2 Abakkolinso 2:1-4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Kino nakimalirira munda mu nze obutakomawo nate eyo nneme okubanakuwaza. 2 (B)Kubanga bwe nnaabanakuwaza, ani anansanyusa wabula oyo gwe nnaanakuwaza? 3 (C)Kyennava mbawandiikira ebyo byennyini bwe ndijja nneme kunakuwazibwa abo abandinsanyusizza, nga nnesiga nti essanyu lyange lye lyammwe mwenna. 4 (D)Nabawandiikira wakati mu kubonaabona okungi n’okunyolwa mu mutima, era nga nkaaba amaziga mangi, si lwa kubanakuwaza, naye mutegeere okwagala okungi ennyo kwe nnina gye muli.
Read full chapter
1 Abakkolinso 4:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)Kiruwa kye mwagala? Nzije n’omuggo, oba nzije na kwagala n’omwoyo ogw’obuwombeefu?
Read full chapter
1 Abakkolinso 1:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 Abooluganda, ab’ewa Kuloowe bannyinnyonnyola nti mu mmwe mulimu ennyombo.
Read full chapter
1 Abakkolinso 3:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)kubanga mukyafugibwa mubiri. Naye obanga mukyalimu obuggya n’ennyombo, temufugibwa mubiri era temutambula ng’abalina empisa z’abantu obuntu?
Read full chapter
Abaggalatiya 5:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu,
Read full chapter
Abaruumi 1:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)Bajjuzibbwa obutali butuukirivu bwonna, n’ebibi, n’omululu, n’obukyayi, n’obuggya, n’obussi, n’entalo, n’obulimba, n’enkwe, n’okwogera ebitasaana, nga basala ku bannaabwe ebigambo,
Read full chapter
1 Abakkolinso 14:33
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
33 (A)kubanga Katonda si wa luyoogaano, wabula wa mirembe.
Kale nga bwe kiri mu Kkanisa z’abatukuvu zonna,
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.