Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 20

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

20 (A)Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu.
    Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga.
(B)Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu;
    akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni.
(C)Ajjukirenga ssaddaaka zo zonna z’omuwa,
    era asiimenga ebiweebwayo byo ebyokebwa.
(D)Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga,
    era atuukirizenga by’oteekateeka byonna.
(E)Tulijaganya olw’obuwanguzi bwo,
    ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe.

Mukama akuwenga byonna by’omusaba.

(F)Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta,
    amwanukula ng’amuwa obuwanguzi n’omukono gwe ogwa ddyo,
    ng’asinziira mu ggulu lye ettukuvu.
(G)Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi,
    naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
(H)Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo,
    naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu.
(I)Ayi Mukama, lokola kabaka,
    otwanukule bwe tukukoowoola.

Yeremiya 31:15-22

15 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Eddoboozi liwulirwa mu Laama,
    nga likungubaga n’okukaaba okungi.
Laakeeri akaabira abaana be
    era agaanye okusirisibwa,
    kubanga abaana be baweddewo.”

16 (B)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ziyiza eddoboozi lyo lireme okuwulikika ng’okaaba
    n’amaaso go galeme okujja amaziga,
kubanga omulimu gwo gulisasulibwa,”
    bw’ayogera Mukama.
    Balikomawo okuva mu nsi y’omulabe.
17 Waliwo essuubi,
    bw’ayogera Mukama.
    Abaana bo baliddayo mu nsi yaabwe.

18 (C)“Ddala mpulidde Efulayimu ng’akungubaga nti,
    ‘Wankangavvula ng’ennyana endalu
    era kaakano nkangavvuddwa.
Nziza, n’akomawo gy’oli
    kubanga ggwe Mukama Katonda wange.
19 (D)Nga mmaze okubula,
    neenenya,
nga nzizeemu amagezi agategeera
    ne neekuba mu kifuba.
Nakwatibwa ensonyi era ne nswala,
    kubanga naliko ekivume ky’obuvubuka bwange.’
20 (E)Efulayimu si mwana wange omwagalwa,
    omwana gwe nsanyukira?
Wadde nga ntera okumunenya
    naye nkyamujjukira.
Noolwekyo omutima gwange gumuyaayaanira;
    nnina ekisa kingi gy’ali,”
    bw’ayogera Mukama.

21 (F)“Muteeke ebipande ku nguudo;
    muteekeeko ebipande.
Mwetegereze ekkubo eddene,
    ekkubo mwe muyita.
Komawo ggwe Omuwala Isirayiri,
    komawo mu bibuga byo.
22 (G)Olituusa ddi okudda eno n’eri,
    ggwe omuwala atali mwesigwa?
Mukama alikola ekintu ekiggya ku nsi,
    omukazi aliwa omusajja obukuumi.”

Lukka 19:41-44

Yesu Akaabira Yerusaalemi

41 (A)Awo Yesu bwe yali ng’asemberera ekibuga Yerusaalemi, bwe yakirengera, n’akikaabira. 42 N’agamba nti, “Singa otegedde leero ebireeta emirembe ebyakulagirwa! Naye kaakano bikukwekeddwa, amaaso go tegayinza kubiraba. 43 (B)Ekiseera kigenda kutuuka abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo okukwetooloola ne bakuzinda, 44 (C)ne bakumerengulira ku ttaka munda mu bisenge byo ggwe n’abaana bo. Abalabe bo tebalirekawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, kubanga omukisa Katonda gwe yakuwa ogw’okulokolebwa wagaana okugukozesa.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.