Okubikkulirwa 17:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Bakabaka ab’oku nsi bayenda naye n’abantu ab’oku nsi banywa omwenge ogw’obwenzi bwe ne batamiira.”
Read full chapter
Okubikkulirwa 17:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Omukazi yali ayambadde engoye bbiri olugoye olumyufu n’olwa kakobe era ng’alina n’ebintu ebirala eby’omuwendo, nga zaabu n’amayinja ag’omuwendo, era ng’akutte mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu nga kijjudde eby’omuzizo byonna eby’obwenzi bwe.
Read full chapter
Okubikkulirwa 18:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Bakaaba nga balaba omukka oguva mu muliro ogumwokya, nga gwambuka, nga bwe bagamba nti, ‘Ekibuga ekiri nga kino kirirabika wa nate?’
Read full chapter
Okubikkulirwa 19:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Ate ne boogera ogwokubiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
“Aleruuya!
Omukka ogw’okwokebwa kwe n’omuliro, gunyooka emirembe n’emirembe!”
Ezeekyeri 26:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Balikukungubagira ne bakugamba nti,
“ ‘Ng’ozikiriziddwa, ggwe ekibuga ekyatutumuka,
ekyabeerangamu abantu abalunnyanja.
Wali wa maanyi ku nnyanja, ggwe n’abantu bo,
watiisatiisanga bonna abaabeeranga ku lubalama lw’ennyanja.
Ezeekyeri 26:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Kaakano olubalama lw’ennyanja
lukankana ku lunaku olw’okugwa kwo,
era n’ebizinga ebiri mu nnyanja
bitidde olw’okugwa kwo.’
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.