Add parallel Print Page Options

30 (A)Omuntu bw’anattanga munne, ne wabaawo obujulizi, omutemu oyo naye anaafanga. Naye tewaabengawo attibwa ku bujulizi obw’omuntu omu yekka.

Read full chapter

(A)Omuntu anattibwanga nga wamaze kulabikawo obujulizi bw’abantu babiri oba basatu, naye omuntu tattibwenga ku bujulizi bw’omuntu omu yekka.

Read full chapter

Etteeka ku Bajulizi

15 (A)Omujulizi omu taamalenga, okusinzisa omuntu omusango gw’anaabanga azzizza, oba olw’ekikolwa ekibi ky’anaabanga akoze nga kyekuusa ku musango gw’anaabanga azzizza. Wanaamalanga kubeerawo obujulizi bw’abantu babiri oba basatu, olwo nno ekivunaanwa omuntu oyo ne kiryoka kinywezebwa.

Read full chapter

17 (A)Amateeka gammwe gagamba nti ssinga abajulirwa babiri bakkiriziganya ku kintu, obujulirwa bwabwe buba bwa mazima.

Read full chapter

Okulabula Okusembayo

13 (A)Omulundi guno gwe nzija gye muli gwe gwokusatu. Buli kigambo kirikakasibwa abajulirwa babiri oba basatu nga boogedde.

Read full chapter

19 (A)Tokkirizanga ebyo bye bavunaana omukulembeze okuggyako nga biriko abajulirwa babiri oba basatu.

Read full chapter

28 (A)Omuntu yenna eyajeemeranga amateeka ga Musa yattibwanga awatali kusaasirwa, bwe waabangawo abajulirwa babiri oba basatu abamulumiriza.

Read full chapter