Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okuva 12:1-14

Okuyitako

12 Awo Mukama n’ayogera ne Musa ne Alooni nga bali mu nsi y’e Misiri, n’abagamba nti, (A)“Okuva leero omwezi[a] guno gwe gunaabanga omubereberye mu myezi gyonna mu mwaka gwammwe. Mutegeeze abantu bonna aba Isirayiri nti ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno kigwanidde buli mukulu wa nnyumba, addire omwana gw’endiga ogw’okuliibwa mu maka ge, buli maka omwana gw’endiga gumu. Singa amaka gabaamu abantu batono nnyo abatamalaawo mwana gwa ndiga, amaka ago geegatte n’ag’omuliraano balye omwana gw’endiga ogwo. Muligeraageranya obungi bw’abantu abamalawo omwana gw’endiga nga musinziira ku ndya ya buli omu mu maka omwo. (B)Omwana gw’endiga gusaana gube gwa seddume nga gwa mwaka gumu obukulu, era nga teguliiko kamogo. Guyinza okuba omwana gw’endiga oba ogw’embuzi. (C)Ensolo ezo muzirabiriranga okutuusa ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi guno; ekibiina kyonna eky’abantu ba Isirayiri ne kiryoka kizitta akawungeezi. Baddiranga omusaayi ne bagumansira ku njuyi zombi ne waggulu, ku mwango gw’oluggi lwa buli nnyumba mwe baliriira omwana gw’endiga. (D)Mu kiro ekyo ennyama balyanga njokye ku muliro, era baliirangako n’emigaati egitali mizimbulukuse n’enva ezikaawa. Tewabanga ku nnyama eyo gye mulya nga mbisi obanga efumbwa mu mazzi; wabula mugyokyanga ku muliro: omutwe, amagulu n’eby’omunda byonna. 10 (E)Temugiterekangako kutuusa nkeera; bw’ebalemanga eggulolimu, mugyokyanga bwokya ne mugizikiriza. 11 (F)Mugiryanga bwe muti: Mwesibanga ekimyu, nga mwambadde n’engatto zammwe[b], nga mukutte n’omuggo. Mugiryanga mangu. Kubanga eyo y’Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama.

12 (G)“Kubanga mu kiro ekyo ndiyita mu nsi ya Misiri, nditta buli kibereberye kyonna mu nsi y’e Misiri, abantu era n’ebisolo; era bakatonda bonna ab’omu Misiri ndibasalira omusango. Nze Mukama. 13 Omusaayi ke kaliba akabonero akalaga ennyumba mwe muli; era bwe ndiraba omusaayi, nga mbayitako; so n’okuzikirira kwe ndireeta ku Bamisiri mmwe tekulibakwatako.

Okukwata Wiiki y’Okuyitako

14 (H)“Olunaku luno lunaababeereranga lwa kijjukizo, era munaalukuumanga ne mulukwata nga lwa mbaga ya Mukama mu mirembe gyammwe gyonna egiriddiriŋŋana. Lino lifuuse tteeka ery’emirembe gyonna.

Zabbuli 149

149 (A)Mutendereze Mukama!

Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
    mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu.

(B)Isirayiri asanyukirenga eyamutonda;
    n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe!
(C)Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina,
    bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa.
(D)Kubanga Mukama asanyukira abantu be,
    n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi.
(E)Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino;
    bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu.

(F)Batenderezenga Katonda waabwe,
    bakwate ekitala eky’obwogi obubiri,
bawoolere eggwanga,
    babonereze n’amawanga,
bateeke bakabaka baago mu njegere,
    n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma,
(G)babasalire omusango ogwabawandiikirwa.
    Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna.

Mutendereze Mukama.

Abaruumi 13:8-14

(A)Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga; kubanga ayagala muntu munne ng’atuukiriza amateeka. (B)Kubanga amateeka gano nti, “Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga,” n’etteeka eddala, ligattiddwa mu kino nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” 10 (C)Ayagala muliraanwa we tamukola bubi; noolwekyo okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka.

11 (D)Mumanye nga kino kye kiseera, era essaawa etuuse mugolokoke okuva mu tulo, kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga ne we twakkiririza. 12 (E)Ekiro kiyise, obudde bunaatera okukya, noolwekyo tweyambulemu ebikolwa eby’ekizikiza, twambale ebyokulwanyisa eby’omusana. 13 (F)Tutambulenga ng’ab’omu musana, so si mu binyumu ne mu kutamiira, ne mu bwenzi n’obukaba, ne mu kuyombagana n’obuggya, 14 (G)naye twambale Mukama waffe Yesu Kristo so tetuwanga mubiri bbanga kukola ng’okwegomba kwagwo bwe kuli.

Matayo 18:15-20

Owooluganda Okusonyiwa Muganda we

15 (A)“Muganda wo bw’akusobyanga ogendanga gy’ali n’omutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bw’akkirizanga n’akwetondera olwo ng’oggyeemu omuntu mu muganda wo. 16 (B)Naye bw’agaananga okukuwuliriza, ofunangayo omuntu omulala omu oba babiri obujulirwa bw’abantu ababiri oba abasatu bukakase buli kigambo. 17 (C)Naye bw’agaananga okubawuliriza ng’ensonga ozitwala eri Ekkanisa. Singa agaana okuwuliriza Ekkanisa, abeere nga munnaggwanga, era omuwooza w’omusolo.

18 (D)“Ddala ddala mbagamba nti byonna bye mulisiba ku nsi, ne mu ggulu birisibwa ne bye mulisumulula ku nsi, ne mu ggulu bigenda kusumululwa.

19 (E)“Era ddala ddala mbagamba nti bwe munaabanga babiri mu nsi ne mukkiriziganya ku ekyo kye mwagala okusaba, Kitange ali mu ggulu alikibakolera. 20 Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.