Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
99 (A)Mukama afuga,
amawanga gakankane;
atuula wakati wa bakerubi,
ensi ekankane.
2 (B)Mukama mukulu mu Sayuuni;
agulumizibwa mu mawanga gonna.
3 (C)Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa.
Mukama mutukuvu.
4 (D)Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya.
Onywezezza obwenkanya;
era by’okoledde Yakobo bya bwenkanya
era bituufu.
5 (E)Mumugulumize Mukama Katonda waffe;
mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye.
Mukama mutukuvu.
6 (F)Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be;
ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye;
baasabanga Mukama
n’abaanukula.
7 (G)Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire;
baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa.
8 (H)Ayi Mukama Katonda waffe,
wabaanukulanga;
n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri,
newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi.
9 Mugulumizenga Mukama Katonda waffe,
mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu,
kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.
Okulondebwa kw’Abakozi
31 Awo Mukama n’agamba Musa nti, 2 (A)“Laba, nnonze Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda; 3 (B)era mmujjuzza Omwoyo wa Katonda, n’okumanya, n’obusobozi n’amagezi mu kukola ebitali bimu ebyemikono 4 okutetenkanya ebintu ebinaakolebwa mu zaabu ne ffeeza n’ekikomo, nga bwe binaafaanana, 5 okwola amayinja n’okugategeka, n’okwola emiti, era n’okukola byonna ebyemikono ebya buli ngeri. 6 Ate mmulondeddeko Okoliyaabu mutabani wa Akisamaki, ow’omu kika kya Ddaani, okumuyamba.
“Era abakugu abakola ebintu byonna ebya buli ngeri, mbawadde amagezi okukola bino byonna bye nkulagidde:
7 (C)“Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu,
n’Essanduuko ey’Endagaano n’ekibikkako eky’entebe ey’okusaasira,
awamu n’ebikozesebwa byonna mu Weema ya Mukama,
8 (D)emmeeza n’ebigenderako,
ekikondo ekya zaabu omuka eky’ettaala n’ebigenderako,
n’ekyoto eky’obubaane,
9 n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebigenderako,
n’ebbensani ne kw’etuula;
10 (E)n’ebyambalo ebyalukibwa obulungi,
ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni, kabona,
n’ebyambalo bya batabani be bye baweererezaamu mu bwakabona;
11 (F)n’amafuta ag’okufukibwa, n’ebyakaloosa akalungi ak’omu Kifo Ekitukuvu.
“Byonna babikole nga bwe nakulagira.”
Katonda Talemererwa
5 (A)Noolwekyo mbulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe, omujulirwa w’okubonaabona kwa Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulirwa. 2 (B)Mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, mukiriisenga nga mukirabirira n’okwagala so si na kwemulugunya, nga mukolerera amagoba ag’obukuusa wabula olw’okujjumbira Katonda. 3 (C)Be mukulembera temubakambuwaliranga wabula mubakulemberenga nga mubalaga ekyokulabirako ekirungi. 4 (D)Era Omusumba Omukulu bw’alikomawo, muliweebwa engule ey’ekitiibwa ekitaliggwaawo.
5 (E)Mmwe abavubuka, mugonderenga abakulu. Muweerezeganenga mwekka na mwekka n’obuwombeefu kubanga
“Katonda akyawa ab’amalala
naye abawombeefu abawa omukisa.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.