Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Oluyimba lwa Maliyamu
46 (A)Maliyamu n’agamba nti,
47 (B)“Emmeeme yange etendereza Mukama.
N’omwoyo gwange gusanyukidde Katonda omulokozi wange,
48 (C)Kubanga alabye
obuwombeefu bw’omuweereza we.
Kubanga laba, okuva kaakano, ab’emirembe gyonna banaampitanga eyaweebwa omukisa.
49 (D)Kubanga Owaamaanyi ankoledde ebikulu;
N’erinnya lye ttukuvu.
50 (E)N’okusaasira kwe kwa mirembe na mirembe
eri abo abamutya.
51 (F)Akoze eby’amaanyi n’omukono gwe.
Asaasaanyizza ab’emitima egy’amalala.
52 Awanudde abafuzi ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka
n’agulumiza abawombeefu.
53 (G)Abali mu kwetaaga abakkusizza ebirungi.
Naye abagagga n’abagoba nga tabawaddeeyo kantu.
54 (H)Adduukiridde omuweereza we Isirayiri,
n’ajjukira okusaasira,
55 (I)nga bwe yayogera ne bajjajjaffe,
eri Ibulayimu n’ezzadde lye emirembe gyonna.”
Ekitiibwa kya Sayuuni Ekijja
60 (A)“Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase
era ekitiibwa kya Mukama kikwakirako.
2 (B)Kubanga laba ensi eribikkibwa ekizikiza
era n’ekizikiza ekikutte ennyo kibikke abantu baamawanga gonna,
naye ggwe Mukama alikwakirako
era ekitiibwa kye kikulabikeko.
3 (C)Amawanga galijja eri omusana gwo
ne bakabaka eri okumasamasa okunaakubangako ng’ojja.
4 (D)“Yimusa amaaso go olabe;
abantu bo bonna bakuŋŋaana okujja gy’oli
batabani bo abava ewala ne bawala bo
abasituliddwa mu mikono.
5 Kino oli wakukirabako ojjule essanyu,
omutima gwo, gujjule okweyagala n’okujaguza.
Obugagga bw’amawanga bulyoke bukuleetebwe,
era n’ebirungi byonna eby’omu nnyanja birikweyuna.
6 (E)Ebisibo by’eŋŋamira birijjula ensi yammwe,
eŋŋamira ento ez’e Midiyaani ne Efa.[a]
Era ne zonna ez’e Seba zirijja nga zeetisse zaabu n’obubaane
okulangirira ettendo lya Katonda.
Oluyimba lwa Zaakaliya
67 (A)Awo Zaakaliya kitaawe, n’ajjula Mwoyo Mutukuvu n’awa obunnabbi nti,
68 (B)“Atenderezebwe Mukama Katonda wa Isirayiri,
kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde.
69 (C)Yatuyimusiriza obuyinza obw’obulokozi,
mu nnyumba y’omuddu we Dawudi.
70 (D)Nga bwe yasuubiriza mu bigambo bya bannabbi be abatukuvu ab’edda ennyo,
71 Okulokolebwa mu balabe baffe,
n’okuva mu mukono gw’abo bonna abatukyawa,
72 (E)okulaga bajjajjaffe ekisa,
n’ajjukira n’endagaano ye entukuvu,
73 (F)ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu,
74 (G)okukituukiriza, n’okulokolebwa okuva mu mukono gw’abalabe baffe awatali kutya,
tulyoke tuweereze mu maaso ge,
75 (H)mu butukuvu ne mu butuukirivu ennaku zonna ez’obulamu bwaffe.
76 (I)“Naawe, mwana wange, oliyitibwa nnabbi w’Oyo Ali Waggulu Ennyo;
kubanga gw’olikulembera Mukama okumuteekerateekera amakubo ge.
77 (J)Okumanyisa abantu be obulokozi,
obw’okusonyiyibwa ebibi byabwe.
78 (K)Byonna birituukirira olw’ekisa kya Katonda waffe ekingi.
Emmambya esala eritukyalira okuva mu ggulu,
79 (L)okwakira abo abatudde mu kizikiza
ne mu kisiikirize eky’okufa,
okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe.”
80 (M)Omwana n’akula n’ayongerwako amaanyi mu mwoyo, n’abeera mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isirayiri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.