Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 82

Zabbuli ya Asafu.

82 (A)Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu,
    ng’alamula bakatonda.

(B)Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa,
    nga musalira abanafu?
(C)Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya;
    abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.
Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye;
    mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.

(D)Tebalina kye bamanyi, era tebategeera.
    Batambulira mu kizikiza;
    emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa.

(E)Njogedde nti, Muli bakatonda,
    era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.
(F)“Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu;
    muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.”

(G)Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi;
    kubanga amawanga gonna gago.

Zabbuli 87

Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba.

87 Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.
    (A)Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni
    okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.

(B)Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako,
    ggwe ekibuga kya Katonda.
(C)“Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu,
    ne Babulooni;
era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo
    ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ”
Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti,
    “Ono n’oli baazaalirwa omwo,”
    n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.
(D)Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati,
    omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”

(E)Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti,
    “Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”

Isaaya 52:7-12

(A)Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi,
    alangirira emirembe,
    aleeta ebigambo ebirungi,
alangirira obulokozi,
    agamba Sayuuni nti, “Katonda wo afuga.”
(B)Wuliriza!
    Amaloboozi g’abakuumi bo gawulikika, gayimusiddwa.
Bonna awamu bajaguza olw’essanyu.
    Kubanga okudda kwa Mukama mu Sayuuni balikulaba n’amaaso gaabwe.
(C)Mubaguke okuyimba ennyimba ez’essanyu mwenna,
    mmwe ebifo bya Yerusaalemi ebyazika.
Kubanga Mukama asanyusizza abantu be,
    anunudde Yerusaalemi.
10 (D)Mukama aliraga omukono gwe omutukuvu eri amawanga gonna,
    bagulabe.
Enkomerero z’ensi zonna
    ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.

11 (E)Mugende, mugende muveewo awo.
    Temukwata ku kintu kyonna kitali kirongoofu.
Mukifulumemu mubeere balongoofu
    mmwe abasitula ebyombo bya Mukama.
12 (F)Naye temulivaamu nga mwanguyiriza
    so temuligenda nga mudduka;
kubanga Mukama alibakulembera abasookeyo;
    Katonda wa Isirayiri y’alibakuuma.

Abaebbulaniya 2:5-10

Ensi empya gye twogerako si yakufugibwa bamalayika. (A)Waliwo mu byawandiikibwa, omuntu we yagambira Katonda nti,

“Omuntu kye ki ggwe okumujjukira?
    Oba Omwana w’Omuntu ye ani ggwe okumussaako omwoyo?
Wamussa obuteenkana nga bamalayika, okumala akaseera katono,
    wamutikkira engule ey’ekitiibwa n’ettendo,
    (B)n’oteeka ebintu byonna wansi w’ebigere bye.”

Katonda atadde buli kintu wansi we. Kyokka kaakano tetulaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we. (C)Naye tulaba Yesu eyassibwa wansi wa bamalayika okumala akaseera akatono. Olw’ekisa kya Katonda, yabonaabona n’afa, alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu, n’atikkirwa engule ey’ekitiibwa n’ettendo.

10 (D)Katonda oyo eyatonderwa ebintu byonna, era mu oyo Yesu Kristo ebintu byonna mwe byatonderwa, eyalondebwa okuleeta abaana abangi mu kitiibwa. Era kyasaanira Yesu okubonyaabonyezebwa, ng’omukulembeze omutuukirivu, okubaleetera obulokozi.

Zabbuli 110

Zabbuli ya Dawudi.

110 (A)Mukama yagamba Mukama wange nti:

“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
    okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo
    ne mbassa wansi w’ebigere byo.[a]

(B)Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni;
    olifuga abalabe bo.
(C)Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo
    ng’ekiseera ky’olutalo kituuse.
Abavubuka bo,
    nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu,
    balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.

(D)Mukama yalayira,
    era tagenda kukijjulula,
yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonna
    ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.”

(E)Mukama anaakulwaniriranga;
    bakabaka abakulwanyisa anaababetentanga mu busungu bwe obungi.
(F)Aliramula amawanga, abafuzi b’ensi yonna n’abazikiriza,
    n’entuumo z’emirambo ziriba nnyingi ku nsi yonna.
(G)Alinywa amazzi mu kagga ku kkubo,
    n’addamu amaanyi ag’obuwanguzi.

Zabbuli 132

Oluyimba nga balinnya amadaala.

132 Ayi Mukama jjukira Dawudi
    n’okubonaabona kwe yagumiikiriza kwonna.

(A)Nga bwe yalayirira Mukama,
    ne yeeyama eri Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo,
ng’agamba nti, “Siriyingira mu nnyumba yange,
    wadde okulinnya ku kitanda kyange.
Sirikkiriza tulo kunkwata
    newaakubadde okuzibiriza amaaso gange,
(B)okutuusa lwe ndimala okufunira Mukama ekifo;
    ekifo eky’okubeeramu ekya Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo.”

(C)Laba, twakiwulirako mu Efulasa,
    ne tukizuula mu nnimiro ya Jaali.
(D)Kale tugende mu kifo kye mw’abeera,
    tumusinzirize awali entebe y’ebigere bye.
(E)Golokoka, Ayi Mukama, ogende mu kifo kyo mw’owummulira;
    ggwe n’Essanduuko yo ey’Endagaano, eraga obuyinza bwo.
(F)Bakabona bo bambazibwe obutuukirivu,
    n’abatukuvu bo bayimbe n’essanyu.

10 Ku lulwe Dawudi omuddu wo,
    tomugaana oyo gwe wafukako amafuta.

11 (G)Mukama Katonda yalayirira Dawudi
    ekirayiro ekitaliggwaawo, era talikivaako.
Kubanga yamugamba nti, “Omu ku batabani bo
    gwe ndituuza ku ntebe yo ey’obwakabaka.
12 (H)Batabani bo bwe banaakuumanga Endagaano yange
    n’ebiragiro byange bye nnaabayigirizanga,
ne batabani baabwe nabo banaatuulanga
    ku ntebe yo ey’obwakabaka emirembe gyonna.”

13 (I)Kubanga Mukama yalonda Sayuuni,
    nga kye yasiima okutuulangamu, n’agamba nti:
14 (J)“Kino kye kifo mwe nnaawummuliranga emirembe gyonna;
    omwo mwe nnaatuulanga nga ndi ku ntebe ey’obwakabaka kubanga nkisiimye.
15 (K)Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n’ebirungi,
    era n’abaavu baamu nnaabakkusanga ebyokulya.
16 (L)Bakabona baakyo, obulokozi bunaabanga kyambalo kyabwe;
    n’abatukuvu baakyo banaayimbanga ennyimba ez’essanyu n’essanyu.

17 (M)“Eyo gye ndyaliza batabani ba Dawudi obuyinza;
    ne muteekerawo ettabaaza olw’oyo gwe nayiwako amafuta.
18 (N)Abalabe be ndibajjuza ensonyi,
    naye ye ndimwambaza engule ey’ekitiibwa ekingi.”

Yokaana 1:9-14

(A)Kristo ye yali Omusana, omusana ogw’amazima, ogujja mu nsi, okwakira buli muntu. 10 (B)Kyokka newaakubadde Kigambo oyo ye yatonda ensi, bwe yajja mu nsi, ensi teyamutegeera. 11 Yajja eri abantu be, naye abantu be ne batamusembeza. 12 (C)Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye. 13 (D)Abataazaalibwa musaayi, oba okwagala kw’omubiri, wadde okwagala kw’omuntu, naye abaazaalibwa okwagala kwa Katonda. 14 (E)Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeera mu ffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng’eky’oyo omu yekka eyava eri kitaffe ng’ajjudde ekisa n’amazima.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.