Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Okufa kwa Musa mu nsi ya Mowaabu
34 (A)Awo Musa n’ayambuka okuva mu nsenyi za Mowaabu, n’alinnyalinnya Olusozi Nebo, n’atuukira ddala ku ntikko eyitibwa Pisuga, eyolekedde Yeriko. Mukama Katonda n’asinziira awo n’amulengeza ensi yonna ensuubize: okuva ku Giriyaadi okutuuka ku Ddaani, 2 (B)ne Nafutaali yonna, n’ensi ya Efulayimu ne Manase, n’ensi yonna eya Yuda okutuuka ku Nnyanja ey’Ebugwanjuba, 3 (C)ne Negebu n’olusenyi olw’ekiwonvu omuli Ekibuga ky’Enkindu ekiyitibwa Yeriko okutuukira ddala ku Zawaali. 4 (D)Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Eyo y’ensi gye nalayirira Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, nga ngibasuubiza nti, ‘Ndigiwa ezzadde lyo.’ Ngikulaze n’ogiraba n’amaaso go, naye tojja kusomoka kugituukamu.”
5 (E)Awo Musa, omuweereza wa Mukama, n’afiira awo mu nsi ya Mowaabu, ng’ekigambo kya Mukama Katonda bwe kyali. 6 (F)Mukama n’aziika Musa mu nsi ya Mowaabu, mu kiwonvu ekyolekedde Besupyoli, naye tewali n’omu amanyi malaalo ge we gali ne ku lunaku lwa leero. 7 (G)Musa we yafiira yali nga yakamaze emyaka kikumi mu abiri egy’obukulu; kyokka ng’amaaso ge galaba bulungi, era n’amaanyi ge nga tegakendeddeeko. 8 (H)Abaana ba Isirayiri ne bakaabira Musa mu nsenyi za Mowaabu okumala ennaku amakumi asatu, okutuusa ennaku ezo ez’okukaaba n’okukungubagira Musa bwe zaggwaako.
9 (I)Yoswa, mutabani wa Nuuni, yali ajjudde omwoyo ogw’amagezi, kubanga Musa yali yamuteekako emikono gye. Abaana ba Isirayiri ne bamuwulira, ne bakola nga Mukama Katonda bwe yali alagidde Musa.
10 (J)Okuva olwo tewayimukangawo nnabbi mulala mu Isirayiri afaanana nga Musa, Mukama Katonda gwe yamanyagana naye amaaso n’amaaso. 11 Tewaaliwo yamwenkana olw’obubonero n’ebyamagero Mukama Katonda bye yamutuma okukola mu nsi y’e Misiri ku Falaawo ne ku baweereza be bonna, ne ku nsi ye yonna, 12 era n’olw’ekitiibwa kye eky’amaanyi amangi, n’obuyinza obw’entiisa bwe yayoleka mu Isirayiri yenna.
EKITABO IV
Zabbuli 90–106
Okusaba kwa Musa, omusajja wa Katonda.
90 (A)Ayi Mukama, obadde kifo kyaffe eky’okubeeramu
emirembe gyonna.
2 (B)Ensozi nga tezinnabaawo,
n’ensi yonna nga tonnagitonda;
okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero y’emirembe gyonna, ggwe Katonda.
3 (C)Omuntu omuzzaayo mu nfuufu,
n’oyogera nti, “Mudde mu nfuufu, mmwe abaana b’abantu.”
4 (D)Kubanga emyaka olukumi,
gy’oli giri ng’olunaku olumu olwayita,
oba ng’ekisisimuka mu kiro.
5 (E)Obeera n’obamalirawo ddala nga bali mu tulo otw’okufa.
Ku makya baba ng’omuddo omuto.
6 (F)Ku makya guba munyirivu,
naye olw’eggulo ne guwotoka ne gukala.
13 (A)Ayi Mukama, komawo gye tuli. Olitusuula kutuusa ddi?
Abaweereza bo bakwatirwe ekisa.
14 (B)Tujjuze okwagala kwo okutaggwaawo ku makya,
tulyoke tuyimbenga nga tujaguza n’essanyu era tusanyukenga obulamu bwaffe bwonna.
15 Tusanyuse, Ayi Mukama, okumala ennaku nga ze tumaze ng’otubonyaabonya,
era n’okumala emyaka nga gye tumaze nga tulaba ennaku.
16 (C)Ebikolwa byo biragibwe abaweereza bo,
n’abaana baabwe balabe ekitiibwa kyo.
17 (D)Okusaasira kwo, Ayi Mukama Katonda waffe, kubeerenga ku ffe,
otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe;
weewaawo, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe.
Obuweereza bwa Pawulo mu Sessaloniika
2 (A)Mmwe bennyini, abooluganda abaagalwa, mumanyi ng’okujja kwaffe gye muli tekwafa busa. 2 (B)Mumanyi nga bwe twabonaabonera e Firipi, n’okuyisibwa obubi kyokka ne tugumira mu Katonda waffe ne tubategeeza Enjiri ya Katonda nga tuli mu kuwakanyizibwa okungi. 3 (C)Kubanga okubuulirira kwaffe tekwali kwa bulimba so tekwali kwa bugwenyufu, wadde okw’obukuusa, 4 (D)naye nga bwe twasaanyizibwa Katonda n’atwesiga n’Enjiri, bwe twogera bwe tutyo, si ng’abaagala okusanyusa abantu, wabula tusiimibwe Katonda, oyo akebera ebirowoozo by’emitima gyaffe. 5 (E)Tetugezangako kubawangula na bigambo biwaaniriza nga nammwe bwe mumanyi, wadde okuba ab’omululu era Katonda akimanyi, 6 (F)newaakubadde okunoonyaamu ekitiibwa, newaakubadde okuva eri mmwe wadde abantu abalala, 7 (G)tulyoke tulabike ng’abatume ba Kristo ab’amaanyi. Naye twefuula ng’abaana abato mu maaso gammwe, nga nnyina w’abaana bwe yandyagadde abaana be, 8 (H)bwe tutyo bwe twabalumirwa omwoyo ne tusanyuka okubatuusaako si Enjiri ya Katonda yokka naye n’okuwaayo emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwafuuka baagalwa baffe.
Etteeka Erisinga Obukulu mu Mateeka
34 (A)Abafalisaayo bwe baawulira nga Yesu Abasaddukaayo abamazeeko eby’okwogera, ne bakuŋŋaana. 35 (B)Omu ku bo eyali munnamateeka n’amubuuza ekibuuzo ng’amugezesa nti, 36 “Omuyigiriza, tteeka ki erisinga obukulu mu mateeka.”
37 (C)Yesu n’addamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ 38 Eryo ly’etteeka ery’olubereberye era lye Iisingira ddala obukulu. 39 (D)N’eryokubiri eririfaananako lye lino nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo nga gwe bwe weeyagala wekka.’ 40 (E)Amateeka amalala gonna gasinziira mu mateeka ago gombi ne bya bannabbi.”
41 Awo mu kiseera ekyo Abafalisaayo nga bakuŋŋaanye, Yesu n’ababuuza nti, 42 (F)“Kristo mumulowoozako mutya? Mwana waani?” Ne baddamu nti, “Mwana wa Dawudi.”
43 Yesu kyeyava ababuuza nti, “Dawudi ng’ajjudde Omwoyo bw’ayogera ku Kristo, lwaki ate amuyita ‘Mukama we’, ng’agamba nti,
44 (G)“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti:
“Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo
ne mbassa wansi w’ebigere byo?” ’
45 Noolwekyo obanga Dawudi amuyita ‘Mukama we,’ kale, ate abeera atya omwana we?” 46 (H)Ne wataba n’omu amuddamu, era okuva olwo ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.