Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
106 (A)Mumutendereze Mukama!
Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.
2 (B)Ani ayinza okwogera ku bikulu Mukama by’akola n’abimalayo,
oba okumutendereza obulungi nga bw’asaanira?
3 (C)Balina omukisa abalina obwenkanya,
era abakola ebituufu bulijjo.
4 (D)Onzijukiranga, Ayi Mukama, bw’obanga okolera abantu bo ebirungi;
nange onnyambe bw’olibalokola,
5 (E)ndyoke neeyagalire wamu n’abalonde bo nga bafunye ebirungi,
nsanyukire wamu n’eggwanga lyo,
era ntendererezenga mu bantu bo.
6 (F)Twonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola;
tukoze ebibi ne tusobya nnyo.
19 (A)Bwe baali e Kolebu ne beekolera ennyana;
ne basinza ekifaananyi ekyo kye baakola mu byuma bye baasaanuusa.
20 (B)Ekitiibwa kya Katonda
ne bakiwaanyisaamu ekibumbe ekifaanana ente erya omuddo.
21 (C)Ne beerabira Katonda eyabanunula,
eyabakolera ebintu ebikulu bwe bityo mu Misiri,
22 (D)ebyamagero bye yabakolera mu nsi ya Kaamu,
n’ebikolwa eby’entiisa ku Nnyanja Emyufu.
23 (E)N’agamba nti,
Ajja kubazikiriza.
Naye Musa, omulonde we, n’ayimirira mu maaso ge
n’amwegayirira, obusungu bwe ne bumuggwaako n’atabazikiriza.
9 (A)Awo Musa ne Alooni, ne Nadabu, ne Abiku, n’abakulembeze ba Isirayiri ensanvu, ne bambuka; 10 (B)ne balaba Katonda wa Isirayiri. Wansi w’ebigere bye nga waliwo ng’omwaliiro ogw’amayinja ga safiro, agalabika obulungi ng’eggulu eritaliiko bire. 11 (C)Naye Katonda teyakola kabi konna ku bakulembeze ba Isirayiri abo; Katonda baamulaba, ne balya era ne banywa.
4 (A)Mmwe abenzi temumanyi ng’okuba mikwano gy’ensi bulabe eri Katonda? Noolwekyo omuntu yenna bw’alondawo okuba mukwano gw’ensi afuuka mulabe wa Katonda. 5 Oba mulowooza nti Ekyawandiikibwa tekiba na makulu bwe kigamba nti, “Omwoyo gwe yassa mu ffe, atulabirira n’okwagala okujjudde obuggya”? 6 (B)Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti,
“Katonda alwana n’ab’amalala
naye abawombeefu abawa ekisa.”
7 (C)Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga. 8 (D)Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga. 9 (E)Mukungubage, mukube ebiwoobe era mukaabe. Okuseka kwammwe kufuuke okukungubaga, n’essanyu lifuuke okunakuwala. 10 Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.