Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 137

137 (A)Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni,
    ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni.
Ne tuwanika ennanga zaffe
    ku miti egyali awo.
(B)Abaatunyaga ne batulagira okuyimba,
    abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka;
    nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.”

Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama
    mu nsi eteri yaffe?
Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi,
    omukono gwange ogwa ddyo gukale!
(C)Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange
    singa nkwerabira,
ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako
    okusinga ebintu ebirala byonna.

(D)Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola,[a]
    ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa;
ne baleekaana nti, “Kisuule,
    kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”
(E)Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa,
    yeesiimye oyo alikusasula ebyo
    nga naawe bye watukola.
(F)Yeesiimye oyo aliddira abaana bo
    n’ababetentera[b] ku lwazi.

Zabbuli 144

Zabbuli ya Dawudi.

144 (A)Atenderezebwe Mukama, olwazi lwange,
    atendeka emikono gyange okulwana,
    era ateekerateekera engalo zange olutalo.
(B)Mukama anjagala ye Katonda wange era kye kiddukiro kyange,
    ge maanyi gange amangi era ye mulokozi wange.
Ye ngabo yange mwe neekweka.
    Awangula amawanga n’agassa wansi w’ebigere byange.

(C)Ayi Mukama, omuntu kye ki ggwe okumufaako,
    oba omwana w’omuntu, ggwe okumulowoozaako?
(D)Omuntu ali nga mukka.
    Ennaku ze ziri ng’ekisiikirize ekiyita obuyisi.

(E)Yawula mu ggulu lyo, Ayi Mukama, okke!
    Kwata ku nsozi zinyooke omukka!
(F)Myansa abalabe basaasaane,
    era lasa obusaale bwo obazikirize.
(G)Ogolole omukono gwo ng’osinziira waggulu ennyo,
    omponye,
onzigye mu mazzi amangi,
    era onzigye mu mikono gya bannamawanga;
(H)ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
    abalayira nti kya mazima, so nga bulimba bwereere.

(I)Ayi Mukama, nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya;
    nnaakukubiranga ennanga ey’enkoba ekkumi,
10 (J)ggwe awa bakabaka obuwanguzi;
    amponya, nze omuddu wo Dawudi, ekitala ekyogi.

11 (K)Ndokola, omponye onzigye
    mu mukono gwa bannamawanga bano
ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
    era omukono gwabwe ogwa ddyo gwa bulimba.

12 (L)Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama,
    babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi,
ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda
    okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.
13 Amawanika gaffe gajjule ebibala
    ebya buli ngeri.
Endiga zaffe zizaale
    enkumi n’obukumi zijjule amalundiro gaffe.
14     Ente zaffe ziwalule ebizito.
Ebisenge by’ekibuga bireme kumenyebwa.
    Waleme kubaawo kukaaba
    n’okwaziirana kwonna mu nguudo ez’omu bibuga byaffe.
15 (M)Abantu abaweereddwa emikisa egyo beesiimye!
    Balina omukisa abantu abo abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.

Zabbuli 42-43

EKITABO II

Zabbuli 42–72

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

42 (A)Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi,
    n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.
(B)Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu.
    Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?
(C)Nkaabirira Mukama
    emisana n’ekiro.
Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro,
    abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
(D)Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange
    nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene,
ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu,
    nga tugenda mu nnyumba ya Katonda,
nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka
    n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.

(E)Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Essuubi lyo liteeke mu Katonda,
    kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange;
    ye mubeezi wange.

Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise,
    yeeraliikiridde;
naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani
    ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni[a] ne ku Lusozi Mizali.
(F)Obuziba bukoowoola obuziba,
    olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro
amayengo n’amasingisira go
    bimpiseeko.

(G)Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro
    ne muyimbira oluyimba lwe;
    y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.

(H)Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti,
    “Lwaki onneerabidde?
Lwaki ŋŋenda nkungubaga
    olw’okujoogebwa abalabe bange?”
10 Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange
    bancocca,
nga bwe bagamba buli kiseera nti,
    “Katonda wo ali ludda wa?”

11 (I)Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Weesigenga Katonda,
    kubanga nnaamutenderezanga,
    Omulokozi wange era ye Katonda wange.
43 (J)Ayi Katonda, onnejjeereze
    omponye eggwanga eritatya Katonda
    ondokole mu mikono gy’abantu abalimba, abakola ebibi.
(K)Ddala ddala ggwe Katonda, ekigo kyange eky’amaanyi.
    Lwaki ondese?
Lwaki ŋŋenda nkaaba
    nga nnyigirizibwa omulabe?
(L)Kale tuma omusana gwo n’amazima
    binnuŋŋamye;
bindeete ku lusozi lwo olutukuvu,
    mu kifo mw’obeera.
(M)Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda,
    eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika.
Weewaawo nnaakutenderezanga n’ennanga,
    Ayi Katonda, Katonda wange.

(N)Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse munda yange?
Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga,
    Omulokozi wange era Katonda wange.

Yeremiya 31:27-34

27 (A)“Ennaku zijja,” bwayogera Mukama, “lwe ndisimba ennyumba ya Isirayiri ne nnyumba ya Yuda n’ezzadde ly’abantu n’ery’ensolo. 28 (B)Nga bwe nabalabirira nga bakuulibwa era nga bayuzibwayuzibwa, nga babetentebwa, era nga bazikirizibwa ne beeleetako ekikangabwa, bwe ntyo bwe ndibalabirira nga bazimbibwa era nga basimbibwa,” bw’ayogera Mukama. 29 (C)“Mu nnaku ezo abantu banaaba tebakyagamba nti,

“ ‘Bakitaabwe balidde emizabbibu egikaawa[a],
    n’amannyo g’abaana ne ganyenyeera.’ ”

30 (D)Wabula buli muntu alifa olw’obutali butuukirivu bwe ye, buli muntu alya ezabbibu erinyenyeeza amannyo, amannyo ge galinyenyeera.

31 (E)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ekiseera kijja,
    lwe ndikola endagaano empya
n’ennyumba ya Isirayiri
    era n’ennyumba ya Yuda.
32 (F)Teribeera ng’endagaano eri
    gye nakola ne bajjajjaabwe
bwe nabakwata ku mukono
    okubakulembera okubaggya mu nsi y’e Misiri,
kubanga baamenya endagaano yange nabo
    wadde nga nze nnali nga omwami waabwe,”
    bw’ayogera Mukama.
33 (G)“Eno y’endagaano gye nnaakola
    n’ennyumba ya Isirayiri mu kiseera ekyo,” bw’ayogera Mukama.
“Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe,
    ne ngawandiika ku mitima gyabwe.
Ndibeera Katonda waabwe,
    nabo balibeera bantu bange.
34 (H)Omuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we,
    oba omusajja muganda we ng’agamba nti, ‘Manya Mukama,’
Kubanga bonna balimmanya,
    okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,”
    bw’ayogera Mukama.
“Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe,
    n’ekibi kyabwe ne siddamu kukijjukira.”

Abaruumi 11:25-36

25 (A)Kubanga ssaagala mmwe abooluganda obutamanya kyama kino nga mwelowooza okuba ab’amagezi, ng’abamu ku Bayisirayiri bwe baakakanyaza emitima gyabwe, okutuusa mmwe Abaamawanga, lwe muliyingira. 26 N’oluvannyuma Isirayiri yenna alirokolebwa, ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti,

“Omulokozi aliva mu Sayuuni,
    era aliggyawo obutatya Katonda mu bazzukulu ba Yakobo.
27 (B)Era eyo ye ndagaano yange nabo,
    bwe ndibaggyako ebibi byabwe.”

28 (C)Mu njiri balabe ku lwammwe, naye mu kulondebwa baagalwa olwa bajjajjaabwe. 29 (D)Kubanga Katonda bw’agabira abantu ebirabo oba bw’abayita, teyejjusa. 30 (E)Kuba nga mmwe edda bwe mwajeemera Katonda, kyokka kaakano nga musaasiddwa olw’obujeemu bw’Abayudaaya, 31 bwe batyo nabo kaakano bajeemu, eri ekyo ekyali okusaasira gye muli, balyoke basaasirwe. 32 (F)Kubanga Katonda yaleka abantu bonna mu bujeemu alyoke abakwatirwe ekisa.

33 (G)Kale nga Katonda wa kitalo,
    ng’amagezi ge mangi n’okutegeera kwe kungi era n’obugagga bungi;
    ensala ye ey’emisango nga tekeberekeka, n’amakubo ge tegekkaanyizika.
34 (H)“Kubanga ani ayinza okutegeera okulowooza kwa Mukama?
    Oba ani ayinza okumuluŋŋamya?”
35 (I)“Oba ani eyali asoose okumuwa ekintu,
    alyoke amuddizeewo?”
36 (J)Kubanga byonna biva gy’ali, era biyita mu ye era bidda gy’ali.
    Ekitiibwa kibe gy’ali emirembe gyonna. Amiina.

Yokaana 11:28-44

28 (A)Awo Maliza bwe yamala okwogera ebyo, n’ava eri Yesu n’agenda eri Maliyamu n’amuzza ku bbali mu kyama ng’agamba nti, “Omuyigiriza azze, akuyita.” 29 Maliyamu olwawulira ekyo n’asitukiramu n’agenda eri Yesu. 30 (B)Yesu yali akyali mu kifo Maliza we yamusisinkana nga tannatuuka mu kibuga. 31 (C)Abayudaaya abaali bazze okukubagiza abaali mu nnyumba ne Maliyamu bwe baamulaba ng’ayimiridde mangu ng’afuluma ne bamugoberera ne balowooza nti agenda ku ntaana akaabire eyo.

32 (D)Maliyamu bwe yatuuka awali Yesu n’afukamira ku bigere bye, nga bw’agamba nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.”

33 (E)Yesu bwe yamulaba ng’akaaba era n’Abayudaaya abaali naye nga bakaaba n’anyolwa mu mutima, n’ajjula obuyinike. 34 N’abuuza nti, “Mwamuteeka wa?”

Ne bamugamba nti, “Mukama waffe jjangu olabeyo.”

35 (F)Yesu n’akaaba amaziga.

36 (G)Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Ng’abadde amwagala nnyo!”

37 (H)Naye abamu ku bo ne bagamba nti, “Ono eyazibula amaaso ga muzibe, lwaki teyaziyiza musajja ono kufa?”

Yesu Azuukiza Laazaalo

38 (I)Awo Yesu ne yeeyongera okujjula obuyinike. N’atuuka ku ntaana. Yali mpuku ng’eggaliddwawo n’ejjinja. 39 (J)Yesu n’agamba nti, “Muggyeewo ejjinja.”

Naye Maliza, mwannyina w’omufu, n’amugamba nti, “Kaakano awunya nnyo, kubanga yaakamala ennaku nnya mu ntaana.”

40 (K)Yesu n’amuddamu nti, “Saakugambye nti bw’onokkiriza onoolaba ekitiibwa kya Katonda?”

41 (L)Ne baggyawo ejjinja. Awo Yesu n’atunula waggulu n’agamba nti, “Kitange nkwebaza olw’okumpulira. 42 (M)Mmanyi nti bulijjo ompulira, naye kino nkyogedde olw’abantu bano abayimiridde wano, balyoke bakkirize nti ggwe wantuma.”

43 (N)Bwe yamala okwogera bw’atyo, n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Laazaalo fuluma.” 44 (O)Awo Laazaalo n’ava mu ntaana, ng’amagulu ge n’emikono bizingiddwa mu ngoye eziziikibwamu abafu, nga n’ekiremba kisibiddwa ku maaso ge.

Yesu n’abagamba nti, “Mumusumulule atambule.”

Yokaana 12:37-50

37 (A)Kyokka newaakubadde Yesu yakola ebyamagero bingi, tebaamukkiriza. 38 (B)Ekigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire ekigamba nti,

“Mukama ani akkiriza bye tugamba?
    Ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?”

39 Kyebaava batakkiriza kubanga nnabbi Isaaya yayongera n’agamba nti,

40 (C)“Katonda yabaziba amaaso,
    era n’abakakanyaza emitima,
amaaso gaabwe galeme okulaba,
    era n’emitima gyabwe gireme okutegeera,
    era gireme okukyuka, mbawonye.”

41 (D)Ebyo nnabbi Isaaya yabyogera kubanga yalaba ekitiibwa kye, era n’amwogerako.

42 (E)Era waaliwo bangi ne mu bakulembeze b’Abayudaaya abaamukkiriza. Naye olw’okutya Abafalisaayo, tebaamwatula, baleme kugobebwa mu kkuŋŋaaniro. 43 (F)Kubanga baayagala ekitiibwa ekibaweebwa abantu okusinga ekitiibwa kya Katonda.

44 (G)Awo Yesu n’asitula ku ddoboozi n’agamba nti, “Buli anzikiriza aba takkiriza Nze nzekka, wabula aba akkirizza n’oyo eyantuma. 45 (H)N’oyo alaba Nze aba alabye oli eyantuma. 46 (I)Nze omusana nzize mu nsi buli anzikiriza aleme okusigala mu kizikiza.

47 (J)“Awulira ebigambo byange n’atabifaako, Nze simusalira musango, kubanga Nze najja kulokola nsi so si kugisalira musango. 48 (K)Kyokka buli agaana Nze era n’agaana n’ebigambo byange, alina amusalira omusango. Alisalirwa omusango ku lunaku olw’enkomerero okusinziira ku bigambo bye namutegeeza. 49 (L)Kubanga Nze bye njogera si byange, ku bwange, naye mbategeezezza ebya Kitange bye yandagira okubategeeza. 50 Era mmanyi nti by’alagira bwe bulamu obutaggwaawo. Noolwekyo ky’aŋŋamba kye mbategeeza.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.