Book of Common Prayer
Endagaano ya Katonda ne Dawudi.
89 (A)Nnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi Mukama, emirembe gyonna.
Nnaatenderezanga obwesigwa bwo n’akamwa kange, bumanyibwe ab’emirembe gyonna.
2 (B)Ddala ddala nnaategeezanga nti okwagala kwo tekuggwaawo ennaku zonna;
n’obwesigwa bwo bunywevu ng’eggulu.
3 Nakola endagaano n’omulonde wange;
nalayirira omuweereza wange Dawudi nti,
4 (C)“Ezadde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna,
era entebe yo ey’obwakabaka nnaaginywezanga emirembe gyonna.”
5 (D)Eggulu linaatenderezanga ebyamagero byo n’obwesigwa bwo,
Ayi Mukama, mu kibiina ky’abatukuvu bo.
6 (E)Kale, mu ggulu waggulu, ani ageraageranyizika ne Mukama?
Ani afaanana nga Mukama, mu abo ababeera mu ggulu?
7 (F)Katonda atiibwa nnyo mu lukiiko olw’abatukuvu;
era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola.
8 (G)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, ani akufaanana?
Oli wa buyinza, Ayi Mukama, ojjudde obwesigwa.
9 (H)Ggwe ofuga amalala g’ennyanja;
amayengo gaayo bwe geekuluumulula ogakkakkanya.
10 (I)Lakabu wamubetentera ddala;
abalabe bo n’obasaasaanya n’omukono gwo ogw’amaanyi.
11 (J)Eggulu liryo, n’ensi yiyo;
ensi yonna gwe wagitonda ne byonna ebigirimu.
12 (K)Watonda obukiikakkono n’obukiikaddyo;
ensozi Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo.
13 Oli wa buyinza bungi nnyo; omukono gwo gwa maanyi,
omukono gwo ogwa ddyo gunaagulumizibwanga.
14 (L)Obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’obwakabaka bwo.
Okwagala n’obwesigwa bye binaakukulemberanga.
15 (M)Balina omukisa abantu abamanyi okukutendereza Mukama n’amaloboozi ag’essanyu;
Ayi Mukama, banaatambuliranga mu ssanyu lyo.
16 (N)Banaasanyukiranga mu linnya lyo okuzibya obudde,
n’obutuukirivu bwo banaabugulumizanga.
17 (O)Kubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa.
Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo.
18 (P)Ddala ddala, Mukama ye ngabo yaffe,
Omutukuvu wa Isirayiri kabaka waffe.
19 Mu biro biri eby’edda wayogera n’omuweereza wo
omwesigwa mu kwolesebwa nti, Ngulumizizza omuzira ow’amaanyi;
ngulumizizza omuvubuka
okuva mu bantu abaabulijjo.
20 (Q)Nalaba Dawudi, omuweereza wange;
ne mufukako amafuta gange amatukuvu okuba kabaka.
21 (R)Nnaamukulemberanga,
n’omukono gwange gunaamunywezanga.
22 (S)Tewaliba mulabe we alimuwangula,
so n’aboonoonyi tebaamunyigirizenga.
23 (T)Abalabe be n’abamukyawa ndibamerengula,
n’amaggye agamulwanyisa ndigabetenta.
24 (U)Obwesigwa bwange n’okwagala kwange kunaabanga naye,
ne mu linnya lyange aneeyongeranga okuba ow’amaanyi.
25 (V)Alifuga okuva ku migga
okutuuka ku nnyanja ennene.[a]
26 (W)Anankowoolanga ng’agamba nti, Ggwe Kitange era Katonda wange,
ggwe Lwazi olw’Obulokozi bwange.
27 (X)Ndimufuula omwana wange omubereberye,
era kabaka asinga okugulumizibwa mu bakabaka bonna ab’ensi.
28 (Y)Okwagala kwange kunaabeeranga naye ennaku zonna;
n’endagaano gye nkoze naye teeremenga kutuukirira.
29 (Z)Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna,
n’obwakabaka bunaavanga mu kika kye ennaku zonna.
30 Abaana be bwe banaanyoomanga amateeka gange,
ne batagoberera biragiro byange;
31 bwe banaamenyanga ebiragiro byange,
ne batagondera mateeka gange,
32 (AA)ndibabonereza n’omuggo olw’ebibi byabwe,
ne mbakuba emiggo olw’ebyonoono byabwe.
33 (AB)Naye ssirirekayo kumwagala,
wadde okumenyawo obwesigwa bwange gy’ali.
34 (AC)Sigenda kulemwa kutuukiriza ndagaano yange,
wadde okukyusa ku ebyo akamwa kange bye koogedde.
35 Nalayira omulundi gumu, ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
nti, “Dawudi sigenda kumulimba.”
36 Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna;
n’entebe ye ey’obwakabaka enaabeerangawo emirembe gyonna okufaanana ng’enjuba.
37 Entebe ye ey’obwakabaka erinywezebwa emirembe n’emirembe,
ng’omwezi ku ggulu era nga ye mujulirwa wange omwesigwa.
38 (AD)Naye kaakano, gwe wafukako amafuta omusudde,
omukyaye era omunyiigidde.
39 (AE)Endagaano gye wakola n’omuweereza wo wagimenyawo,
n’engule ye n’ogisuula eri mu nfuufu.
40 (AF)Wamenyaamenya bbugwe we yenna,
n’oggyawo n’ebigo bye.
41 (AG)Abatambuze baanyaga ebintu bye;
n’afuuka ekisekererwa mu baliraanwa be.
42 (AH)Wayimusa omukono gw’abalabe be ogwa ddyo,
n’osanyusa abalabe be bonna.
43 (AI)Wakyusa ekitala kye
n’otomuyamba mu lutalo.
44 Ekitiibwa kye wakikomya;
entebe ye ey’obwakabaka n’ogisuula wansi.
45 (AJ)Ennaku z’obuvuka bwe wazisalako,
n’omuswaza.
46 (AK)Ayi Mukama, olyekweka ennaku zonna?
Obusungu bwo obubuubuuka ng’omuliro bulikoma ddi?
47 (AL)Jjukira ekiseera ky’obulamu bwange nga bwe kiri ekimpi.
Wateganira bwereere okutonda abantu bonna!
48 (AM)Muntu ki omulamu atalifa, omuntu asobola okwewonya okufa
n’awangula amaanyi g’emagombe?
49 Ayi Mukama, okwagala kwo okw’edda okutaggwaawo,
kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo, kuli luuyi wa?
50 (AN)Ayi Mukama, jjukira abaweereza bo nga basekererwa,
engeri abantu ab’omu mawanga amangi, bwe banzitoowerera mu mutima nga banvuma;
51 (AO)abalabe bo banvuma, Ayi Mukama;
ne bajerega oyo gwe wafukako amafuta, nga bamukijjanya buli gy’alaga.
52 (AP)Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna!
Amiina era Amiina!
10 (A)“Bw’oligamba abantu bino byonna ne bakubuuza nti, ‘Lwaki Mukama atutuusizaako akabi kano konna? Kibi ki kye tukoze? Musango ki gwe tuzizza eri Mukama Katonda waffe?’ 11 (B)Kale bagambe nti, ‘Kubanga bakitammwe bandeka ne batakuuma mateeka gange,’ bw’ayogera Mukama, ‘ne bagoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza. Bandeka ne batakuuma mateeka gange. 12 (C)Era mweyisizza bubi n’okusinga bakitammwe. Laba buli omu nga bwe yeeyisa ng’akakanyaza omutima gwe ogujjudde ebibi mu kifo ky’okuŋŋondera. 13 (D)Noolwekyo ndibaggya mu nsi eno ne mbateeka mu nsi mmwe gye mutamanyi wadde bakitammwe gye bataamanya, era nga muli eyo muliweereza bakatonda abalala emisana n’ekiro, era siribakwatirwa kisa.’
14 (E)“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama. “Abantu lwe bataliddayo kwogera nti, ‘Ddala nga Katonda bw’ali omulamu eyaggya Isirayiri mu nsi y’e Misiri,’ 15 (F)naye baligamba nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era n’okuva mu nsi zonna gye yali abasudde.’ Kubanga ndibakomyawo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe.
16 (G)“Naye kaakano leka ntumye abavubi bange,” bw’ayogera Mukama, “era bajja kubavuba. Ng’ekyo kiwedde nzija kutumya abayizzi bange, era bajja kubayigga ku buli lusozi era na buli kasozi na buli lwatika lwonna mu njazi. 17 (H)Amaaso gange galaba buli kye bakola, tebinkwekeddwa wadde obutali butuukirivu bwabwe okuunkwekebwa. 18 (I)Ndibasasula olw’obutali butuukirivu bwabwe n’olw’ekibi kyabwe emirundi ebiri, kubanga boonoonye ensi yange olw’ebintu ebitaliimu bulamu ne bajjuza omugabo gwange ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakolerere, eby’emizizo.”
19 (J)Ayi Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange,
ekiddukiro kyange mu biro eby’okulabiramu ennaku,
bannaggwanga balijja gy’oli,
okuva ku nkomerero z’ensi bagambe nti,
“Bakitaffe tebaalina kantu okuggyako bakatonda ab’obulimba,
ebifaananyi ebikolerere ebitagasa ebitaabayamba.
20 (K)Abantu beekolera bakatonda baabwe?
Ye, naye si Katonda!
21 “Noolwekyo ndibayigiriza,
ku mulundi guno;
ŋŋenda kubalaga amaanyi gange n’obuyinza bwange.
Olwo balyoke bamanye nti
erinnya lyange nze Mukama.”
Ekyokulabirako ekiva mu Bufumbo
7 (A)Temumanyi abooluganda, kubanga njogera eri abamanyi amateeka, ng’amateeka gafuga oyo yekka akyali omulamu? 2 (B)Ka mbawe ekyokulabirako: mu mateeka omukazi omufumbo, asigala nga wa bba, bba bw’aba ng’akyali mulamu. Naye bba bw’afa, omukazi oyo ng’asumuluddwa mu tteeka eribagatta. 3 Noolwekyo omukazi oyo bwe yeegatta n’omusajja omulala, bba ng’akyali mulamu, omukazi oyo anaayitibwanga mwenzi. Naye bba bw’afanga, olwo omukazi omufumbo anaabanga asumuluddwa mu tteeka, era taabenga mwenzi bw’anaafumbirwanga omusajja omulala.
4 (C)Nammwe baganda bange mwafa eri amateeka, muli ba mubiri gwa Kristo. Mwegatta ku Kristo eyazuukizibwa okuva mu bafu, tulyoke tubale ebibala ebisanyusa Katonda. 5 (D)Kubanga bwe twali tukyafugibwa omubiri, okwegomba kw’ebibi kwakoleranga mu bitundu byaffe eby’omubiri olw’amateeka, era enkomerero kwali kufa. 6 (E)Naye kaakano tetukyafugibwa mateeka. Tuli bafu eri ebyo ebyali bitusibye, era tebitulinaako buyinza. Noolwekyo tuyinza okuweereza Katonda mu ngeri empya eya Mwoyo Mutukuvu, so si mu nkola enkadde ey’amateeka.
Okulwanagana n’Ekibi
7 (F)Kale tunaayogera ki? Amateeka kye kibi? Kikafuuwe. Singa tewaali mateeka, sanditegedde kibi. N’okwegomba kw’omubiri sandikutegeeredde ddala singa amateeka tegaagamba nti, “Teweegombanga.” 8 (G)Ekibi kyeyambisa etteeka lino, ne kindeetera okwegomba okwa buli ngeri. Noolwekyo awatali mateeka, ekibi kiba kifu. 9 Edda nali mulamu awatali mateeka, naye etteeka bwe lyajja, ekibi ne kiramuka, n’okufa ne nfa. 10 (H)Era ne nkizuula ng’etteeka eryali liteekwa okumpa obulamu, lye lyandetera okufa. 11 (I)Ekibi kyeyambisa ekiragiro ekyo ne kinnimba, era ne kinzita. 12 (J)Noolwekyo amateeka matukuvu, era n’ekiragiro kitukuvu, kiruŋŋamya era kirungi.
Yesu Aliisa Abantu Enkumi Ettaano
6 Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu n’asomoka ennyanja ey’e Ggaliraaya, era eyitibwa ey’e Tiberiya. 2 (A)Ekibiina ky’abantu kinene ne bamugoberera, kubanga baalaba ebyamagero bye yakola ng’awonya abalwadde. 3 (B)Awo Yesu n’alinnya ku lusozi n’atuula wansi n’abayigirizwa be. 4 (C)Embaga y’Abayudaaya eyitibwa Okuyitako yali eri kumpi okutuuka.
5 (D)Yesu bwe yayimusa amaaso n’alaba ekibiina ky’abantu ekinene, nga bajja gy’ali, n’agamba Firipo nti, “Tunaagula wa emmere okuliisa abantu abo bonna?” 6 Yayogera atyo kugezesa Firipo, kubanga Yesu yali amanyi ky’agenda okukola.
7 Firipo n’amuddamu nti, “Emmere egula eddinaali ebikumi ebibiri teesobole na kubabuna, buli omu okulyako akatono.”
8 (E)Awo omu ku bayigirizwa be, Andereya muganda wa Simooni Peetero, n’amugamba nti, 9 (F)“Wano waliwo omulenzi alina emigaati etaano egya sayiri, n’ebyennyanja bibiri. Naye bino binaagasa ki abantu abangi bwe bati?”
10 Yesu n’abagamba nti, “Mutuuze abantu.” Waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abantu ne batuula, ne baba abasajja ng’enkumi ttaano. 11 (G)Awo Yesu n’atoola emigaati ne yeebaza Katonda, n’agabula abantu abatudde. N’ebyennyanja n’akola bw’atyo. Bonna ne balya ne bakkuta.
12 Oluvannyuma Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Kale mukuŋŋaanye obutundutundu obusigaddewo tuleme kufiirwa.” 13 Ne babukuŋŋaanya, ne bajjuza ebisero kkumi na bibiri eby’obutundutundu obwava mu migaati etaano egya sayiri, obwasigalawo nga bamaze okulya.
14 (H)Abantu bwe baalaba ekyamagero Yesu kye yakola ne bagamba nti, “Ddala ono ye Nnabbi oli alindirirwa okujja mu nsi!” 15 (I)Yesu bwe yategeera nti bategeka okumukwata bamufuule kabaka waabwe n’addayo yekka ku lusozi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.