Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya.
51 (A)Onsaasire, Ayi Mukama,
ggwe alina okwagala okutaggwaawo.
Olw’okusaasira kwo okungi
nziggyaako ebyonoono byange byonna.
2 (B)Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,
ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.
3 (C)Ebyonoono byange mbikkiriza,
era ebibi byange mbimanyi bulijjo.
4 (D)Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,
ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;
noolwekyo by’oyogera bituufu,
era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.
5 (E)Ddala, nazaalibwa mu kibi;
kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
6 (F)Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.
Ompe amagezi munda ddala mu nze.
7 (G)Onnaaze n’ezobu[a] ntukule
onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.
8 (H)Onzirize essanyu n’okwesiima,
amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.
9 (I)Totunuulira bibi byange,
era osangule ebyonoono byange byonna.
10 (J)Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda,
era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.
11 (K)Tongoba w’oli,
era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.
12 (L)Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo,
era ompe omutima ogugondera by’oyagala,
13 (M)ndyoke njigirizenga aboonoonyi amakubo go,
n’abakola ebibi bakukyukirenga bakomewo gy’oli.
14 (N)Ondokole mu kibi eky’okuyiwa omusaayi, Ayi Katonda,
ggwe Katonda ow’obulokozi bwange;
olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo.
15 (O)Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange,
n’akamwa kange kanaakutenderezanga.
16 (P)Tosanyukira ssaddaaka, nandigikuleetedde;
n’ebiweebwayo ebyokebwa tobisanyukira.
17 (Q)Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo.
Omutima ogumenyese era oguboneredde,
Ayi Katonda, toogugayenga.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Mu ddoboozi ery’Amalanga. Zabbuli ya Dawudi.
69 (A)Ondokole, Ayi Katonda,
kubanga amazzi gandi mu bulago.
2 (B)Ntubira mu bitosi
nga sirina we nnywereza kigere.
Ntuuse ebuziba
n’amataba gansaanikira.
3 (C)Ndajanye ne nkoowa,
n’emimiro ginkaze.
Amaaso ganzizeeko ekifu gakooye
olw’okutunula enkaliriza nga nnindirira Katonda wange.
4 (D)Abo abankyayira obwereere
bangi okusinga enviiri ez’oku mutwe gwange;
abalabe bange bangi
abannoonya okunzita awatali nsonga;
ne mpalirizibwa mbaddizeewo
ekyo kye sibbanga.
5 (E)Ayi Katonda, omanyi obusirusiru bwange,
n’okusobya kwange tekukukwekeddwa.
6 Sisaana kuswaza
abo abakwesiga,
Ayi Mukama, Mukama ow’Eggye.
Abo abakunoonya
baleme kuswazibwa ku lwange,
Ayi Katonda wa Isirayiri.
7 (F)Ngumiikirizza okuvumwa ku lulwo,
n’amaaso gange ne gajjula ensonyi.
8 (G)Nfuuse nga omugwira eri baganda bange,
munnaggwanga eri abaana ba mmange.
9 (H)Nzijudde obuggya olw’ennyumba yo,
n’abo abakuvuma bavuma nze.
10 (I)Bwe nkaaba ne nsiiba,
ekyo nakyo ne kinvumisa.
11 (J)Bwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka eky’okuzanyisa kyabwe.
12 (K)Abo abatuula ku mulyango gw’ekibuga banduulira,
era nfuuse luyimba lw’abatamiivu.
13 (L)Naye nze, Ayi Mukama, nsaba ggwe,
mu kiseera eky’ekisa kyo.
Olw’okwagala kwo okungi, onnyanukule, Ayi Katonda,
ondokole nga bwe wasuubiza.
14 (M)Onnyinyulule mu ttosi
nneme okutubira;
omponye abankyawa,
onzigye mu mazzi amangi;
15 (N)amataba galeme okumbuutikira
n’obuziba okunsanyaawo,
n’ennyanja ereme okummira.
16 (O)Onnyanukule, Ayi Mukama olw’obulungi bw’okwagala kwo;
onkyukire olw’okusaasira kwo okungi.
17 (P)Tokisa muddu wo maaso go; yanguwa okunziramu,
kubanga ndi mu kabi.
18 (Q)Onsemberere onziruukirire,
onnunule mu balabe bange.
19 (R)Omanyi bwe nsekererwa, ne bwe nswazibwa ne bwe siteekebwamu kitiibwa,
era n’abalabe bange bonna obamanyi.
20 (S)Okusekererwa kunkutudde omutima
era kummazeemu amaanyi.
Nanoonya okusaasirwa ne kumbula,
n’ow’okumpooyawooya naye nga simulaba.
21 (T)Mu kifo ky’emmere bampa mususa,
era bwe nalumwa ennyonta bampa nkaatu.
22 Emmere yaabwe gye bategese okulya ebafuukire ekyambika,
n’embaga zaabwe ez’ebiweebwayo zibafuukire omutego.
23 (U)Amaaso gaabwe gazibe baleme okulaba,
n’emigongo gyabwe gyewetenga ennaku zonna.
Okwemulugunya kwa Yeremiya
12 (A)Bulijjo oba mutuukirivu, Ayi Mukama Katonda,
bwe nkuleetera ensonga yange.
Noolwekyo nnaaleeta ensonga yange gy’oli.
Lwaki abakozi b’ebibi baba mu kwesiima?
Lwaki abalimbalimba bonna baba mu bulamu obw’emirembe?
2 (B)Wabasimba, emirandira ne ginywera,
bakula ne baleeta ebibala.
Tova ku mimwa gyabwe bulijjo
wadde ng’oliwala n’emitima gyabwe.
3 (C)Ate ng’ommanyi Ayi Mukama Katonda,
ondaba era otegeera bye nkulowoozaako.
Sika otwale abasajja bano ababi ng’endiga ezigenda okuttibwa.
Bategekere olunaku lwe balisanjagirwako.
4 (D)Ensi erikoma ddi okwonooneka,
n’omuddo mu buli nnimiro okukala?
Kubanga abo abali mu nsi bakozi ba bibi,
ensolo n’ebinyonyi bizikiridde,
kubanga abantu bagamba nti,
“Katonda taalabe binaatutuukako.”
Katonda Addamu
5 (E)“Bw’oba owakana n’abaddusi b’embiro
n’oggwaamu amaanyi
oyinza otya okudduka n’embalaasi?
Obanga mu nsi entereevu weesitadde n’ogwa bugwi,
onoosobolayo otya mu nsiko y’oku Yoludaani?
6 (F)Ne baganda bo n’ab’omu nnyumba ya kitaawo
nabo bennyini bakwefuukidde,
beegasse ku abo abawowoggana nga bakulangiriza.
Tobeesiga
wadde nga bakwogerako bulungi.”
Ennaku ya Mukama olw’Abantu be
7 (G)“Njabulidde ennyumba yange,
ne ndeka omugabo gwange;
mpaddeyo abo emmeeme yange b’eyagala,
mu mikono gy’abalabe baabwe.
8 (H)Abantu bange be nalonda
banfuukidde ng’empologoma eri mu kibira;
empulugumira,
noolwekyo mbakyaye.
9 (I)Abantu bange be nalonda
tebanfuukidde ng’ennyonyi erya ginnaazo ey’amabala,
ebinyonyi ebirala ebirya binaabyo gye bizingiza ne bigirumba?
Mugende mukuŋŋaanye ensolo zonna ez’omu nsiko
muzireete zirye.
10 (J)Abasumba bangi
boonoonye ennimiro yange ey’emizabbibu,
balinnyiridde ennimiro yange,
ensi yange ennungi bagirese njereere.
11 (K)Eyonooneddwa efuuse ddungu
esigadde awo ng’enkaabirira.
Ensi yonna efuuse matongo
kubanga tewali muntu n’omu agifaako.
12 (L)Abanyazi bazze
batuuse ku nsozi zonna ez’omu ddungu,
kubanga ekitala kya Mukama kijja kulya
okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku ndala,
awataliiwo n’omu kuwona.
13 (M)Basize eŋŋaano, ne bakungula amaggwa.
Bakooyedde bwereere ne bataba na kebaggyamu.
Bakwatiddwa ensonyi olw’ebibala bye bakunguddeyo,
kubanga ebyo Mukama y’abikoze olw’obusungu bwe obungi.”
14 (N)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ebikwata ku baliraanwa bange ababi nga bifa ku mugabo gwe nawa abantu bange Isirayiri okuba ogwabwe, laba ndibasiguukulula okuva mu nsi yaabwe, era ndiggya ennyumba ya Yuda mu bo. 15 (O)Naye nga mmaze okubasiguukululamu, ndibakwatirwa ekisa ne mbakomyawo buli omu eri omugabo gwe mu nsi ye. 16 (P)Era nga bwe bayigiriza abantu bange okulayirira mu linnya lya Baali bwe batyo balikwatira ddala empisa z’abantu bange, okulayirira mu linnya lyange nga boogera nti, ‘Nga Mukama bw’ali omulamu,’ olwo balizimbibwa wakati mu bantu bange.
Obutuukirivu obwa Nnama ddala
3 Ebisigaddeyo, baganda bange, musanyukirenga mu Mukama waffe. Okuddamu ebyo bye nnabawandiikira edda tekunkooya kubanga kyongera kubanyweza. 2 (A)Mwekuumenga embwa, era mwekuumenga ab’empisa embi, era mwekuumenga abakomola omubiri. 3 (B)Kubanga ffe bakomole, abasinza Katonda ng’Omwoyo bw’atuluŋŋamya, era twenyumiririza mu Kristo Yesu so tetwesiga mubiri.
4 Ne bwe kwandibadde okwesiga omubiri, omuntu omulala yenna bw’alowooza okuba n’obwesige mu mubiri, nze musinga. 5 (C)Kubanga nze nakomolebwa ku lunaku olw’omunaana. Ndi Muyisirayiri, ow’omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu, era mu mateeka ndi Mufalisaayo, 6 (D)eyanyiikira okuyigganya ekkanisa, eyali omutuukirivu mu mateeka, nga siriiko kya kunenyezebwa.
7 (E)Naye ebyo byonna ebyali omugabo gye ndi, nabiraba nga butaliimu. 8 (F)Naye okusinga byonna, byonna mbiraba ng’okufiirwa, kubanga okutegeera Kristo Yesu Mukama wange, kusinga ebirala byonna. Olwa Kristo nafiirwa ebintu byonna, era mbiraba ng’ebisasiro, ndyoke ngobolole Kristo, 9 (G)ndabikire mu ye nga sirina butuukirivu bwange ku bwange obuva mu kukwata amateeka, wabula nga nnina obutuukirivu obuva mu kukkiriza Kristo, era obuva eri Katonda obwesigamye ku kukkiriza. 10 (H)Njagala okussa ekimu mu bibonoobono bye, nga mmufaanana mu kufa kwe, mmumanye era ntegeere amaanyi g’okuzuukira kwe, 11 (I)nga nsuubira nga nange ndizuukira.
12 (J)Sigamba nti mmaze okufuna oba nti mmaze okutuukirira, wabula nfuba okufuna ekyo Kristo Yesu kye yagenderera nfune. 13 (K)Abooluganda, mmanyi nti sinnakifuna, naye kye nkola kwe kwerabira ebyo ebiri emabega ne nduubirira ebyo ebiri mu maaso. 14 (L)Nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey’okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu.
Olukwe olw’Okutta Laazaalo
9 (A)Awo ekibiina kinene eky’Abayudaaya bwe bategeera nti Yesu ali Besaniya, ne bajja, si Lwa Yesu yekka, naye n’okulaba Laazaalo, Yesu gwe yazuukiza. 10 Awo bakabona abakulu ne basala amagezi okutta Laazaalo, 11 (B)kubanga yaleetera Abayudaaya bangi okuva ku bakulembeze baabwe ne bakkiriza Yesu.
Yesu Ayingira mu Yerusaalemi n’Ekitiibwa
12 Ku lunaku olwaddirira, abantu bangi abaali bazze ku mbaga ey’Okuyitako bwe baawulira nti Yesu ajja e Yerusaalemi, 13 (C)ne bakwata amatabi g’enkindu ne bagenda okumusisinkana nga baleekaana nti,
“Ozaana.”
“Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama.”
“Ye Kabaka wa Isirayiri.”
14 Awo Yesu bwe yalaba endogoyi ento n’agyebagala. Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti,
15 (D)“Ggwe muwala wa Sayuuni totya;
laba Kabaka wo ajja,
nga yeebagadde omwana gw’endogoyi.”
16 (E)Ebyo abayigirizwa tebaabitegeererawo, naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira ebintu ebyo ebyali bimuwandiikiddwako, ne bye baamukola.
17 (F)Abo abaali mu kibiina, abaalaba Yesu ng’azuukiza Laazaalo ne baategeeza ebyaliwo ne bwe yazuukiza Laazaalo. 18 (G)Abantu abangi bwe batyo kyebaava bagenda okusisinkana Yesu, kubanga baali bawulidde ekyamagero ekyo kye yakola. 19 (H)Awo Abafalisaayo ne bagambagana nti: “Mulabye bwe tutalina kye tufunyeemu! Laba ensi yonna emugoberedde.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.