Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.
63 (A)Ayi Katonda, oli Katonda wange,
nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
emmeeme yange ekwetaaga,
omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira,
nga nnina ennyonta ng’ali
mu nsi enkalu omutali mazzi.
2 (B)Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu,
ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo.
3 (C)Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu;
akamwa kange kanaakutenderezanga.
4 (D)Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna;
nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
5 (E)Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga;
nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.
Ekitiibwa kya Mukama
34 (A)Awo ekire ne kibuutikira Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, yonna n’ejjula ekitiibwa kya Mukama. 35 (B)Musa n’atasobola kuyingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, kubanga ekire kyagibuutikira, n’ekitiibwa kya Mukama ne kijijjula.
36 (C)Mu lugendo lwabwe lwonna, ekire bwe kyaggyibwanga ku Weema ya Mukama, olwo abaana ba Isirayiri nga basitula nga batambula; 37 naye ekire bwe kitaggyibwangako ku Weema ya Mukama, olwo nga tebasitula kutambula okutuusa ku lunaku lwe kyaggyibwangako. 38 (D)Ekire kya Mukama kyabeeranga ku Weema ya Mukama emisana, ate ekiro nga mu kire ekyo mubaamu muliro, ng’abaana ba Isirayiri bonna ebyo babiraba mu lugendo lwabwe lwonna.
Okugwa kwa Babulooni
18 (A)Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu n’obuyinza obungi ennyo era ensi n’eyakaayakana olw’ekitiibwa kye yalina. 2 (B)N’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
“Babulooni ekibuga ekikulu kigudde! kigudde!
Kifuuse empuku ya baddayimooni,
n’ekkomera lya buli mwoyo ogutali mulongoofu,
n’ekkomera erya buli nnyonyi etali nnongoofu,
n’ekkomera erya buli kisolo ekitali kirongoofu, ebyakyayibwa.
3 (C)Kubanga amawanga gonna gaanywa ku mwenge gw’obwenzi bwe.
Bakabaka ab’omu nsi bonna baayenda naye.
Era abasuubuzi ab’omu nsi yonna
bagaggawadde olw’obulamu bwe obw’okwejalabya.”
4 (D)Ne mpulira eddoboozi eddala nga lyogera okuva mu ggulu nga ligamba nti,
“ ‘Mmwe abantu bange muve mu kibuga ekyo’
muleme kwegatta mu bibi bye,
muleme kubonerezebwa wamu naye.
5 (E)Kubanga ebibi bye bingi nnyo, era bituuse ne mu ggulu,
era Katonda ajjukira obutali butuukirivu bwe.
6 (F)Mumuyise nga naye bwe yayisa abalala;
mumubonereze emirundi ebiri olw’ebikolwa bye ebibi.
Mumuyengere emirundi ebiri mu kikompe kye yagabulirangamu abalala.
7 (G)Nga bwe yeegulumiza ne yeejalabya,
bw’otyo bw’oba omubonereza era omunakuwaze,
kubanga ayogera mu mutima gwe nti,
‘Ntudde nga kabaka omukazi,
siri nnamwandu,
era sirina nnaku.’
8 (H)Noolwekyo ebibonyoobonyo eby’okufa n’okukaaba n’enjala birimujjira mu lunaku lumu,
era alizikirizibwa n’omuliro;
kubanga Mukama Katonda
amusalidde omusango.
9 (I)“Bakabaka ab’omu nsi abeegatta naye mu bwenzi bwe ne beejalabya naye, balimukaabira nga bakuba ebiwoobe bwe baliraba omukka oguva mu kifo mw’alyokerwa. 10 (J)Baliyimirira wala nga bakankana olw’okutya era nga boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
“ ‘Zikisanze, Zikisanze Babulooni ekibuga ekyo ekikulu!
Ekibuga eky’amaanyi,
Kubanga mu ssaawa emu omusango gwakyo gusaliddwa.’
19 (A)Ne beeyiyira enfuufu ku mitwe gyabwe nga banakuwadde era nga bakaaba nga boogera nti,
“ ‘Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu!
Kyabagaggawaza bonna
abaalina ebyombo ku lubalama lw’ennyanja olw’obugagga obwakirimu,
naye kaakano mu ssaawa emu byonna ebyakirimu bizikiridde.’
20 (B)“Kyokka ggwe eggulu ssanyuka olw’okubonerezebwa kwe,
nammwe abatukuvu
ne bannabbi n’abatume musanyuke.
Kubanga Katonda amusalidde omusango
ku lwammwe.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.