Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 42

EKITABO II

Zabbuli 42–72

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

42 (A)Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi,
    n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.
(B)Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu.
    Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?
(C)Nkaabirira Mukama
    emisana n’ekiro.
Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro,
    abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
(D)Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange
    nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene,
ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu,
    nga tugenda mu nnyumba ya Katonda,
nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka
    n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.

(E)Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Essuubi lyo liteeke mu Katonda,
    kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange;
    ye mubeezi wange.

Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise,
    yeeraliikiridde;
naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani
    ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni[a] ne ku Lusozi Mizali.
(F)Obuziba bukoowoola obuziba,
    olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro
amayengo n’amasingisira go
    bimpiseeko.

(G)Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro
    ne muyimbira oluyimba lwe;
    y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.

(H)Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti,
    “Lwaki onneerabidde?
Lwaki ŋŋenda nkungubaga
    olw’okujoogebwa abalabe bange?”
10 Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange
    bancocca,
nga bwe bagamba buli kiseera nti,
    “Katonda wo ali ludda wa?”

11 (I)Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Weesigenga Katonda,
    kubanga nnaamutenderezanga,
    Omulokozi wange era ye Katonda wange.

Ezeekyeri 47:1-12

Oluzzi Olusibuka mu Yeekaalu

47 (A)Awo omusajja n’ankomyawo ku mulyango ogwa yeekaalu, ne ndaba amazzi nga gava wansi w’omulyango gwa yeekaalu ku luuyi olw’ebuvanjuba kubanga yeekaalu yali etunudde ku luuyi olw’ebuvanjuba. Amazzi gaali gakulukuta nga gava wansi ku luuyi olwa ddyo olwa yeekaalu, ku luuyi olw’Obukiikaddyo obw’ekyoto. N’anfulumiza mu mulyango gw’Obukiikakkono, n’ankulembera n’anneetoolooza ebweru eri oluggi olw’ebweru olutunuulidde Ebuvanjuba, era laba amazzi gaali gakulukuta okuva ku luuyi olw’Obukiikaddyo.

(B)Awo omusajja eyalina olupimo mu mukono gwe, n’alaga ku luuyi olw’ebuvanjuba yapima mita ebikumi bina mu ataano, n’alyoka ampisa mu mazzi, agaali gakoma mu bukongovvule. N’apima mita endala ebikumi bina mu ataano, n’ampisa mu mazzi agaali gankoma mu maviivi. N’apima mita endala ebikumi bina mu ataano, n’ampisa mu mazzi agaali gankoma mu kiwato. (C)N’apima mita endala ebikumi bina mu ataano, naye kati amazzi gaali gafuuse mugga gwe nnali sisobola kusomoka kubanga amazzi gaali gatumbidde era nga mangi agawugibwamu obuwugirwa, omugga ogwali gutasoboka kusomokebwa. N’ambuuza nti, “Omwana w’omuntu, kino okiraba?”

N’anzizaayo ku lubalama lw’omugga. (D)Awo bwe natuuka eyo, laba ne ndaba ku lubalama lw’omugga emiti mingi nnyo eruuyi n’eruuyi w’omugga. (E)N’aŋŋamba nti, “Amazzi gano gakulukuta gadda mu kitundu eky’ensi eky’Ebuvanjuba, ne gaserengeta mu ddungu, ne gayingira mu Nnyanja.[a] Omugga bwe guyiwa mu Nnyanja[b] amazzi ne galongooka. (F)Buli kiramu tekirifa yonna omugga gye guyita, era mulibeeramu ebyennyanja bingi nnyo, kubanga amazzi gano agakulukutirayo gafuula amazzi ag’omu Nnyanja ey’Omunnyo okuba amalungi, noolwekyo omugga gye guyita, ebintu byonna binaabeeranga biramu. 10 (G)Abavubi banaayimiriranga ku lubalama lwagwo okuva mu Engedi okutuuka e Negalayimu; walibeerayo ebifo ebyokwanikamu obutimba. Buli byannyanja biriba mu bika byabyo, era nga bingi nnyo nnyini ng’ebyennyanja eby’omu Nnyanja Ennene, ye Meditereeniya. 11 (H)Naye ebifo eby’ettosi n’ebisaalu tebirilongooka, birisigala nga bya munnyo. 12 (I)Emiti egy’ebibala ebya buli kika girimera eruuyi n’eruuyi w’omugga, n’ebikoola byagyo tebiriwotoka era tegiibulengako bibala. Buli mwezi ginaabeerangako ebibala, kubanga amazzi gaagyo agava mu Watukuvu gagifukirira. Ebibala byagyo biriba mmere, n’ebikoola byagyo biriba ddagala eriwonya.”

Yuda 17-25

Okugumiikiriza

17 (A)Naye mmwe, abaagalwa, mujjukire abatume ba Mukama waffe Yesu Kristo ebigambo bye baayogera edda 18 (B)bwe baabagamba nti, “Mu nnaku ez’oluvannyuma walijjawo abantu abalibasekerera, nga beegomba nga bwe baagala, nga batambulira mu bitasiimibwa Katonda.” 19 (C)Abo be bo abaleeta enjawukana, ab’omubiri obubiri era abatalina Mwoyo Mutukuvu.

20 (D)Naye mmwe, abaagalwa, musaana okuzimba obulamu bwammwe nga bweyongera okuba obw’amaanyi, nga mubuzimbira ku musingi ogw’okukkiriza kwammwe okutukuvu, era nga musaba mu Mwoyo Mutukuvu, 21 (E)nga mwekuumira mu kwagala kwa Katonda, nga mwesunga okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olw’obulamu obutaggwaawo.

22 Mubeerenga ba kisa eri abo ababuusabuusa mu kukkiriza, 23 (F)n’abalala mufubenga okubawonya nga mubakwakkula mu nnimi z’omuliro, n’abalala mubatuuse eri Mukama nga muyita mu kubalaga ekisa ng’aboonoonyi, wabula mukyawe ekyambalo, ekijjudde amabala agakiteekeddwako omubiri gwabwe.

Okusaba okw’Okutendereza

24 (G)Katonda asobola okubawanirira muleme okuva mu kkubo lye, era n’okubatuusa mu maaso ge ag’ekitiibwa nga temuliiko kamogo era nga mujjudde essanyu; 25 (H)Katonda oyo omu yekka atulokola okuyita mu Yesu Kristo Mukama waffe, agulumizibwe era atenderezebwenga olw’amaanyi ge n’obuyinza bwe, okuva ku mirembe gyonna egyayita, ne kaakano era ne mu mirembe egitaliggwaawo! Amiina.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.