugira mu kufa, n’ekisa kya Katonda kifugira mu butuukirivu ne kitutuusa mu bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.