Add parallel Print Page Options

25 (A)“Temuwangayo kintu kyonna gye ndi ekirimu ekizimbulukusa nga mundeetedde ssaddaaka erimu omusaayi; era ennyama ya ssaddaaka ey’Embaga y’Okuyitako tesigalangawo kutuusa nkeera.

Read full chapter

12 (A)Tebagulekangawo okutuusa enkeera, wadde okumenya ku magumba gaagwo. Bwe banaakwatanga Embaga ey’Okuyitako kinaabasaaniranga okukola ng’amateeka g’embaga eyo bwe galagira.

Read full chapter

(A)Onoofumbanga okuyitako okwo n’okuliira mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera. Enkeera onoddangayo mu weema yo.

Read full chapter

11 (A)Banaakwatanga embaga eyo ku lunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi ogwokubiri akawungeezi. Omwana gw’endiga banaagulyanga n’omugaati ogutali muzimbulukuse n’enva ez’ebikoola ebikaawa.

Read full chapter

(A)Tokiryanga na mugaati omuzimbulukuse. Onoomalanga ennaku musanvu ng’emigaati gy’olya si mizimbulukuse, gye migaati egy’okulaba ennaku, kubanga mu Misiri wavaayo mu bwangu, bw’otyo olyokenga ojjukirenga, mu nnaku zonna ez’obulamu bwo, olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri. (B)Tewaabeerengawo asangibwa na kizimbulukusa mu nsi yo yonna okumalanga ennaku musanvu. Ennyama gy’onooteekateekanga, ey’ekiweebwayo, akawungeezi ku lunaku olw’olubereberye teesigalengawo kutuusa nkeera.

Read full chapter

(A)Noolwekyo tulye embaga si na kizimbulukusa eky’edda, newaakubadde ekizimbulukusa eky’ettima n’ekibi, naye tugirye n’omugaati ogutaliimu kizimbulukusa nga gulimu obulongoofu n’amazima.

Read full chapter