Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 66-67

Ya mukulu wa bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.

66 (A)Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.
    (B)Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye.
    Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.
(C)Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa!
    Olw’amaanyi go amangi
    abalabe bo bakujeemulukukira.
(D)Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira,
    bakutendereza,
    bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”

(E)Mujje mulabe Katonda ky’akoze;
    mulabe eby’entiisa by’akoledde abaana b’abantu!
(F)Ennyanja yagifuula olukalu.
    Abantu baasomoka omugga n’ebigere nga temuli mazzi,
    kyetuva tujaguza.
(G)Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna;
    amaaso ge agasimba ku mawanga,
    ab’omutima omujeemu baleme okumujeemera.

(H)Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga;
    eddoboozi ery’okumutendereza liwulirwe wonna.
(I)Oyo y’atukuumye ne tuba balamu,
    n’ataganya bigere byaffe kuseerera.
10 (J)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza,
    n’otulongoosa nga bwe bakola ffeeza mu muliro.
11 (K)Watuteeka mu kkomera,
    n’otutikka emigugu.
12 (L)Waleka abantu ne batulinnyirira;
    ne tuyita mu muliro ne mu mazzi,
    n’otutuusa mu kifo eky’okwesiima.

13 (M)Nnaayambukanga mu yeekaalu yo n’ebiweebwayo ebyokebwa,
    ntuukirize obweyamo bwange gy’oli,
14 nga ndeeta ekyo emimwa gyange kye gyasuubiza;
    akamwa kange kye kaayogera bwe nnali mu kabi.
15 (N)Nnaawaayo gy’oli ssaddaaka ez’ensolo ensava,
    mpeeyo ne ssaddaaka ey’endiga ennume;
    mpeeyo ente ennume n’embuzi.

16 (O)Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda,
    mbategeeze ebyo by’ankoledde.
17 Namukaabirira n’akamwa kange,
    ne mutendereza n’olulimi lwange.
18 (P)Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange,
    Mukama teyandimpulirizza;
19 (Q)ddala ddala Katonda yampuliriza era n’awulira eddoboozi lyange nga nsaba.
20 (R)Katonda atenderezebwenga,
    atagobye kusaba kwange,
    wadde okunziggyako okwagala kwe okutaggwaawo!

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba.

67 (S)Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa,
    era otwakize amaaso go.
(T)Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi,
    n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.

Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
    abantu bonna bakutenderezenga.
(U)Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu.
    Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya,
    n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
    abantu bonna bakutenderezenga.

(V)Ensi erireeta amakungula gaayo;
    era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.
(W)Katonda anaatuwanga omukisa;
    n’enkomerero z’ensi zinaamutyanga.

Zabbuli 19

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

19 (A)Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda,
    ebbanga ne litegeeza emirimu gy’emikono gye.
(B)Buli lunaku litegeeza ekitiibwa kye,
    era liraga amagezi ge buli kiro.
Tewali bigambo oba olulimi olwogerwa,
    era n’eddoboozi lyabyo teriwulikika.
(C)Naye obubaka bwabyo
    bubunye mu nsi yonna.
Mu ggulu omwo Katonda mwe yasimbira enjuba eweema.
    Evaayo ng’awasa omugole bw’ava mu nju ye,
    era ng’omuddusi asinga bonna bw’ajjula essanyu ng’agenda mu mpaka.
(D)Evaayo ku ludda olumu olw’eggulu,
    ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo,
    era tewali kyekweka bbugumu lyayo.

(E)Ekiragiro kya Mukama kirimu byonna,
    era kizzaamu amaanyi mu mwoyo.
Etteeka lya Mukama lyesigika,
    ligeziwaza abatalina magezi.
(F)Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu,
    kusanyusa omutima gw’oyo akugondera.
Ebiragiro bya Mukama bimulisiza amaaso,
    bye galaba.
(G)Okutya Mukama kirungi,
    era kya mirembe gyonna.
Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya,
    era bya butuukirivu ddala.
10 (H)Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu,
    okusingira ddala zaabu ennungi ennyo.
Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki,
    okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.
11 Ebyo bye birabula omuddu wo,
    era mu kubigondera muvaamu empeera ennene.
12 (I)Ani asobola okulaba ebyonoono bye?
    Onsonyiwe, Ayi Mukama, ebibi ebinkisiddwa.
13 Era omuddu wo omuwonye okukola ebibi ebigenderere,
    bireme kunfuga.
Bwe ntyo mbeere ng’ataliiko kyakunenyezebwa
    nneme okuzza omusango omunene ogw’ekibi.
14 (J)Nsaba ebigambo by’omu kamwa kange, n’okulowooza okw’omu mutima gwange,
    bisiimibwe mu maaso go,
    Ayi Mukama, Olwazi lwange, era Omununuzi wange.

Zabbuli 46

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

46 (A)Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;
    omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
(B)Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga,
    ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
(C)amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu
    ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.

(D)Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda,
    kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.
(E)Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera.
    Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.
(F)Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa;
    ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka.

(G)Mukama ow’Eggye ali naffe,
    Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

(H)Mujje, mulabe Mukama by’akola,
    mulabe nga bw’afaafaaganya ensi.
(I)Y’akomya entalo mu nsi yonna;
    akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya;
    amagaali n’engabo abyokya omuliro.
10 (J)Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda.
    Nnaagulumizibwanga mu mawanga.
    Nnaagulumizibwanga mu nsi.

11 Katonda ow’Eggye ali naffe;
    Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

Yeremiya 14:1-9

Ekyeya, Enjala, n’Ekitala

14 Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yerusaalemi ekikwata ku kyeya.

(A)“Yuda ekungubaga n’ebibuga byayo bifaafaaganye,
    bakaabira ensi,
era omulanga
    gusimbuse mu Yerusaalemi.
(B)Abakungu batuma abaddu baabwe okuleeta amazzi;
    bagenda mu ttanka ez’omu ttaka nga temuli kantu,
    bakomawo n’ebintu ebikalu;
ensonyi nga zibakutte
    n’essuubi nga libaweddemu;
    babikka amaaso gaabwe.
(C)Ettaka lyatise
    kubanga enkuba tekyatonnya,
abalimi baweddemu amaanyi,
    babikka ku mitwe gyabwe.
(D)N’empeewo ku ttale ezaala
    n’ereka awo omwana gwayo
    kubanga tewali muddo.
(E)N’ennyumbu ez’omu nsiko ziyimirira ku busozi obukalu
    nga ziwejjawejja ng’ebibe,
amaaso gaazo nga tegalaba bulungi
    kubanga tezirina kye zirya.”

(F)Wadde obutali butuukirivu bwaffe butulumiriza, Ayi Mukama,
    baako ky’okola olw’erinnya lyo.
Kubanga tuzze ennyuma emirundi mingi,
    tukwonoonye nnyo.
(G)Ayi ggwe essuubi lya Isirayiri,
    Omulokozi waalyo mu biseera eby’okulabiramu ennaku,
lwaki oli ng’omuyise mu nsi,
    ng’omutambuze asula ekiro ekimu?
(H)Lwaki oli ng’omuntu gwe baguddeko obugwi,
    ng’omulwanyi ataliimu maanyi ganunula?
Ggwe, Ayi Mukama Katonda, oli wakati mu ffe,
    era tuyitibwa linnya lyo.
    Totuleka.

Yeremiya 14:17-22

17 (A)“Kino ky’oba obagamba nti,

“ ‘Leka amaaso gange gakulukute amaziga
    emisana n’ekiro awatali kukoma;
kubanga muwala wange embeerera, abantu bange,
    bafunye ekiwundu ekinene,
    ekintu eky’amaanyi.
18 (B)Bwe ŋŋenda mu byalo
    ndaba abafumitiddwa n’ekitala!
Bwe ŋŋenda mu kibuga
    ndaba okutaagulwataagulwa okw’enjala.
Naye nnabbi ne kabona beeyongera okukola emirimu gyabwe mu ggwanga
    kyokka nga bye boogera bya bulimba.’ ”

19 (C)Yuda ogigaanidde ddala?
    Sayuuni ogyetamiriddwa ddala?
Otufumitidde ddala awatali kuwonyezebwa?
    Twasuubira emirembe naye tewali kalungi ke tufunye,
ekiseera eky’okuwonyezebwa
    naye laba tufunye bulabe bwereere.
20 (D)Ayi Mukama tukkiriza ebibi byaffe
    era n’obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe,
    kubanga ddala twayonoona gy’oli.
21 (E)Olw’erinnya lyo totugoba,
    tovumaganyisa ntebe yo ey’obwakabaka ey’ekitiibwa.
Jjukira endagaano gye wakola naffe,
    togimenya, gituukirize.
22 (F)Waliwo ku bakatonda ababajje bannaggwanga asobola okutonnyesa enkuba?
    Eggulu ku bw’alyo lisobola okuleeta enkuba?
Nedda, wabula ggwe, Ayi Mukama Katonda waffe.
    Noolwekyo essuubi lyaffe liri mu ggwe,
    kubanga ggwe okola bino byonna.

Abaggalatiya 4:21-5:1

Agali ne Saala

21 Mumbulire, mmwe abaagala okufugibwa amateeka, lwaki temuwulira mateeka? 22 (A)Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yazaala abaana babiri aboobulenzi, omu yamuzaala mu mukazi omuddu, n’omulala n’amuzaala mu mukazi ow’eddembe. 23 (B)Omwana ow’omukazi omuddu yazaalibwa nga wa mubiri, naye omwana ow’omukazi ow’eddembe yazaalibwa lwa kusuubiza.

24 Ebyo biri nga bya lugero; kubanga ezo ndagaano bbiri. Emu yava ku Lusozi Sinaayi, ye yazaala abaana ab’obuddu, ye yava mu Agali. 25 Agali lwe Lusozi Sinaayi oluli mu Buwalabu, era afaananyirizibwa ne Yerusaalemi eya kaakano kubanga ye ne bazzukulu be bali mu buddu. 26 (C)Naye Yerusaalemi eky’omu ggulu ye mukazi ow’eddembe, era ye nnyaffe. 27 (D)Kubanga kyawandiikibwa nti,

“Sanyuka
    ggwe omugumba atazaala.
Leekaanira waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka
    newaakubadde nga tozaalanga ku mwana.
Kubanga ndikuwa abaana bangi,
    abaana abangi okusinga omukazi alina omusajja b’alina.”

28 Naye mmwe abooluganda muli baana abaasuubizibwa, nga Isaaka bwe yali. 29 (E)Naye mu biro biri ng’eyazaalibwa omubiri bwe yayigganya oyo eyazaalibwa Omwoyo, ne kaakano bwe kiri. 30 (F)Naye Ebyawandiikibwa bigamba bitya? Bigamba nti, “Goba omukazi omuddu n’omwana we, kubanga omwana w’omukazi omuddu talisikira wamu n’omwana w’omukazi ow’eddembe.” 31 Noolwekyo abooluganda tetuli baana ba mukazi omuddu naye tuli baana ab’omukazi ow’eddembe.

Eddembe mu Kristo

(G)Kale nga Kristo bwe yatufuula ab’eddembe, bwe mutyo munywerere mu ddembe eryo muleme kusibwa nate mu kikoligo ky’obuddu.

Makko 8:11-21

Abafalisaayo Basaba Yesu Akabonero Akava mu Ggulu

11 (A)Abafalisaayo ne bajja gy’ali ne batandika okuwakana naye nga banoonya akabonero akava mu ggulu nga bamugezesa. 12 (B)Yesu n’assa ekikkowe, n’abagamba nti, “Lwaki omulembe guno gunoonya akabonero? Ddala ddala mbagamba nti, Tewali kabonero kajja kuweebwa mulembe guno.” 13 N’abaviira n’asaabala mu lyato n’alaga ku ludda olulala olw’ennyanja.

Ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’ekya Kerode

14 Abayigirizwa beerabira okutwala emigaati egiwera; baalina omugaati gumu gwokka mu lyato. 15 (C)Yesu n’abakuutira nti, “Mwekuume ekizimbulukusa eky’Abafalisaayo n’ekizimbulukusa ekya Kerode.”

16 Ne boogeraganya bokka ne bokka nti tebalina migaati.

17 (D)Yesu bwe yakimanya n’abagamba nti, “Lwaki mugambagana nti temulina migaati? Era temunnategeera? Emitima gyammwe gikyali mikakanyavu? 18 Lwaki temulaba, ate nga mulina amaaso? Lwaki temuwulira ate nga mulina amatu? Temujjukira? 19 (E)Mwerabidde emigaati etaano gye namenyamenyamu okuliisa abantu enkumi ettaano? Ebisero byali bimeka eby’obukunkumuka bye mwakuŋŋaanya?”

Ne baddamu nti, “Kkumi na bibiri.”

20 (F)N’ababuuza nti, “Ate abantu bwe baali enkumi ennya n’emigaati omusanvu, mwakuŋŋaanya ebisero by’obutundutundu bwe baalemwa bimeka?”

Ne baddamu nti, “Musanvu.” 21 (G)N’abagamba nti, “Era temunnategeera?”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.