Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
124 (A)Isirayiri agamba nti,
singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,
2 singa Katonda teyali ku ludda lwaffe
abalabe baffe bwe baatulumba,
3 banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera,
obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako.
4 Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo,
ne mukoka n’atukulukutirako;
5 amazzi ag’obusungu bwabwe agayira
ganditukuluggusizza.
Ekitiibwa Kya Sayuuni eky’Oluvannyuma
54 (A)“Yimba ggwe omugumba
atazaalanga;
tandika okuyimbira mu ddoboozi ery’omwanguka osanyukire ddala
ggwe atalumwanga kuzaala.
Kubanga ggwe eyalekebwa
ojja kuba n’abaana bangi okusinga oyo akyalina bba,”
bw’ayogera Mukama.
2 (B)“Gaziya weema yo, owanvuye emiguwa gyayo,
tokwata mpola;
nyweza enkondo zo.
3 (C)Kubanga olisaasaanira
ku mukono gwo ogwa ddyo
era n’ogwa kkono,
n’ezzadde lyo lirirya amawanga,
era abantu bo balituula mu bibuga ebyalekebwa awo ebyereere.
4 (D)“Totya kubanga toliddayo kukwatibwa nsonyi.
Toggwaamu maanyi kubanga togenda kuswazibwa.
Olyerabira ensonyi z’obuvubuka bwo,
n’ekivume ky’obwannamwandu bwo tolikijjukira nate.
5 (E)Kubanga Omutonzi wo ye balo,
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo,
Katonda ow’ensi yonna, bw’ayitibwa.
6 (F)Kubanga Mukama Katonda yakuyita okomewo,
ng’omukazi eyali alekeddwawo ng’alina ennaku ku mutima;
omukazi eyafumbirwa ng’akyali muto, n’alekebwawo,”
bw’ayogera Katonda wo.
7 (G)“Nakulekako akaseera katono nnyo;
naye ndikukuŋŋaanya n’okusaasira okungi.
8 (H)Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata
nakweka amaaso gange okumala ekiseera,
naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,”
bw’ayogera Mukama Katonda,
Omununuzi wo.
9 (I)“Kubanga gye ndi,
bino biri nga bwe byali mu biseera bya Nuuwa.
Nga bwe nalayira nti amazzi ga Nuuwa tegagenda kuddamu kulabikako ku nsi,
bwe ntyo ndayira nti siriddayo kukusunguwalira wadde okukunenya.
10 (J)Kubanga ensozi ziyinza okuvaawo n’obusozi okuggyibwawo
naye okwagala kwange okutaggwaawo tekulisagaasagana
so n’endagaano yange ey’emirembe
teriggyibwawo,”
bw’ayogera Mukama Katonda akusaasira.
23 (A)Bwe wabangawo omuntu agamba nti, ‘Kristo ali wano, oba ali wali,’ temubakkirizanga. 24 (B)Kubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo; nga singa kibadde kisoboka, bandilimbyelimbye n’abalonde ba Katonda. 25 Laba mbalabudde nga bukyali!”
26 “Noolwekyo omuntu bw’abagambanga nti Kristo akomyewo ali eri mu ddungu, temugendangayo. Oba nti ali mu bisenge eby’omunda, temukkirizanga. 27 (C)Kubanga nga bwe mulaba okumyansa kw’eraddu nga kutabaala ebire okuva ebuvanjuba ne kusala okulaga ebugwanjuba, n’okujja kw’Omwana w’Omuntu bwe kutyo. 28 (D)Era mukimanyi nti awabeera ekifudde awo ensega we zikuŋŋaanira.”
29 (E)“Amangu ddala ng’okubonyaabonyezebwa
“kw’omu nnaku ezo kuwedde,
‘enjuba eriggyako ekizikiza
era n’omwezi teguliyaka,
n’emmunyeenye zirigwa n’amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.’ ”
30 (F)“Oluvannyuma lw’ebyo akabonero k’Omwana w’omuntu kalirabika ku ggulu, era walibaawo okukungubaga kw’amawanga gonna ag’omu nsi, era baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja ku bire by’eggulu, mu maanyi ne mu kitiibwa ekinene. 31 (G)Era alituma bamalayika be nga bwe bafuuwa amakondeere mu ddoboozi ery’omwanguka, ne bakuŋŋaanya abalonde be nga babaggya mu mpewo ennya okuva ku ludda olumu olw’eggulu okutuuka ku ludda olulala.”
32 “Kale muyigire ku lugero lw’omutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera nga mumanya nti ebiseera eby’ebbugumu binaatera okutuuka. 33 (H)Noolwekyo nammwe bwe muliraba ebintu ebyo byonna, nga mumanya nti ekiseera kiri kumpi, era kisemberedde ddala ku luggi. 34 (I)Ddala ddala mbagamba nti, omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu ebyo byonna bituukiridde. 35 (J)Eggulu n’ensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.