Okubala 23:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Katonda si muntu, nti ayinza okulimba,
oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye.
Ayogera n’atakola?
Asuubiza n’atatuukiriza?
Abaebbulaniya 5:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Era n’awalala agamba nti,
“Ggwe walondebwa okuba Kabona emirembe n’emirembe,
ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.”
Abaebbulaniya 7:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)naye ye yafuulibwa kabona mu kirayiro, ng’ayita mu oyo amwogerako nti,
“Mukama yalayira
era tagenda kwejjusa:
‘Oli kabona emirembe gyonna.’ ”
Abaebbulaniya 7:15-17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 Era kitegeerekeka nga wazeewo Kabona omulala mu kifaananyi kya Merukizeddeeki, 16 atassibwawo ng’amateeka ag’ebiragiro eby’omubiri bwe gali, wabula ng’amaanyi bwe gali ag’obulamu obutaggwaawo. 17 (A)Kubanga Kristo ayogerwako nti,
“Oli kabona okutuusa emirembe gyonna
ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.