Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 121

Oluyimba nga balinnya amadaala.

121 Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,
    okubeerwa kwange kuva wa?
(A)Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
    eyakola eggulu n’ensi.

Taliganya kigere kyo kusagaasagana;
    oyo akukuuma taabongootenga.
Laba, oyo akuuma Isirayiri
    taabongootenga so teyeebakenga.

(B)Mukama ye mukuumi wo;
    Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;
(C)emisana enjuba teekwokyenga,
    wadde omwezi ekiro.

(D)Mukama anaakukuumanga mu buli kabi;
    anaalabiriranga obulamu bwo.
(E)Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda,
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Okuva 13:1-10

Okutukuza Ebibereberye

13 Awo Mukama n’agamba Musa nti, (A)“Ebibereberye byonna binjawulireko. Abaana abaggulanda mu Isirayiri yonna banaabanga bange; n’ebisolo ebiggulanda nabyo binaabanga byange.”

Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse

(B)Awo Musa n’agamba abantu nti, “Mujjukiranga olunaku luno, olunaku lwe mwaviirako mu Misiri, ensi gye mwafugibwanga ng’abaddu, kubanga Mukama yabaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi. Temuliirangako mugaati gulimu kizimbulukusa. (C)Ku lunaku lwa leero olw’omwezi guno Abibu, lwe musitudde okuva mu Misiri. (D)Mukama bw’alimala okubatuusa mu nsi y’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli; n’ey’Abakiivi, n’Abayebusi, ensi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, mukwatanga omukolo guno mu mwezi guno. (E)Mumalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egitaliimu kizimbulukusa, ne ku lunaku olw’omusanvu kwe munaakoleranga embaga ya Mukama. Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu; tewabangawo alabika n’omugaati omuzimbulukuse, wadde ekizimbulukusa okusangibwa nammwe mu nsi yammwe. (F)Ku lunaku olwo mulitegeeza abaana bammwe nti, ‘Tukola tuti nga tujjukira ebyo Mukama bye yatukolera nga tuva mu Misiri.’ (G)Omukolo guno gunaababeereranga ng’akabonero ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati w’amaaso gammwe, okubajjukizanga etteeka lya Mukama eritaavenga ku mimwa gyammwe. Kubanga Mukama yabaggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi. 10 (H)Noolwekyo onookolanga ekiragiro kino bye kigamba, mu kiseera kyakyo buli mwaka, buli mwaka.

Matayo 21:18-22

Omuti Ogwawotoka

18 Awo enkeera bwe yali ng’addayo mu kibuga n’alumwa enjala, 19 (A)n’alengera omutiini ku mabbali g’ekkubo, n’agutuukako n’atasangako ttiini okuggyako amakoola ameereere. N’agugamba nti, “Toddangayo okubala ebibala.” Amangwago omuti ne guwotoka.

20 Abayigirizwa bwe baakiraba ne beewuunya ne beebuuza nti, “Omutiini guwotose gutya amangu?”

21 (B)Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti bw’oba n’okukkiriza nga tobuusabuusa, oyinza okukola ekiri nga kino n’ebisingawo. Oyinza n’okulagira olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ ne kibaawo. 22 (C)Buli kye munaasabanga nga mukkiriza, munaakiweebwanga.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.