Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 99

99 (A)Mukama afuga,
    amawanga gakankane;
atuula wakati wa bakerubi,
    ensi ekankane.
(B)Mukama mukulu mu Sayuuni;
    agulumizibwa mu mawanga gonna.
(C)Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa.
    Mukama mutukuvu.

(D)Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya.
    Onywezezza obwenkanya;
era by’okoledde Yakobo bya bwenkanya
    era bituufu.
(E)Mumugulumize Mukama Katonda waffe;
    mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye.
    Mukama mutukuvu.

(F)Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be;
    ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye;
baasabanga Mukama
    n’abaanukula.
(G)Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire;
    baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa.

(H)Ayi Mukama Katonda waffe,
    wabaanukulanga;
n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri,
    newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi.
Mugulumizenga Mukama Katonda waffe,
    mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu,
    kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.

Okuva 39:32-43

Okumaliriza omulimu gw’Eweema ya Mukama

32 (A)Bwe gutyo omulimu gwonna ogw’okukola Eweema ya Mukama, eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ne guggwa; ng’abaana ba Isirayiri bakoze ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa. 33 Awo Weema ya Mukama ne bagireetera Musa;

Eweema ya Mukama yonna ne byonna ebyali bigirimu: ebisiba byayo, n’embaawo, n’emikiikiro, n’empagi zaayo, n’ebituurwamu;

34 ekibikkako eky’amaliba g’endiga amakunye amannyike mu langi emyufu, n’amaliba g’embuzi amakunye, n’eggigi ery’okutimba;

35 (B)essanduuko ey’Endagaano n’emisituliro gyayo n’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira;

36 emmeeza ne byonna ebigibeerako, n’emigaati gya Mukama egy’olubeerera;

37 (C)ekikondo ky’ettaala ekya zaabu omuka, n’ettaala zaako n’ebigenderako ebikozesebwa, n’amafuta gaazo;

38 (D)ekyoto ekya zaabu, amafuta ag’okwawula n’obubaane obw’akawoowo, n’olutimbe olw’omulyango oguyingira mu Weema ya Mukama;

39 ekyoto eky’ekikomo n’ekitindiro kyakyo eky’ekikomo, emisituliro gyakyo ne byonna ebikozesebwako;

ebbensani ne ky’etuulamu;

40 (E)entimbe ez’oku bisenge, eby’omu luggya n’empagi zaazo ne mwe zituula, n’olutimbe olw’omu mulyango ogulaga mu luggya,

emiguwa gyalwo n’enkondo zaalwo;

ne byonna ebikozesebwa olw’emirimu gy’omu Weema ya Mukama, eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu;

41 ebyambalo ebiruke obulungi ebyambalwa mu kuweereza mu Kifo Ekitukuvu, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n’ebyambalo bya batabani be bye bakozesa mu bwakabona nga baweereza.

42 (F)Nga Mukama bwe yalagira Musa mu byonna, bwe batyo abaana ba Isirayiri omulimu gwonna bwe baagukola. 43 (G)Awo Musa n’akebera omulimu gwonna, era n’alaba nga bagumalirizza. Nga Mukama bwe yalagira, nabo bwe batyo bwe baagukola. Awo Musa n’abasabira omukisa.

Matayo 14:1-12

Yokaana Atemwako Omutwe

14 (A)Mu kiseera ekyo Kabaka Kerode bwe yawulira ettutumu lya Yesu (B)n’agamba abaweereza be nti, “Oyo ye Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, era y’akola eby’amagero.”

(C)Kuba Kerode yali amaze okukwata Yokaana n’amussa mu kkomera, kubanga Yokaana yamunenya olwa Kerodiya muka Firipo muganda we, (D)kubanga Yokaana yagamba Kerode nti, “Si kituufu okusigula muka muganda wo n’omufuula owuwo.” (E)Kerode yali ayagala kumutta naye n’atya abantu kubanga baalowooza Yokaana okuba nnabbi.

Olunaku lw’amazaalibwa ga Kerode bwe lwatuuka muwala wa Kerodiya n’azina nnyo ku mbaga n’asanyusa nnyo Kerode. Awo Kerode n’asuubiza omuwala ng’alayira okumuwa kyonna ky’anaamusaba. Naye bwe yaweebwa nnyina amagezi, n’agamba nti, “Mpeera wano omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lusaniya.” Ekintu ekyo ne kinakuwaza nnyo kabaka. Naye olwokubanga yali yakisuubiza mu maaso g’abagenyi be, kyeyava alagira bagumuleetere. 10 (F)Ne bagenda mu kkomera, ne batemako Yokaana omutwe 11 ne baguleetera ku lusaniya ne baguwa omuwala, naye n’agutwalira nnyina.

12 (G)Abayigirizwa ba Yokaana ne banonayo omulambo gwe ne bagutwala ne baguziika, ne balyoka bagenda ne babikira Yesu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.