Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 35

Essanyu ly’Abanunule

35 (A)Eddungu n’ensi enkalu birijaguza;
    Eddungu lirisanyuka ne limeramu ebintu.
Ebimuli ebifaanana ng’ejjirikiti (B)birimeruka,
    birijaguza nnyo ne biwowogana n’essanyu mu ddoboozi ery’omwanguka.
Ekitiibwa kya Lebanooni kirigiweebwa,
    ekitiibwa kya Kalumeeri ne Saloni;
baliraba ekitiibwa kya Mukama,
    ekitiibwa kya Katonda waffe.

(C)Muzzeemu amaanyi emikono eminafu, n’amaviivi agajugumira mugagumye.
(D)Mugambe abo abalina omutima omuti nti,
    Mubeere n’amaanyi temutya:
laba Katonda wammwe alijja;
    alibalwanirira,
alage abalabe bammwe obusungu obw’Obwakatonda,
    era alibalokola.

(E)Olwo amaaso g’abazibe galiraba,
    era n’amatu ga bakiggala galigguka;
(F)omulema alibuuka ng’ennangaazi,
    n’olulimi lw’abatayogera luliyimba n’essanyu.
Amazzi galifubutuka
    ne gakulukutira mu lukoola n’emigga mu ddungu.
(G)N’omusenyu ogwokya gulifuuka ekidiba,
    n’ensi eyakala edda n’etiiriika ensulo ez’amazzi.
Ebibe we byagalamiranga walimera omuddo,
    n’essaalu, n’ebitoogo.

(H)Era eribaayo oluguudo olunene, n’ekkubo,
    eririyitibwa Ekkubo Ettukuvu.
Abatali balongoofu tebaliriyitamu,
    liriba ly’abali abalongoofu,
    kubanga abasirusiru abatali balongoofu tebaliriyitamu.
(I)Teribaayo mpologoma,
    so teririnnyayo nsolo yonna nkambwe;
    tezirirabikayo,
naye abanunule balitambulira eyo.
10     (J)N’abantu ba Mukama abaanunulibwa balikomawo, ne bajja mu Sayuuni nga bayimba,
    n’essanyu eritaggwaawo nga libajjudde.
Balifuna essanyu lingi nnyo n’okujaguza,
    okunakuwala n’okusinda nga biggweereddewo ddala.

Zabbuli 146:5-10

(A)Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo;
    ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,
(B)eyakola eggulu n’ensi
    n’ennyanja ne byonna ebirimu,
    era omwesigwa emirembe gyonna.
(C)Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,
    n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.
Mukama asumulula abasibe.
    (D)Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,
era awanirira abazitoowereddwa.
    Mukama ayagala abatuukirivu.
(E)Mukama alabirira bannamawanga,
    era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;
    naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.

10 (F)Mukama anaafuganga emirembe gyonna,
    Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.

Mutendereze Mukama!

Lukka 1:46-55

Oluyimba lwa Maliyamu

46 (A)Maliyamu n’agamba nti,

47 (B)“Emmeeme yange etendereza Mukama.
    N’omwoyo gwange gusanyukidde Katonda omulokozi wange,
48 (C)Kubanga alabye
    obuwombeefu bw’omuweereza we.
Kubanga laba, okuva kaakano, ab’emirembe gyonna banaampitanga eyaweebwa omukisa.
49     (D)Kubanga Owaamaanyi ankoledde ebikulu;
    N’erinnya lye ttukuvu.
50 (E)N’okusaasira kwe kwa mirembe na mirembe
    eri abo abamutya.
51 (F)Akoze eby’amaanyi n’omukono gwe.
    Asaasaanyizza ab’emitima egy’amalala.
52 Awanudde abafuzi ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka
    n’agulumiza abawombeefu.
53 (G)Abali mu kwetaaga abakkusizza ebirungi.
    Naye abagagga n’abagoba nga tabawaddeeyo kantu.
54 (H)Adduukiridde omuweereza we Isirayiri,
    n’ajjukira okusaasira,
55 (I)nga bwe yayogera ne bajjajjaffe,
    eri Ibulayimu n’ezzadde lye emirembe gyonna.”

Yakobo 5:7-10

Okugumiikiriza

(A)Noolwekyo abooluganda mugumiikirize, okutuusa amadda ga Mukama waffe, ng’omulimi bw’agumiikiriza ng’alindirira enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo okukuza ebibala bye biryoke byengere. (B)Mugumiikirize, era mugume omwoyo, kubanga amadda ga Mukama waffe gali kumpi. (C)Temwemulugunyizagananga mwekka na mwekka, muleme okusalirwa omusango, kubanga Omulamuzi ayimiridde ku luggi.

10 (D)Ekyokulabirako eky’okugumiikiriza n’okubonaabona, be bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama.

Matayo 11:2-11

(A)Yokaana Omubatiza, eyali omusibe mu kkomera mu kiseera ekyo, bwe yawulira emirimu Kristo gye yali akola, n’amutumira abayigirizwa be. (B)Ne babuuza Yesu nti, “Ggwe wuuyo gwe tubadde tulindirira, nantiki tulindirireyo omulala?”

Yesu n’abaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumugambe bye mulaba ne bye muwulira. (C)Abazibe b’amaaso balaba, n’abalema batambula. Abagenge balongoosebwa ne bakiggala bawulira, n’abafu bazuukizibwa n’abaavu babuulirwa Enjiri. (D)Era mumumpeere obubaka buno nti, ‘Alina omukisa oyo atanneesittalako.’ ”

(E)Awo abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza bwe baamala okugenda, Yesu n’ategeeza abantu ebya Yokaana nti, “Bwe mwagenda mu ddungu mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa n’empewo? Naye kiki kye mwagenda okulaba? Omuntu ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba abambala engoye ennungi babeera mu mbiri za bakabaka. (F)Naye mwagenda kulaba ki? Nnabbi. Weewaawo ka mbabuulire, oyo asinga ne nnabbi. 10 (G)Kubanga ye oyo ayogerwako mu Byawandiikibwa nti,

“ ‘Ndiweereza omubaka wange akukulembere,
    alikuteekerateekera ekkubo nga tonnajja.’

11 Ddala ddala mbagamba nti tewabangawo muntu eyazaalibwa omukazi asinga Yokaana Omubatiza. Naye asembayo okuba omukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu asinga Yokaana.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.