Book of Common Prayer
Oluyimba lwa Asafu.
78 (A)Muwulire okuyigiriza kwange mmwe abantu bange,
musseeyo omwoyo ku bye njogera.
2 (B)Ndyogerera mu ngero,
njogere ebintu eby’ekyama ebyaliwo edda,
3 (C)ebintu bye twawulira ne tumanya;
ebintu bajjajjaffe bye baatutegeeza.
4 (D)Tetuubikisenga baana baabwe,
naye tunaabuuliranga buli mulembe ogunnaddangawo
ebikolwa bya Mukama eby’ekitalo,
n’amaanyi ge n’ebyamagero bye yakola.
5 (E)Yawa Yakobo ebiragiro,
n’ateeka amateeka mu Isirayiri;
n’alagira bajjajjaffe
babiyigirizenga abaana baabwe,
6 (F)ab’omu mulembe oguliddirira nabo babimanye,
n’abaana abalizaalibwa,
nabo babiyigirize abaana baabwe,
7 (G)balyoke beesigenga Katonda,
era balemenga okwerabira ebyo byonna Katonda bye yakola;
naye bagonderenga ebiragiro bye.
8 (H)Baleme okuba nga bajjajjaabwe,
omulembe ogw’abakakanyavu
era abajeemu abatali bawulize,
ab’emyoyo egitali myesigwa eri Katonda.
9 (I)Abaana ba Efulayimu abaalina obusaale obw’okulwanyisa,
naye ne badduka mu lutalo,
10 (J)tebaatuukiriza ndagaano ya Katonda;
ne bagaana okugondera amateeka ga Mukama.
11 (K)Beerabira ebyo bye yakola,
n’ebyamagero bye yabalaga.
12 (L)Yakola ebyamagero mu maaso ga bajjajjaabwe nga bali
mu nsi y’e Misiri, mu kitundu kya Zowani.
13 (M)Ennyanja yajaawulamu,
amazzi ne geetuuma ebbali n’ebbali ng’ebisenge.
14 (N)Emisana yabakulemberanga n’ekire,
n’ekiro n’abakulemberanga n’empagi ey’omuliro.
15 (O)Yayasa enjazi mu ddungu,
n’abawa amazzi amangi agaali ng’agava mu buziba bw’ennyanja.
16 Yaggya ensulo mu lwazi,
n’akulukusa amazzi ng’emigga.
17 (P)Naye bo ne beeyongera bweyongezi okwonoona,
ne bajeemera Oyo Ali Waggulu Ennyo nga bali mu ddungu.
18 (Q)Ne bagezesa Katonda mu bugenderevu,
nga bamusaba emmere gye baalulunkanira.
19 (R)Era ne boogera ku Katonda; nga bagamba nti,
“Katonda asobola okutuliisiza mu ddungu?
20 (S)Weewaawo yakuba olwazi,
amazzi ne gakulukuta ng’emigga;
naye anaatuwa emmere?
Anaawa abantu be ennyama?”
21 (T)Awo Mukama bwe yawulira ebyo n’asunguwala nnyo;
omuliro gwe ne gwaka ku Yakobo,
n’obusungu bwe ne bubuubuukira ku Isirayiri.
22 (U)Kubanga tebakkiriza Katonda,
era tebeesiga maanyi ge agalokola.
23 (V)Naye era n’alagira eggulu;
n’aggulawo enzigi z’omu ggulu.
24 (W)N’abaweereza maanu okuva mu ggulu balye.
Yabawa emmere eyava mu ggulu.
25 Abantu ne balya emmere ya bamalayika;
Mukama n’abawanga emmere nnyingi eyabamaliranga ddala.
26 (X)N’akunsa empewo ey’Ebuvanjuba okuva mu ggulu,
era n’aweereza empewo okuva obukiika obwaddyo n’amaanyi ge.
27 Yatonnyesa ennyama okuva mu ggulu ennyingi ennyo ng’enfuufu;
n’abaweereza n’obunyonyi enkumu ennyo ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja.
28 Ebyokulya ebyo n’abisuula wakati mu lusiisira lwabwe;
okwetooloola eweema zaabwe.
29 (Y)Awo ne balya ne bakkuta nnyo;
kubanga yabawa kye baali bayaayaanira.
30 (Z)Naye bwe baali nga bakyalulunkana,
nga n’emmere ekyali mu kamwa kaabwe,
31 (AA)obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako,
n’abattamu abasajja abasinga amaanyi;
abavubuka ba Isirayiri ne bazikirizibwa.
32 (AB)Naye newaakubadde ebyo byonna byabatuukako, kyokka beeyongera okwonoona;
newaakubadde nga yabakolera ebyamagero, naye tebakkiriza.
33 (AC)Mukama kyeyava asala ku myaka gyabwe,
n’abaleetako okuzikirizibwa okw’amangu era okw’entiisa.
34 (AD)Bwe yattanga abamu ku bo, ne balyoka bamunoonya,
ne beenenya ne badda gy’ali.
35 (AE)Ne bajjukira nti Katonda lwe Lwazi lwabwe;
era nti Katonda Ali Waggulu Ennyo ye Mununuzi waabwe.
36 (AF)Kyokka baamuwaananga n’emimwa gyabwe,
nga bwe bamulimba n’ennimi zaabwe,
37 (AG)so tebaali beesigwa mu mitima gyabwe,
era nga tebatuukiriza ndagaano ye.
38 (AH)Naye ye n’abakwatirwanga ekisa
n’abasonyiwanga,
n’atabazikiriza;
emirundi n’emirundi ng’akoma ku busungu bwe,
n’atabamalirako kiruyi kye okubazikiririza ddala.
39 (AI)Yajjukira nga baali mubiri bubiri;
ng’empewo egenda n’etedda!
40 (AJ)Baamujeemeranga nnyo bwe baali mu ddungu;
ne banakuwaza nnyo omutima gwe.
41 (AK)Ne baddamu ne bakema Katonda,
ne banyiiza Omutukuvu wa Isirayiri.
42 Tebajjukira buyinza bwe;
wadde olunaku lwe yabanunulirako mu mikono gy’omulabe;
43 bwe yalaga obubonero bwe mu Misiri,
n’ebyamagero bye mu kitundu kya Zowani,
44 (AL)yafuula amazzi g’emigga gyabwe omusaayi,
ne batanywa mazzi gaagyo.
45 (AM)Yabaweereza agabinja g’ensowera ne zibaluma,
n’abaweereza n’ebikere ne bibadaaza.
46 (AN)Ebirime n’ebibala byabwe yabiwa enzige
ne bulusejjera.
47 (AO)Yazikiriza emizabbibu gyabwe n’omuzira,
era ne gukuba n’emisukomooli gyabwe.
48 (AP)Yatta ente zaabwe n’amayinja g’omuzira;
n’ebisibo byabwe ne bittibwa eraddu.
49 (AQ)Obusungu bwe obungi bwababuubuukirako,
n’ekiruyi kye n’obukambwe ne bibamalamu ensa.
N’alyoka abasindikira ekibinja kya bamalayika okubazikiriza.
50 Yabalaga obusungu bwe,
n’atabasonyiwa kufa,
n’abasindikira kawumpuli.
51 (AR)Yatta ababereberye bonna ab’omu Misiri,
nga be bavubuka ab’ebibala ebibereberye eby’omu nnyumba ya Kaamu.
52 (AS)N’alyoka afulumya abantu be ng’endiga,
n’abatambuza mu ddungu ng’ekisibo.
53 (AT)N’abaluŋŋamya mu mirembe nga tebatya,
ennyanja n’esaanyaawo abalabe baabwe.
54 (AU)N’abatuusa ku nsalo y’ensi entukuvu;
ku lusozi lwe yeewangulira, n’omukono gwe ogwa ddyo.
55 (AV)Yagobamu amawanga nga balaba,
n’abagabanyiza ebitundu by’ensi eyo;
n’atuuza bulungi ebika bya Isirayiri mu maka gaabyo.
56 Naye era ne bakema Katonda;
ne bamujeemera oyo Ali Waggulu Ennyo,
ne bagaana okugondera ebiragiro bye.
57 (AW)Ne bamuvaako ne baba bakuusa nga bajjajjaabwe bwe baali,
ne baggwaamu obwesigwa ng’omutego gw’obusaale omukyamu.
58 (AX)Kubanga baasunguwaza Katonda olw’ebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu,
ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala.
59 (AY)Katonda bwe yabiraba n’asunguwala nnyo, n’aviira ddala ku Isirayiri.
60 (AZ)N’ava mu weema ey’omu Siiro[a],
eweema mwe yabeeranga ng’ali mu bantu be.
61 (BA)N’awaayo amaanyi ge mu busibe,
n’ekitiibwa kye n’akiwaayo eri omulabe.
62 Abantu be yabaleka ne battibwa n’ekitala,
n’asunguwalira omugabo gwe.
63 (BB)Omuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi,
ne bawala baabwe ne babulwa ow’okubawasa.
64 (BC)Bakabona baabwe battibwa n’ekitala, ne bannamwandu baabwe tebaasobola kubakungubagira.
65 (BD)Awo Mukama n’alyoka agolokoka ng’ali nga ava mu tulo,
ng’omusajja omuzira azuukuka mu tulo ng’atamidde.
66 (BE)N’akuba abalabe be ne badduka;
n’abaswaza emirembe gyonna.
67 Mukama yaleka ennyumba ya Yusufu,
n’ekika kya Efulayimu n’atakironda;
68 (BF)naye n’alonda ekika kya Yuda,
lwe lusozi Sayuuni lwe yayagala.
69 N’azimba awatukuvu we ne wagulumira ng’ensozi empanvu;
ne waba ng’ensi gye yanyweza emirembe gyonna.
70 (BG)Yalonda Dawudi omuweereza we;
n’amuggya mu kulunda endiga.
71 (BH)Ave mu kuliisa endiga,
naye alundenga Yakobo, be bantu be,
era alabirirenga Isirayiri omugabo gwe, gwe yeerondera.
72 (BI)N’abalabirira n’omutima ogutaliimu bukuusa,
n’abakulembera n’amagezi g’emikono gye.
Okugaana Okuwulira Bannabbi
21 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mugatte ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, ennyama mugyeriire. 22 (B)Kubanga ku lunaku lwe nabaggya mu Misiri saayogera eri bakitammwe wadde okubalagira ebikwata ku biweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka. 23 (C)Naye etteeka lino lye nabawa ligamba nti, ‘Muŋŋondere, nange nnaabeera Katonda wammwe, nammwe munaabeera bantu bange. Mutambulire mu makubo gonna ge mbalagira, mulyoke mubeere bulungi.’ 24 (D)Naye tebampulira wadde okunzisaako omwoyo, wabula bagoberera okuteesa kw’emitima gyabwe egijjudde ebibi. Badda emabega so tebaalaga mu maaso. 25 (E)Okuva mu biseera bajjajjammwe bye baaviiramu e Misiri okutuusa kaakano, mbadde mpeereza abaddu bange bannabbi emirundi n’emirundi. 26 (F)Naye tebampuliriza wadde okunzisaako omwoyo, bakakanyaza ensingo zaabwe era ne bakola ebibi ne basinga ne bajjajjaabwe.
27 (G)“Kale ojja kubagamba bino byonna naye tebajja kukuwuliriza, bw’onoobayita tebajja kukwanukula. 28 Noolwekyo bagambe nti, ‘Lino ly’eggwanga eritagondera Mukama Katonda waalyo oba okufaayo ku kugololwa. Amazima gabulawo, tegali ku mimwa gyabwe. 29 (H)Salako enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala ddala okaabire ku ntikko z’ensozi, kubanga Mukama alese abantu be era n’asuula ab’omu mulembe guno mw’asunguwalidde ennyo.’ ”
Ekiwonvu eky’Okufiiramu
30 (I)“Abantu ba Yuda bakoze ekintu eky’ekivve mu maaso gange, bw’ayogera Mukama. Batadde bakatonda abalala mu nnyumba yange eyitibwa erinnya lyange ne bagyonoona. 31 (J)Bazimbye ebifo ebigulumivu ebya Tofesi mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ne bassaddaakiramu batabani baabwe be bazaala n’abawala, kye saalowoozaako wadde okukibalagira. 32 (K)Laba, ennaku zijja,” bw’atyo bw’ayogera Mukama, bwe kitariyitibwa Kiwonvu kya Tofesi oba ekya Kinnomu ne kiyitibwa Kiwonvu kya ttambiro: kubanga baliziikamu Tofesi okutuusa we wataliba bbanga lya kuziikamu. 33 (L)Era emirambo gy’abantu bano gifuuke emmere y’ebinyonyi eby’omu bbanga era n’ensolo ez’omu nsiko, era waleme kubaawo muntu wakuzigoba; 34 (M)olwo nga nkomezza amaloboozi ag’okusanyuka n’okujaguza, n’eddoboozi ly’omusajja awasa n’ery’omugole we mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, olwo ensi ng’efuuse matongo.
13 (A)Ibulayimu n’ezzadde lye tebaaweebwa kisuubizo eky’okulya ensi yonna, ng’omugabo gwe, lwa kukwata mateeka. Katonda, ensi yagimusuubiza lwa butuukirivu obwamuweebwa olw’okukkiriza. 14 (B)Kale obanga baweebwa obusika lw’amateeka, okukkiriza kuba tekugasa, era nga n’ekisuubizo tekirina makulu. 15 (C)Katonda anyiiga Amateeka ge bwe gatagonderwa. Naye bwe wataba mateeka, tewaba mateeka ga kujeemera.
16 (D)Noolwekyo ekisuubizo kijja lwa kukkiriza, kiryoke kiweebwe lwa kisa, eri ezzadde lyonna, so si ezzadde erigondera amateeka lyokka naye n’eri ezzadde erya Ibulayimu olw’okukkiriza; era oyo ye jjajjaffe ffenna. 17 (E)Kyawandiikibwa nti, “Nkufudde jjajja w’amawanga amangi.” Ye jjajjaffe mu maaso g’oyo gwe yakkiriza, Katonda azuukiza abafu, era alaba ebitaliiwo ng’ebiriwo, era atonda ebintu ebiggya.
18 (F)Katonda yasuubiza Ibulayimu abazzukulu bangi. Ne bwe kyalabika ng’ekitasoboka, Ibulayimu yalina okukkiriza mu Katonda, n’oluvannyuma n’abeera jjajja w’amawanga mangi, okusinziira ku ekyo ekyayogerwa nti, “Ezadde lyo bwe liriba.” 19 (G)Teyatendewererwa mu kukkiriza, newaakubadde nga yali wa myaka nga kikumi, nga n’omubiri gwe munafu nnyo, ate nga ne Saala mugumba. 20 (H)Teyabuusabuusa kisuubizo kya Katonda mu butakkiriza, naye yaweebwa amaanyi lwa kukkiriza; n’agulumiza Katonda. 21 (I)Yakakasiza ddala nti Katonda kye yasuubiza asobola okukituukiriza, 22 (J)era bwe kityo ne kimubalirwa okuba obutuukirivu. 23 Naye tekyawandiikibwa ku lulwe yekka nti, “Kyamubalirwa okuba obutuukirivu;” 24 (K)naye era naffe, abakkiririza mu oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe mu bafu. 25 (L)Kristo yaweebwayo okuttibwa olw’ebibi byaffe, n’azuukizibwa tulyoke tuweebwe obutuukirivu.
Ensulo z’Amazzi amalamu
37 (A)Awo ku lunaku olw’embaga olusembayo, olusingira ddala obukulu, Yesu n’ayimirira n’ayogera n’eddoboozi ery’omwanguka n’agamba nti, “Buli alina ennyonta, ajje gye ndi anywe! 38 (B)Ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti buli akkiriza Nze emigga egy’amazzi amalamu girikulukuta nga gifuluma mu mutima gwe!” 39 (C)Yesu yali ayogera ku Mwoyo Mutukuvu, abamukkiriza gwe baali bagenda okufuna, kubanga Mwoyo oyo yali tannagabibwa, kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.
40 (D)Abantu abamu mu kibiina bwe baawulira ng’ayogera bw’atyo, ne bagamba nti, “Ddala omuntu ono ye Nnabbi.” 41 (E)Abalala ne bagamba nti, “Omuntu ono ye Kristo.” Naye abalala ne bagamba nti, “Nedda, Kristo tayinza kuba ng’ava mu Ggaliraaya.” 42 (F)Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti: Kristo wa kuva mu zzadde lya Dawudi, era nga wa kuzaalibwa mu Besirekemu, ekibuga kya Dawudi mwe yali. 43 (G)Awo ekibiina ne kyesalamu olwa Yesu. 44 (H)Abamu ne baagala okumukwata, kyokka ne wabulawo amukwatako.
Obutakkiriza bw’Abakulembeze b’Abayudaaya
45 Awo abaweereza b’abakabona abakulu n’Abafalisaayo ne baddayo eri bakabona abakulu n’Abafalisaayo. Abakulembeze Ne bababuuza nti, “Lwaki temumuleese?” 46 (I)Abaweereza ne baddamu nti, “Ebigambo by’ayogera bya kitalo, tetubiwulirangako.” 47 (J)Abafalisaayo ne babagamba nti, “Era nammwe abakyamizza? 48 (K)Waliwo n’omu ku bakulembeze wadde ku Bafalisaayo eyali akkiririzza mu muntu oyo? 49 Naye ekibiina ky’abantu bano abatamanyi mateeka, bakolimiddwa!”
50 (L)Awo Nikodemo, omu ku bo eddako eyagenda eri Yesu, n’abuuza nti, 51 “Amateeka gaffe gakkiriza okusalira omuntu omusango nga tannaba kuwozesebwa okutegeera ky’akoze?” 52 (M)Ne bamuddamu nti, “Naawe wava Ggaliraaya? Nnoonyereza, ojja kulaba nti e Ggaliraaya teva nnabbi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.