Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
EKITABO IV
Zabbuli 90–106
Okusaba kwa Musa, omusajja wa Katonda.
90 (A)Ayi Mukama, obadde kifo kyaffe eky’okubeeramu
emirembe gyonna.
2 (B)Ensozi nga tezinnabaawo,
n’ensi yonna nga tonnagitonda;
okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero y’emirembe gyonna, ggwe Katonda.
3 (C)Omuntu omuzzaayo mu nfuufu,
n’oyogera nti, “Mudde mu nfuufu, mmwe abaana b’abantu.”
4 (D)Kubanga emyaka olukumi,
gy’oli giri ng’olunaku olumu olwayita,
oba ng’ekisisimuka mu kiro.
5 (E)Obeera n’obamalirawo ddala nga bali mu tulo otw’okufa.
Ku makya baba ng’omuddo omuto.
6 (F)Ku makya guba munyirivu,
naye olw’eggulo ne guwotoka ne gukala.
13 (A)Ayi Mukama, komawo gye tuli. Olitusuula kutuusa ddi?
Abaweereza bo bakwatirwe ekisa.
14 (B)Tujjuze okwagala kwo okutaggwaawo ku makya,
tulyoke tuyimbenga nga tujaguza n’essanyu era tusanyukenga obulamu bwaffe bwonna.
15 Tusanyuse, Ayi Mukama, okumala ennaku nga ze tumaze ng’otubonyaabonya,
era n’okumala emyaka nga gye tumaze nga tulaba ennaku.
16 (C)Ebikolwa byo biragibwe abaweereza bo,
n’abaana baabwe balabe ekitiibwa kyo.
17 (D)Okusaasira kwo, Ayi Mukama Katonda waffe, kubeerenga ku ffe,
otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe;
weewaawo, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe.
32 (A)Tega okutu ggwe eggulu, nange nnaayogera,
wulira ebigambo by’omu kamwa kange.
2 (B)Okuyigiriza kwange ka kutonnye ng’enkuba,
n’ebigambo byange bigwe ng’omusulo,
bigwe ng’obufuuyirize ku muddo,
ng’oluwandagirize ku bisimbe ebito.
3 (C)Kubanga ndirangirira erinnya lya Mukama;
mutendereze ekitiibwa kya Katonda waffe!
4 (D)Lwe lwazi, emirimu gye mituukirivu,
n’ebikolwa bye byonna bya bwenkanya.
Ye Katonda omwesigwa, ataliiko bukuusa,
omwenkanya era omutereevu mu byonna.
5 (E)Beeyisizza ng’abagwenyufu gy’ali,
baswavu era tebakyali baana be,
wabula omulembe omukyamu era ogw’amawaggali.
6 (F)Bwe mutyo bwe musasula Mukama Katonda,
mmwe abantu abasirusiru era abatalina magezi?
Si ye kitaawo eyakutonda,
n’akussaawo n’akunyweza?
7 (G)Jjukira ebiseera eby’edda,
fumiitiriza ku myaka egyayita edda.
Buuza kitaawo ajja kukubuulira
ne bakadde bo abakulembeze bajja kukutegeeza.
8 (H)Ali Waggulu Ennyo bwe yagabanyiza amawanga ensi zaago
abantu bonna bwe yabayawulayawulamu,
yategeka ensalo z’amawanga
ng’omuwendo gw’abaana ba Isirayiri bwe gwali.
9 (I)Omugabo gwa Mukama Katonda be bantu be,
Yakobo bwe busika bwe bwe yagabana.
10 (J)Yamuyisanga mu ddungu,
mu nsi enkalu eya kikuŋŋunta.
Yamuzibiranga, n’amulabiriranga,
n’amukuumanga ng’emmunye ey’eriiso lye.
11 (K)Ng’empungu bw’enyegenya ku kisu kyayo,
n’epaapaalira waggulu w’obwana bwayo,
era nga bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo, n’ebusitula,
n’ebutumbiiza ku biwaawaatiro byayo,
12 (L)Mukama Katonda yekka ye yamukulemberanga;
so tewabangawo katonda mulala.
13 (M)Yamuteeka ku ntikko z’ensozi ez’ensi eyo,
n’amuliisanga ku bibala by’omu nnimiro.
Yamukulizanga ku mubisi gw’enjuki ogw’omu njatika z’enjazi
n’amafuta agaavanga mu mayinja amagumu
14 (N)ne bbongo eyavanga mu biraalo, n’amata okuva mu bisibo,
n’amasavu ag’endiga ento n’ennume,
n’embuzi ennume n’enduusi ez’e Basani,
awamu n’eŋŋaano esinga obulungi,
wanywanga wayini ow’ejjovu eyavanga mu mizabbibu.
18 (A)Weerabira Olwazi eyakuzaala,
weerabira Katonda eyakuzaala.
11 (A)Kubanga ekisa kya Katonda ekireetera abantu bonna obulokozi kirabise, 12 (B)era kituyigiriza tuleke obutatya Katonda, n’okwegomba kw’ensi, tulyoke tube beegendereza, abatuukirivu abatya Katonda nga tuli mu mulembe gwa kaakano; 13 (C)nga tulindirira olunaku lwe tusuubira, n’okulabika kw’ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo; 14 (D)eyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwaffe bwonna, era yeerongooseza eggwanga ery’envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi. 15 Ebyo by’obanga oyigiriza abantu. Buuliriranga era nenyanga n’obuyinza bwonna. Omuntu yenna takunyoomanga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.