Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 20

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

20 (A)Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu.
    Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga.
(B)Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu;
    akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni.
(C)Ajjukirenga ssaddaaka zo zonna z’omuwa,
    era asiimenga ebiweebwayo byo ebyokebwa.
(D)Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga,
    era atuukirizenga by’oteekateeka byonna.
(E)Tulijaganya olw’obuwanguzi bwo,
    ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe.

Mukama akuwenga byonna by’omusaba.

(F)Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta,
    amwanukula ng’amuwa obuwanguzi n’omukono gwe ogwa ddyo,
    ng’asinziira mu ggulu lye ettukuvu.
(G)Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi,
    naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
(H)Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo,
    naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu.
(I)Ayi Mukama, lokola kabaka,
    otwanukule bwe tukukoowoola.

Isaaya 26:1-9

Oluyimba olw’Okutendereza

26 (A)Mu biro ebyo oluyimba luno luliyimbibwa mu nsi ya Yuda.

Tulina ekibuga eky’amaanyi;
    Katonda assaawo obulokozi
    okuba bbugwe waakyo n’ekigo kyakyo.
(B)Ggulawo wankaaki,
    eggwanga ettukuvu liyingire,
    eggwanga erikuuma okukkiriza.
Mukama alikuuma mirembe
    oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe.
(C)Weesigenga Mukama ennaku zonna,
    kubanga emirembe giri waggulu mu Mukama, Mukama Katonda oyo atoowaza.
(D)Mukama lwe lwazi olutaggwaawo,
    akkakkanya ekibuga eky’amalala,
akissa wansi ku ttaka,
    n’akisuula mu nfuufu.
(E)Kirinnyirirwa
    ebigere by’abanyigirizibwa,
    n’ebisinde by’abaavu.

(F)Ekkubo ly’abatuukirivu ttereevu;
    Ggwe atuukiridde, olongoosa olugendo lw’omutuukirivu.
(G)Weewaawo Mukama Katonda tukulindirira
    nga tutambulira mu mateeka go,
era erinnya lyo n’okumanyibwa kwo
    kwe kwegomba kw’emitima gyaffe.
(H)Omwoyo gwange gukuyaayaanira mu kiro,
    omwoyo gwange gukunoonyeza ddala.
Bw’osalira ensi omusango,
    abantu b’ensi bayiga obutuukirivu.

2 Abakkolinso 4:16-18

Okuba abalamu olw’okukkiriza

16 (A)Noolwekyo tetuterebuka, kubanga newaakubadde ng’emibiri gyaffe gifa, naye omuntu waffe ow’omunda adda buggya bulijjo. 17 (B)Kubanga okubonaabona kwaffe okutono okw’ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okututeekerateekera ekitiibwa eky’amaanyi eky’emirembe n’emirembe. 18 Noolwekyo tetutunuulira bintu ebirabika naye ebintu ebitalabika, kubanga ebintu ebirabika bya kiseera buseera, naye ebyo ebitalabika bya mirembe na mirembe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.