Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
149 (A)Mutendereze Mukama!
Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu.
2 (B)Isirayiri asanyukirenga eyamutonda;
n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe!
3 (C)Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina,
bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa.
4 (D)Kubanga Mukama asanyukira abantu be,
n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi.
5 (E)Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino;
bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu.
6 (F)Batenderezenga Katonda waabwe,
bakwate ekitala eky’obwogi obubiri,
7 bawoolere eggwanga,
babonereze n’amawanga,
8 bateeke bakabaka baago mu njegere,
n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma,
9 (G)babasalire omusango ogwabawandiikirwa.
Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna.
Mutendereze Mukama.
Nsotoka mu Magana ag’Abamisiri
9 (A)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Genda ewa Falaawo omugambe nti, Mukama Katonda wa Abaebbulaniya agambye nti, ‘Leka abantu bange bagende, bansinze. 2 Singa ogaana okubakkiriza okugenda, n’oyongera okubakuumira wano, 3 (B)Mukama ajja kusindika nsotoka omukambwe ennyo mu magana go agali mu malundiro, ne mu mbalaasi ne mu ndogoyi, ne mu ŋŋamira, ne mu zisseddume z’ente ne mu ndiga. 4 (C)Naye Mukama ajja kwawulamu amagana aga Isirayiri n’aga Misiri, waleme kubaawo nsolo n’emu efa mu magana ag’abaana ba Isirayiri.’ ”
5 Mukama n’alonda ekiseera, n’agamba nti, “Enkya Mukama w’anaakolera ekintu kino mu nsi eno.” 6 (D)Era enkeera Mukama n’akola ekikolwa ekyo: amagana aga Misiri gonna ne gafa, naye ne wataba nsolo n’emu ku magana ag’abaana ba Isirayiri eyafa. 7 (E)Falaawo n’atuma abantu okwetegereza, ne basanga nga tewali wadde ensolo n’emu ey’abaana ba Isirayiri eyali efudde. Naye era omutima gwa Falaawo ne gusigala nga gukyakakanyadde, Abayisirayiri n’atabakkiriza kugenda.
Pawulo alumirwa Abakkolinso
11 (A)Naye mwampaliriza okufuuka omusirusiru. Noolwekyo mmwe musaana okunjogerako kubanga abatume abakulu abawagulu tebalina na kimu kye bansinza, newaakubadde nga nze siri kintu. 12 (B)Eky’amazima obubonero obw’omutume bwakolerwa mu mmwe mu kugumiikiriza kwonna, mu bubonero ne mu byewuunyo, ne mu bikolwa eby’amaanyi. 13 (C)Kubanga kiki ekkanisa endala kye zaabasingira, wabula nze kennyini obutabazitoowereranga. Munsonyiwe ekyonoono ekyo.
14 (D)Laba guno mulundi gwa kusatu nga nneeteeseteese okujja gye muli, era sijja kubazitoowerera, kubanga ebyammwe si bye njagala, wabula njagala mmwe. N’ekirala, mmwe muli baana bange; abaana si be baterekera bazadde baabwe eby’obugagga, wabula abazadde be baterekera abaana baabwe. 15 (E)Naye nzija kusanyuka nnyo okwewaayo gye muli, nze ne byonna bye nnina olw’emyoyo gyammwe, newaakubadde nga nze gye nkoma okubaagala ennyo, ate mmwe okwagala kwammwe gye ndi gye kukoma okukendeera. 16 (F)Naye mukkirize nti ssabazitoowerera; naye ne ngerengetanya ne mbatega mu lukwe. 17 Mu abo be nabatumira, ani gwe nakozesa okubafunamu amagoba? 18 (G)Nakuutira Tito okujja, ne ntuma n’owooluganda omulala awamu naye; Tito yeeyabafunako amagoba? Tetwatambulira mu mwoyo gumu? Tetwatambulira mu kisinde kimu?
Okutya kwa Pawulo n’okweraliikirira
19 (H)Obw’edda mwalowooza nga mwetoowaza mu maaso ga Katonda. Naye abaagalwa ebintu byonna tubyogerera mu Kristo olw’okubazimba. 20 (I)Kubanga kye ntya oboolyawo kwe kubasanga nga mufaanana nga bwe ssaagala, nange mmwe okunsanga nga nfaanana nga bwe mutayagala; oboolyawo nga waliwo okuyomba, n’obuggya, n’obusungu, n’okwawukana, n’okugeyaŋŋana, n’olugambo, n’okwekuluntaza, n’okutabukatabuka; 21 (J)bwe ndijja nate, Katonda wange aleme kuntoowaza mu maaso gammwe, ne nkaabira abo bonna abaayonoona edda, ne bateenenya obutali bulongoofu, n’obwenzi, n’obugwagwa bye baakola.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.