Book of Common Prayer
95 (A)Mujje tuyimbire Mukama;
tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.
2 (B)Tujje mu maaso ge n’okwebaza;
tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.
3 (C)Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu;
era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.
4 Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe;
n’entikko z’ensozi nazo zize.
5 (D)Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola;
n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.
6 (E)Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge;
tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.
7 (F)Kubanga ye Katonda waffe,
naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye,
era tuli ndiga ze z’alabirira.
Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,
8 (G)“Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba[a],
ne ku lunaku luli e Maasa[b] mu ddungu;
9 (H)bajjajjammwe gye bangezesa;
newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.
10 (I)Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana;
ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,
era tebamanyi makubo gange.’
11 (J)Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
22 (A)Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?
Lwaki ogaana okunnyamba
wadde okuwuliriza okwaziirana kwange?
2 (B)Ayi Katonda wange, emisana nkukoowoola, naye tonnyanukula;
n’ekiro bwe ntyo, naye siweerako.
3 (C)Songa ggwe Mutukuvu atudde ku Ntebe,
era ettendo lya Isirayiri yonna.
4 Bajjajjaffe baakwesiganga;
baakwesiga naawe n’obawonya.
5 (D)Baakukoowoolanga n’obalokola;
era baakwesiganga ne batajulirira.
6 (E)Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu;
abantu bampisaamu amaaso, n’abalala bannyooma.
7 (F)Bonna abandaba banduulira,
era banvuma nga bwe banyeenyeza omutwe nga bagamba nti,
8 (G)“Yeesiga Mukama;
kale amuwonye.
Obanga Mukama amwagala,
kale nno amulokole!”
9 (H)Naye ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange,
era wampa okukwesiga
ne mu buto bwange bwonna nga nkyayonka.
10 (I)Olwazaalibwa ne nteekebwa mu mikono gyo;
olwava mu lubuto lwa mmange n’obeera Katonda wange.
11 (J)Tobeera wala nange,
kubanga emitawaana ginsemberedde,
ate nga tewali mulala n’omu asobola kunnyamba.
12 (K)Zisseddume nnyingi zinneetoolodde,
zisseddume enkambwe ez’e Basani[a] zinzingizizza.
13 (L)Banjasamiza akamwa kaabwe
ng’empologoma bw’ewuluguma ng’etaagulataagula omuyiggo gwayo.
14 (M)Ngiyiddwa ng’amazzi,
n’amagumba gange gasowose mu nnyingo zaago.
Omutima gwange guli ng’obubaane,
era gusaanuukidde mu mubiri gwange.
15 (N)Amaanyi gampweddemu, gakaze ng’oluggyo;
n’olulimi lwange lukutte waggulu mu kibuno kyange.
Ondese awo mu nfuufu ng’omufu.
16 (O)Abantu ababi banneetoolodde;
banneebunguludde ng’embwa ennyingi;
banfumise ne bawummula ebibatu byange n’ebigere byange.
17 (P)Amagumba gansowose nnyinza n’okugabala.
Abalabe bange bantunuulira nga bannyoomoola.
18 (Q)Bagabana engoye zange;
era ekyambalo kyange bakikubira akalulu.
19 (R)Naye ggwe, Ayi Mukama, tobeera wala nange.
Ggwe, Amaanyi gange, yanguwa okunnyamba!
20 (S)Omponye okuttibwa n’ekitala;
obulamu bwange obw’omuwendo butaase mu maanyi g’embwa!
21 Nzigya mu kamwa k’empologoma,
omponye amayembe g’embogo enkambwe.
22 (T)Nnaategezanga ku linnya lyo mu booluganda;
nnaakutenderezanga mu kibiina ky’abantu.
23 (U)Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga.
Abaana ba Yakobo mwenna mumugulumizenga;
era mumussengamu ekitiibwa nga mumutya, mmwe abaana ba Isirayiri mwenna.
24 (V)Kubanga tanyooma kwaziirana
kw’abo abali mu nnaku,
era tabeekweka,
wabula abaanukula bwe bamukoowoola.
25 (W)Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene, ne nkutendereza olw’ebyo by’onkoledde.
Obweyamo bwange nnaabutuukirizanga mu maaso gaabo abakutya.
26 (X)Abaavu banaalyanga ne bakkuta,
abo abanoonya Mukama banaamutenderezanga.
Emitima gyabwe ginaajaguzanga emirembe gyonna.
Zabbuli Ya Dawudi.
141 (A)Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi!
Owulire eddoboozi lyange, nga nkukoowoola.
2 (B)Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go,
n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi.
3 Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange,
era bwe njogera onkomeko.
4 (C)Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi,
n’okwemalira mu bikolwa ebibi;
nneme okwetaba n’abantu abakola ebitali bya butuukirivu,
wadde okulya ku mmere yaabwe.
5 (D)Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa;
muleke annenye, ekyo kinaaba ng’amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange;
sijja kugagaana.
Naye nnaasabanga bulijjo nga sikkiriziganya na babi wadde n’ebikolwa byabwe.
6 Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri ab’okubasalira omusango,
olwo ne balyoka bayiga nti ebigambo byange bya mazima.
7 (E)Balyogera nti, “Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike,
n’amagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa k’emagombe.”
Zabbuli Ya Dawudi.
143 (A)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
wulira okwegayirira kwange!
Ggwe omwesigwa
era omutuukirivu jjangu ombeere.
2 (B)Tonsalira musango,
kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.
3 Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi;
anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda.
4 (C)Noolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi,
n’omutima gwange gwennyise.
5 (D)Nzijukira ennaku ez’edda,
ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna,
ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo.
6 (E)Ngolola emikono gyange gy’oli,
ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.
7 (F)Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama,
kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi.
Tonkisa maaso go,
nneme okufaanana ng’abafu.
8 (G)Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo;
kubanga ggwe gwe neesiga.
Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu,
kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
9 (H)Mponya, Ayi Mukama, abalabe bange,
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
10 (I)Njigiriza okukola by’oyagala,
kubanga ggwe Katonda wange!
Omwoyo wo omulungi ankulembere,
antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.
Ebbaluwa eri Abawaŋŋanguse
29 (A)Bino bye byali mu bbaluwa nnabbi Yeremiya gye yaweereza okuva mu Yerusaalemi eri abakadde abaali bakyasigaddewo mu bawaŋŋanguse n’eri bakabona, ne bannabbi n’abantu bonna Nebukadduneeza be yali atutte mu buwaŋŋanguse mu Babulooni okuva mu Yerusaalemi.
4 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ng’agamba abo bonna be natwala mu buwaŋŋanguse okuva mu Yerusaalemi okugenda mu Babulooni nti, 5 (B)“Mwezimbire amayumba mutuule omwo; mulime ennimiro mulye ebibala byamu. 6 Muwase muzaale abaana aboobulenzi n’aboobuwala; muwasize batabani bammwe abakazi, ne bawala bammwe mubafumbize, nabo bazaale abaana abalenzi n’abawala. Mweyongere obungi eyo, temukendeera. 7 (C)Era munoonye emirembe n’okukulaakulana kw’ekibuga gye mbatutte mu buwaŋŋanguse. Musabenga Mukama, ekibuga mukisabire kubanga bwe kikulaakulana nammwe mujja kukulaakulana.” 8 (D)Ddala kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, “Temukkiriza bannabbi n’abalaguzi abali mu mmwe kubalimbalimba. Temussaayo mwoyo ku birooto byabwe bye babalootolola. 9 (E)Babategeeza obunnabbi bwa bulimba mu linnya lyange. Sibatumanga,” bw’ayogera Mukama.
10 (F)Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Emyaka nsanvu nga giweddeko e Babulooni, ndijja gye muli ntuukirize ekisuubizo kyange eky’ekisa mbakomyewo mu kifo kino. 11 (G)Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ez’okubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ez’okubawa essuubi era n’obulamu obw’omu maaso,” bw’ayogera Mukama. 12 (H)“Awo mulimpita ne mujja ne munsaba, nange ne mbawulira,” bw’ayogera Mukama. 13 (I)“Mulinnoonya ne mundaba bwe mulinnoonya n’omutima gwammwe gwonna.
13 (A)Kaakano njogera gye muli Abaamawanga, nga bwe ndi omutume eri Abaamawanga, ngulumiza obuweereza bwange, 14 (B)singa kisoboka nkwase baganda bange obuggya abamu ku bo basobole okulokolebwa. 15 (C)Kubanga obanga okugobebwa kwabwe kwe kutabaganya ensi, okusembezebwa kwabwe kulitegeeza ki, bwe kutaliwa bafu bulamu? 16 (D)Kale kaakano obanga ekitole ky’eŋŋano ekandiddwa ne kiweebwayo ng’ekibala ekibereberye kitukuvu, n’eŋŋaano yonna ntukuvu; era obanga ekikolo kitukuvu, n’amatabi matukuvu.
17 (E)Naye obanga amatabi agamu gaawogolebwa, ate nga ggwe eyali omuzeyituuni ogw’omu nsiko wasimbibwa ku kikolo kyagwo, n’ogabana ku bugimu bw’ekikolo ky’omuzeyituuni, 18 (F)teweenyumiririzanga ku matabi ago; naye bwe weenyumirizanga, jjukira nga si gwe owaniridde ekikolo, naye ekikolo kye kikuwaniridde. 19 Oyinza okwogera nti, “Amatabi gaawogolwako, ndyoke nsimbibweko.” 20 (G)Ky’oyogedde kiba kituufu. Weewaawo gaawogolwako lwa butakkiriza, kyokka ggwe onywedde lwa kukkiriza. Teweenyumirizanga, naye otyanga. 21 Kuba obanga Katonda teyasaasira matabi ga buzaaliranwa, nammwe ayinza obutabasaasira.
22 (H)Kale mufumiitirize ku kisa n’obukambwe bwa Katonda. Aba mukambwe eri abo abaagwa, naye n’aba wa kisa eri ggwe, bwe weeyongera okunywerera mu kisa kye, kubanga naawe bw’otonywere oliwogolwako. 23 (I)Era n’abo oluvannyuma bwe balikkiriza, balizzibwako ku nduli kubanga Katonda ayinza okubazaako kuli. 24 Kuba obanga ggwe mu buzaaliranwa bwo gwe eyawogolwa ku muzeyituuni, wazzibwa ku muzeyituuni ogutali gwa buzaaliranwa bo, abo ab’obuzaaliranwa tebalisinga nnyo okuzzibwa ku muzeyituuni gwabwe bo?
Okufa kwa Laazaalo
11 (A)Awo olwatuuka omuntu ayitibwa Laazaalo eyali e Besaniya n’alwala. Besaniya ky’ekibuga Maliyamu ne Maliza bannyina ba Laazaalo mwe baali. 2 (B)Maliyamu oyo ye yasiiga Mukama waffe amafuta ag’akaloosa ku bigere n’abisiimuuza enviiri ze. 3 (C)Awo Maliyamu ne Maliza ne batumira Yesu ne bamutegeeza nti, “Mukama waffe, mukwano gwo gw’oyagala ennyo mulwadde nnyo.”
4 (D)Naye Yesu bwe yakitegeera n’agamba nti, “Ekigendereddwa mu bulwadde buno si kufa, wabula kulaga kitiibwa kya Katonda, era n’okuweesa Omwana wa Katonda ekitiibwa.” 5 Yesu yali mukwano gwa Maliyamu ne Maliza ne Laazaalo, naye bwe yawulira nga Laazaalo alwadde n’ayongera n’asigala we yali 6 n’amalawo ennaku endala bbiri nga tanagenda gye bali. 7 (E)Awo ennaku bbiri bwe zaayitawo n’agamba abayigirizwa be nti, “Tuddeyo e Buyudaaya.”
8 (F)Kyokka abayigirizwa be, ne bamugamba nti, “Labbi, mu nnaku ntono ezaakayita Abayudaaya baagezaako okukutta. Ate gy’odda?”
9 (G)Yesu n’abaddamu nti, “Essaawa ez’emisana ziwera kkumi na bbiri, era omuntu bw’atambula emisana teyeesittala kubanga aba alaba. 10 Wabula atambula ekiro ye yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye.”
11 (H)Bwe yamala okwogera ebyo n’abagamba nti, “Mukwano gwaffe Laazaalo yeebase, naye ŋŋenda kumuzuukusa.”
12 Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe oba yeebase anaazuukuka.” 13 (I)Naye Yesu yayogera ku kufa kwa Laazaalo, kyokka bo abayigirizwa be ne balowooza nti ayogera ku kwebaka tulo.
14 Awo n’alyoka abategeereza ddala nti, “Laazaalo afudde. 15 Naye ku lw’obulungi bwammwe, nsanyuse kubanga ssaaliyo, mulyoke mukkirize; kale mujje tugende gy’ali.”
16 (J)Awo Tomasi eyayitibwanga Didumo[a] n’agamba banne nti, “Ka tugende tufiire wamu naye.”
17 (K)Bwe baatuuka e Besaniya Yesu n’asanga nga Laazaalo yaakamala ennaku nnya mu ntaana. 18 (L)Besaniya kyali kumpi ne Yerusaalemi, kilomita nga ssatu. 19 (M)Abayudaaya bangi baali bazze okukubagiza Maliza ne Maliyamu olw’okufiirwa mwannyinaabwe. 20 (N)Maliza bwe yawulira nti Yesu ajja, n’agenda okumusisinkana, kyokka Maliyamu n’asigala mu nnyumba ng’atudde. 21 (O)Awo Maliza n’agamba Yesu nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde. 22 (P)Era kaakano mmanyi nti buli ky’onoosaba Katonda, ajja kukikuwa.”
23 Yesu n’agamba Maliza nti, “Mwannyoko ajja kuzuukira.”
24 (Q)Maliza n’amuddamu nti, “Mmanyi nti alizuukira ku lunaku olw’enkomerero.”
25 (R)Yesu n’amugamba nti, “Nze kuzuukira n’obulamu; akkiriza nze newaakubadde ng’afudde, aliba mulamu, 26 na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe n’emirembe. Ekyo okikkiriza?”
27 (S)Maliza n’amugamba nti, “Mukama wange nzikiriza nti ggwe Kristo Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.”
Yesu Asiigibwa Amafuta ag’Akaloosa e Besaniya
12 (A)Bwe waali wakyabulayo ennaku mukaaga emikolo gy’Embaga ejjuukirirwako Okuyitako gitandike, Yesu n’ajja e Besaniya ewa Laazaalo gwe yazuukiza. 2 (B)Ne bamufumbira ekyeggulo, Maliza n’aweereza, Laazaalo nga ye omu ku baali batudde ne Yesu okulya. 3 (C)Awo Maliyamu n’addira eccupa erimu amafuta amalungi ag’akaloosa ag’omugavu, ag’omuwendo omungi, n’agafuka ku bigere bya Yesu n’abisiimuuza enviiri ze. Ennyumba yonna n’ejjula akaloosa k’amafuta ago.
4 (D)Naye Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu, eyali ow’okumulyamu olukwe, n’agamba nti, 5 “Lwaki amafuta ago tegatundiddwamu eddinaali ebikumi bisatu ne zigabirwa abaavu?” 6 (E)Yayogera bw’atyo si lwa kuba nti yali alumirwa nnyo abaavu, wabula Lwa kubanga yali mubbi. Yatwalanga ensimbi ezaaterekebwanga mu nsawo y’ensimbi.
7 (F)Yesu n’alyoka abagamba nti, “Omukazi mumuleke, akoze ekyo lwa kunteekerateekera kuziikibwa kwange. 8 (G)Abaavu muli nabo bulijjo, naye Nze sijja kuba nammwe bulijjo.”
Olukwe olw’Okutta Laazaalo
9 (H)Awo ekibiina kinene eky’Abayudaaya bwe bategeera nti Yesu ali Besaniya, ne bajja, si Lwa Yesu yekka, naye n’okulaba Laazaalo, Yesu gwe yazuukiza. 10 Awo bakabona abakulu ne basala amagezi okutta Laazaalo,
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.