Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
114 (A)Isirayiri bwe yava mu Misiri,
abaana ba Yakobo abo, ne bava mu bantu abaayogeranga olulimi olutali lwabwe;
2 Yuda n’afuuka omutukuvu wa Katonda,
Isirayiri n’afuuka amatwale ge.
3 (B)Ennyanja bwe yabalaba n’edduka;
Omugga Yoludaani ne gudda emabega.
4 Ensozi ne zibuukabuuka ng’endiga zisseddume,
n’obusozi obutono ng’obuliga obuto.
5 Ggwe ennyanja, lwaki wadduka?
Ggwe Yoludaani, lwaki wadda emabega?
6 Mmwe ensozi, lwaki mwabuukabuuka ng’endiga zisseddume,
nammwe obusozi obutono ng’obuliga obuto?
Oluyimba lwa Miryamu
19 (A)Embalaasi za Falaawo, n’amagaali ge, ne basajja be abeebagadde embalaasi bwe baayingira mu nnyanja, Mukama n’akomyawo amazzi ag’ennyanja ne gabasaanikira; naye nga bo abaana ba Isirayiri batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja. 20 (B)Awo Miryamu, nnabbi omukazi era mwannyina wa Alooni, n’akwata ekitaasa; n’abakazi abalala ne bamugoberera nga balina ebitaasa era nga bwe bazina. 21 (C)Miryamu n’abayimbira bw’ati nti,
“Muyimbire Mukama,
kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi.
Asudde mu nnyanja
embalaasi n’agyebagadde.”
7 (A)Era bwe musabanga temuddiŋŋananga mu bigambo oba okwogera ebigambo enkumu ng’abatamanyi Katonda bwe bakola nga balowooza nti Bwe banaddiŋŋana mu bigambo emirundi n’emirundi okusaba kwabwe lwe kunaddibwamu. 8 (B)Kale temubafaanananga, kubanga Kitammwe amanyidde ddala byonna bye mwetaaga ne bwe muba nga temunnamusaba.”
9 Noolwekyo mumusabenga bwe muti nti,
Kitaffe ali mu ggulu,
Erinnya Lyo litukuzibwe.
10 (C)Obwakabaka bwo bujje.
By’oyagala bikolebwe mu nsi,
nga bwe bikolebwa mu ggulu.
11 (D)Otuwenga emmere yaffe eya buli lunaku.
12 (E)Tusonyiwe ebyonoono byaffe
nga naffe bwe tusonyiwa abatwonoona.
13 (F)Totuganya kukemebwa
naye tulokole eri omubi.[a]
14 (G)“Kubanga bwe munaasonyiwanga ababasobezza, nammwe Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga. 15 (H)Naye bwe mutaasonyiwenga bannammwe, nammwe Kitammwe ali mu ggulu taabasonyiwenga.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.