Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Musa Atunuulira Ekitiibwa kya Mukama
12 (A)Musa n’agamba Mukama nti, “Obadde ontegeeza nti, ‘Kulembera abantu bano,’ naye omuntu gw’onontuma naye tomuntegeezezza. Ogambye nti, ‘Nkumanyi awamu n’erinnya lyo, era onsanyusizza.’ 13 (B)Obanga nkusanyusizza, njigiriza amakubo go ndyoke nkumanye era nneeyongeranga okukusanyusa. Jjukira nti eggwanga lino be bantu bo.”
14 (C)Mukama n’addamu nti, “Nnaagendanga naawe, era nnaakuwummuzanga.”
15 Musa n’amugamba nti, “Obanga toogende naffe, totuggya wano. 16 (D)Kale abantu balitegeerera ku ki nga Nkusanyusizza, nze n’abantu bo? Si lwa kubanga onooba ogenze naffe, ne tuba ba njawulo, nze n’abantu bo, nga twawukana ku bantu bonna ab’oku nsi?”
17 Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Nzija kukola ekyo kyennyini ky’osabye; onsanyusizza, era nkumanyi awamu n’erinnya lyo.”
18 Musa n’agamba nti, “Nkwegayiridde, ndaga ekitiibwa kyo.”
19 (E)Mukama n’agamba nti, “Nzija kuggyayo obulungi bwange bwonna nga mbuyisa mu maaso go. Era nzija kukutegeeza erinnya lyange, Mukama. Buli gwe nnaayagalanga okukwatirwa ekisa, nnaamukwatirwanga ekisa, ne buli gwe nnaayagalanga okusaasira nnaamusaasiranga.” 20 (F)Era n’agamba nti, “Naye toyinza kulaba maaso gange, kubanga tewali muntu antunulako n’aba mulamu.”
21 Mukama n’agamba nti, “Waliwo wano okumpi nange ekifo ku lwazi kw’onooyimirira. 22 (G)Ekitiibwa kyange bwe kinaaba kiyitawo, nnaakuteeka mu mpataanya mu lwazi, ne nkubikkako omukono gwange okutuusa lwe nnaamala okuyitawo. 23 Oluvannyuma omukono gwange nnaaguggyawo, n’olaba amabega gange; naye tojja kulaba ku maaso gange.”
99 (A)Mukama afuga,
amawanga gakankane;
atuula wakati wa bakerubi,
ensi ekankane.
2 (B)Mukama mukulu mu Sayuuni;
agulumizibwa mu mawanga gonna.
3 (C)Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa.
Mukama mutukuvu.
4 (D)Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya.
Onywezezza obwenkanya;
era by’okoledde Yakobo bya bwenkanya
era bituufu.
5 (E)Mumugulumize Mukama Katonda waffe;
mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye.
Mukama mutukuvu.
6 (F)Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be;
ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye;
baasabanga Mukama
n’abaanukula.
7 (G)Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire;
baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa.
8 (H)Ayi Mukama Katonda waffe,
wabaanukulanga;
n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri,
newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi.
9 Mugulumizenga Mukama Katonda waffe,
mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu,
kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.
1 (A)Nze Pawulo ne Sirwano[a] ne Timoseewo, tuwandiikira Ekkanisa ey’Abasessaloniika, abantu ba Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, ekisa n’emirembe bibeerenga gye muli.
Okwebaza olw’okukkiriza kw’Abasessaloniika
2 (B)Bulijjo twebaza Katonda ku lwammwe mwenna era tubasabira obutayosa, 3 (C)nga tujjukira omulimu gwammwe ogw’okukkiriza, n’okufuba okw’okwagala n’okugumiikiriza okw’essuubi mu Mukama waffe Yesu Kristo mu maaso ga Katonda era Kitaffe, 4 era nga tumanyi, nga mmwe abooluganda muli mikwano gya Katonda, baayagala ennyo, be yalonda. 5 (D)Kubanga Enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo kyokka, wabula ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu bukakafu obungi, era nga bwe mumanyi nga twabeeranga wakati mu mmwe ku lwammwe. 6 (E)Nammwe mwagoberera Mukama waffe era ne mukola nga bwe twakolanga bwe mwakkiriza ekigambo wakati mu kubonaabona okungi nga mulina essanyu eriva mu Mwoyo Omutukuvu, 7 ne mubeera ekyokulabirako eri abakkiriza bonna ab’omu Makedoniya ne Akaya. 8 (F)Kubanga ekigambo kya Mukama kibunye okuva mu mmwe, si mu Makedoniya ne mu Akaya mwokka, naye ne mu buli kifo n’okukkiriza kwammwe eri Katonda kwabuna ne tutabaako kye tukwogerera. 9 (G)Kubanga bo bennyini batubuulira engeri gye mwatwanirizaamu, ne bwe mwakyuka okuleka bakatonda abalala ne mudda eri Katonda omulamu era ow’amazima, 10 (H)era ne bwe mulindiridde Omwana wa Katonda, okukomawo okuva mu ggulu, gwe yazuukiza okuva mu bafu, ye Yesu oyo yekka atulokola okutuwonya mu busungu bwa Katonda obugenda okujja.
Okuwa Kayisaali Omusolo
15 Awo Abafalisaayo ne bagenda ne bateesa engeri gye banaategamu Yesu bamukwase mu bigambo. 16 (A)Ne bamutumira abayigirizwa baabwe awamu n’Abakerodiyaani nga bagamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng’oli mulungi, era oyigiriza mazima awatali kutya muntu yenna, kubanga tososola mu bantu. 17 (B)Kale tutegeeze, olowooza ekituufu kye kiri wa? Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?”[a]
18 Naye Yesu bwe yamanya obutali butuukirivu bwabwe, n’abagamba nti, “Bannanfuusi mmwe, Lwaki mungezesa? 19 Kale, mundeetere wano ku nsimbi ze muweesa omusolo ndabe.” Ne bamuleetera eddinaali. 20 N’ababuuza nti, “Kino ekifaananyi n’obuwandiike ebiriko by’ani?”
21 (C)Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.” N’abagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mubiwenga Katonda.”
22 (D)Bwe baawulira ebigambo ebyo ne beewuunya ne bamuleka ne bagenda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.