Menu
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
account
Welcome to the new Bible Gateway. Take a quick tour and see what’s new.
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
Verse of the Day by email. Sign up free.
  • Read
    • Reading Plans
    • Advanced Search
    • Available Versions
    • Audio Bibles
  • Study
    • Scripture Engagement
    • More Resources
  • News
  • Explore
    • Newsletters
    • Devotionals
    • Bible Gateway App
    • Bible Audio App
    • Take a Tour
  • Store
    • Bibles
    • Deals
    • More
  • Bible Gateway Plus
LCB
Version
Bible Books Bible Books
LCB
Version
Read
Study
News
Explore
Store
Bible Gateway Plus
Light Mode Dark Mode
Font Size
Log In show menu
Previous Next
Print PrintSettingsSettingsShare ShareParallelParallelExpandExpandCollapse

1 Abakkolinso 3  Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Okwawukana mu Kkanisa

3 (A)Nange abooluganda ssaasobola kwogera nammwe ng’ab’omwoyo, naye nayogera nammwe ng’ab’omubiri era ng’abaana abawere mu Kristo. 2 (B)Nabanywesa mata so si mmere enkalubo, kubanga mwali temunnagisobola. Naye era ne kaakano temunnagisobola, 3 (C)kubanga mukyafugibwa mubiri. Naye obanga mukyalimu obuggya n’ennyombo, temufugibwa mubiri era temutambula ng’abalina empisa z’abantu obuntu? 4 (D)Kubanga omuntu yenna bw’agamba nti, “Nze ndi wa Pawulo,” n’omulala nti, “Nze ndi wa Apolo,” olwo temuba ng’abantu obuntu?

5 Kale Apolo ye ani? Ne Pawulo ye ani? Baweereza buweereza ababakkirizisa, nga Mukama bwe yawa buli omu. 6 (E)Nze nasiga, Apolo n’afukirira, kyokka Katonda ye yakuza. 7 Kale bwe kityo oyo asiga n’oyo afukirira si be bakulu wabula Katonda akuza. 8 (F)Oyo asiga kaakano n’oyo afukirira bali bumu, era buli omu aliweebwa empeera ye okusinziira ku mulimu gw’aliba akoze. 9 (G)Kubanga ffe tuli bakozi abakolera awamu ne Katonda, ate mmwe muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda.

10 (H)Okusinziira ku kisa kya Katonda ekya mpeebwa, ng’omuzimbi ow’amagezi, nazimba omusingi, kaakano omulala aguzimbako. Naye buli aguzimbako yeegenderezenga bw’aguzimbako. 11 (I)Kubanga tewali n’omu ayinza kuteekawo musingi mulala okuggyako ogwo ogwateekebwawo, ye Yesu Kristo. 12 Naye Omuntu bw’aguzimbisaako ezaabu, effeeza, n’amayinja ag’omuwendo n’emiti, n’essubi, oba ebisasiro; 13 (J)omulimu gwa buli omu gulirabibwa, kubanga omuliro guligwolesa ku lunaku olwo, era omuliro ogwo gwe gulyoreka omulimu gwa buli omu nga bwe guli. 14 Omuntu kye yazimba ku musingi ogwo bwe kirisigalawo, aliweebwa empeera. 15 (K)Naye omulimu gw’omuntu yenna bwe gulyokebwa omuliro, alifiirwa, kyokka ye yennyini alirokolebwa, naye ng’ayita mu muliro.

16 (L)Temumanyi nti mmwe muli yeekaalu ya Katonda era nga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe? 17 Omuntu yenna azikiriza Yeekaalu ya Katonda, Katonda alizikiriza omuntu oyo; kubanga Yeekaalu ya Katonda ntukuvu, ye mmwe.

18 (M)Omuntu yenna teyeerimbalimbanga; omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino afuukenga musirusiru alyoke abeere omugezi. 19 (N)Kubanga amagezi ag’ensi eno, bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Akwatira abagezi mu nkwe zaabwe.” 20 (O)Era kyawandiikibwa nti, “Mukama amanyi ng’ebirowoozo by’abagezi temuli nsa.” 21 (P)Noolwekyo waleme kubaawo muntu n’omu yeenyumiririza mu bantu, kubanga byonna byammwe, 22 (Q)oba Pawulo oba Apolo oba Keefa oba nsi, oba bulamu, oba kufa, oba bintu ebya kaakano, oba ebijja, byonna byammwe, 23 (R)nammwe muli ba Kristo, ne Kristo wa Katonda.

Cross references

  1. 3:1 : a 1Ko 2:15 b Bar 7:14; 1Ko 2:14 c Beb 5:13
  2. 3:2 : a Beb 5:12-14; 1Pe 2:2 b Yk 16:12
  3. 3:3 : 1Ko 1:11; Bag 5:20
  4. 3:4 : 1Ko 1:12
  5. 3:6 : Bik 18:4-11
  6. 3:8 : Zab 62:12
  7. 3:9 : a 2Ko 6:1 b Is 61:3 c Bef 2:20-22; 1Pe 2:5
  8. 3:10 : a Bar 12:3 b Bar 15:20
  9. 3:11 : Is 28:16; Bef 2:20
  10. 3:13 : a 1Ko 4:5 b 2Bs 1:7-10
  11. 3:15 : Yud 23
  12. 3:16 : 1Ko 6:19; 2Ko 6:16
  13. 3:18 : Is 5:21; 1Ko 8:2
  14. 3:19 : a 1Ko 1:20, 27 b Yob 5:13
  15. 3:20 : Zab 94:11
  16. 3:21 : a 1Ko 4:6 b Bar 8:32
  17. 3:22 : a 1Ko 1:12 b Bar 8:38
  18. 3:23 : 1Ko 15:23; 2Ko 10:7; Bag 3:29
Next
1 Abakkolinso 2
1 Abakkolinso 4
Next
dropdown
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo

Font Size

Font Size

Dark Mode

Light Mode Dark Mode

About

  • About
  • Learn About the Bible
  • Statement of Faith
  • Mobile App
  • Store
  • Blog
  • Newsroom
  • Support Us

Help

  • FAQs
  • Tutorials
  • Use Bible Gateway on Your Site
  • Advertise with us
  • Contact us
  • Privacy policy
  • California Privacy Rights
  • Do Not Sell My Personal Information
  • Site: Terms of use
  • Widget: Terms of use

Our Network

  • FaithGateway
  • StudyGateway
  • ChurchSource
  • HarperCollins Christian Publishing
  • Grupo Nelson
  • Editorial Vida
  • Thomas Nelson
  • WestBow Press
  • Zondervan
  • MasterLectures

Social

  • Facebook
  • Instagram
  • Pinterest
  • TikTok
  • X
  • YouTube

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway
Sign Up for Bible Gateway: News & Knowledge
Get weekly Bible news, info, reflections, and deals in your inbox.

By submitting your email address, you understand that you will receive email communications from Bible Gateway, operated by HarperCollins Christian Publishing, 501 Nelson Pl, Nashville, TN 37214 USA, including commercial communications and messages from partners of Bible Gateway. You may unsubscribe from Bible Gateway’s emails at any time. If you have any questions, please review our Privacy Policy or email us at privacy@biblegateway.com.

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway