Add parallel Print Page Options

Emmeeza Ekolebwa

10 (A)N’akola n’emmeeza mu muti gwa akasiya, obuwanvu bwayo sentimita kyenda, n’obugazi sentimita amakumi ana mu ttaano, n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu. 11 (B)N’agibikkako zaabu omuka ennyo, era n’agyetoolooza omuge ogwa zaabu. 12 N’agikolerako olukugiro oluweza sentimita musanvu ne desimoolo ttaano obugazi, n’omuge ogwa zaabu okwebungulula olukugiro olwo. 13 N’aweesa empeta nnya eza zaabu, n’azisiba mu nsonda ennya awali amagulu gaayo ana. 14 (C)Empeta ezo yazissa kumpi n’olukugiro ziyisibwemu emisituliro gy’emmeeza. 15 N’akola emisituliro gy’emmeeza mu muti gwa akasiya, n’agibikkako zaabu. 16 N’akola mu zaabu omuka, ebikozesebwa eby’okubeeranga ku mmeeza: essowaani zaako, n’ebijiiko byako, n’ebibya eby’okufukanga ebiweebwayo eby’okunywa.

Read full chapter

Ekikondo ky’Ettaala

17 (A)Yakola ekikondo ky’ettaala nga kya zaabu omuka. Yakiweesezaako entobo yaakyo n’enduli, n’ebikopo ebifaanana ng’ebimuli, amatabi n’emitunsi n’ebimuli byako; byonna yabiweesa mu kyuma kya zaabu kimu bulambalamba. 18 Kwaliko amatabi mukaaga agafaanana ng’omutuula emisubbaawa; amatabi asatu nga gali ku ludda lumu n’amalala asatu nga gali ku ludda olulala. 19 Ku ttabi erimu kwaliko ebikopo bisatu nga bikoleddwa ng’ebimuli by’alumondi n’emitunsi n’ebimuli, ate bisatu ne bibeera ku ttabi eddala, n’ebirala bisatu ne bibeera ku buli limu ku matabi amalala okutuusa amatabi omukaaga gonna agava ku kikondo ky’ettaala lwe gaabuna. 20 Ku kikondo ky’ettaala kwennyini kwaliko ebikopo bina ebyakolebwa ng’ebimuli by’alumondi n’emitunsi gyabyo n’ebimuli byako. 21 Omutunsi ogumu gwali wansi w’amatabi abiri agava ku kikondo ky’ettaala, n’omuntunsi ogwokubiri ne gubeera wansi w’amatabi abiri agaddirira, n’omutunsi ogwokusatu ne gubeera wansi w’amatabi abiri agaddako, amatabi gonna omukaaga ne gabuna. 22 (B)Emitunsi n’amatabi gaako yabikola bumu n’ekikondo ky’ettaala mu zaabu omuweese omuka nga biri wamu.

23 (C)Ekikondo ky’ettaala n’akikolera ettaala musanvu, ne makansi ezikomola entambi, n’essowaani ez’okussaako ebisirinza, nga byonna abikoze mu zaabu omuka. 24 Ekikondo ky’ettaala ne byonna ebigenderako yabikola mu zaabu omuka eyaweza obuzito bwa kilo amakumi asatu mu nnya.

Read full chapter