Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Oluyimba lwa Maliyamu
46 (A)Maliyamu n’agamba nti,
47 (B)“Emmeeme yange etendereza Mukama.
N’omwoyo gwange gusanyukidde Katonda omulokozi wange,
48 (C)Kubanga alabye
obuwombeefu bw’omuweereza we.
Kubanga laba, okuva kaakano, ab’emirembe gyonna banaampitanga eyaweebwa omukisa.
49 (D)Kubanga Owaamaanyi ankoledde ebikulu;
N’erinnya lye ttukuvu.
50 (E)N’okusaasira kwe kwa mirembe na mirembe
eri abo abamutya.
51 (F)Akoze eby’amaanyi n’omukono gwe.
Asaasaanyizza ab’emitima egy’amalala.
52 Awanudde abafuzi ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka
n’agulumiza abawombeefu.
53 (G)Abali mu kwetaaga abakkusizza ebirungi.
Naye abagagga n’abagoba nga tabawaddeeyo kantu.
54 (H)Adduukiridde omuweereza we Isirayiri,
n’ajjukira okusaasira,
55 (I)nga bwe yayogera ne bajjajjaffe,
eri Ibulayimu n’ezzadde lye emirembe gyonna.”
17 (A)Amaaso go galiraba kabaka mu bulungi bwe,
ne galaba ensi eyeewala.
18 (B)Omutima gwo gulifumiitiriza ku ntiisa ng’ogamba nti,
“Omukungu omukulu ali ludda wa?
Ali ludda wa eyasoloozanga omusolo?
Omukungu avunaanyizibwa eminaala ali ludda wa?”
19 (C)Toliddayo kulaba bantu abo ab’amalala,
abantu ab’olulimi olutamanyiddwa,
olulimi olutategeerekeka.
20 (D)Tunuulira Sayuuni ekibuga eky’embaga zaffe,
amaaso go galiraba Yerusaalemi,
ekifo eky’emirembe, eweema etalisimbulwa
enkondo zaayo tezirisimbulwa,
newaakubadde emiguwa gyayo okukutulwa.
21 (E)Weewaawo Mukama aliba Amaanyi gaffe
era aliba ekifo eky’emigga emigazi n’ensulo engazi.
Temuliyitamu lyato
newaakubadde ekyombo ekinene tekiriseeyeeyeramu.
22 (F)Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe,
Mukama y’atuwa amateeka,
Mukama ye Kabaka waffe,
y’alitulokola.
18 (A)Ntegeeza buli omu awulira ebigambo eby’obunnabbi ebiri mu kitabo: Omuntu yenna alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. 19 (B)Era omuntu yenna alikendeeza ku bigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino, Mukama alimuggyako omugabo gwe ku muti ogw’obulamu ne mu kibuga ekyo ekitukuvu ekiwandiikiddwako mu kitabo kino.
20 (C)Oyo ayogedde ebintu bino agamba nti, “Weewaawo nzija mangu!”
Amiina! Jjangu Mukama waffe Yesu!
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.