Menu
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
account
One verse. Every morning. Get the free Verse of the Day email.
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
Finding your way around? Take the tour.
  • Read
    • Reading Plans
    • Advanced Search
    • Available Versions
    • Audio Bibles
  • Study
    • Scripture Engagement
    • More Resources
  • News
  • Explore
    • Newsletters
    • Devotionals
    • Bible Gateway App
    • Bible Audio App
    • Take a Tour
  • Store
    • Bibles
    • Deals
    • More
  • Bible Gateway Plus
LCB
Version
Bible Books Bible Books
LCB
Version
Read
Study
News
Explore
Store
Bible Gateway Plus
Light Mode Dark Mode
Font Size
Log In show menu
Previous Next
Print PrintSettingsSettingsShare ShareParallelParallelExpandExpandCollapse

Ezeekyeri 26  Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Obunnabbi ku Ttuulo

26 Awo olwatuuka mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ku lunaku olw’olubereberye mu mwezi, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 (A)“Omwana w’omuntu, kubanga Ttuulo yakuba mu ngalo n’ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Otyo! Omulyango ogw’amawanga gumenyeddwa, era n’enzigi zinzigguliddwa kaakano nga bw’afuuse amatongo, ndigaggawala,’ 3 (B)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nkuvunaana ggwe Ttuulo, ndiyimusa amawanga mangi gakulumbe, ng’ennyanja bw’esitula amayengo gaayo. 4 (C)Balimenya bbugwe wa Ttuulo, ne basuula n’emirongooti gye, era ndiggyawo ebifunfugu bye byonna ne mmufuula olwazi olwereere. 5 (D)Wakati mu nnyanja alibeera ekifo eky’okwanjulurizangamu obutimba obw’ebyennyanja, kubanga nze njogedde bw’ayogera Mukama Katonda. Alifuuka omunyago ogw’amawanga, 6 era ebifo bye eby’oku lukalu kw’abeera birimalibwawo ekitala. Olwo balimanya nga nze Mukama.

7 (E)“Era Mukama Katonda agamba nti, ‘Ndiweereza Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni kabaka wa bakabaka, eri Ttuulo okuva mu bukiikakkono, ng’alina embalaasi n’amagaali, n’abeebagala embalaasi n’eggye eddene. 8 (F)Alitta n’ekitala abatuuze bo ababeera ku lukalu, era alizimba ebigo okukwolekera, n’ateekawo n’ebitindiro okutuuka ku bbugwe wo n’akwolekeza n’engabo. 9 Alitunuza ebintu bye ebitomera eri bbugwe wo, n’amenyaamenya emirongooti gyo n’ebyokulwanyisa bye. 10 (G)Embalaasi ze ziriba nnyingi nnyo, n’enfuufu yaazo erikubikka era ne bbugwe wo alinyeenyezebwa olw’amaloboozi g’embalaasi ennwanyi, n’olw’ebiwalulibwa n’amagaali bw’aliyingira mu wankaaki wo, ng’abasajja bwe bayingira mu kibuga, nga bbugwe waakyo abotoddwamu ekituli. 11 (H)Embalaasi ze ziririnyirira enguudo zo; n’abantu bo alibatta n’ekitala era n’empagi zo ez’amaanyi zirisuulibwa ku ttaka. 12 (I)Balinyaga obugagga bwo ne babba n’ebyamaguzi byo; balimenya bbugwe wo ne basaanyaawo n’ennyumba zo ennungi, n’amayinja go n’embaawo zo era n’ebifunfugu birisuulibwa wakati mu nnyanja. 13 (J)Ndikomya okuyimba kwo, era n’amaloboozi ag’ennanga zo tegaliwulirwa nate. 14 (K)Ndikufuula olwazi olwereere, era olibeera ekifo eky’okwanjulurizangamu obutimba obw’ebyennyanja. Tolizimbibwa nate, kubanga nze Mukama njogedde, bw’ayogera Mukama Katonda.’ 

15 (L)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri Ttuulo nti, Ebifo ebiri ku lubalama lw’ennyanja tebirikankana olw’okubwatuka olw’okugwa kwo, abaliba balumizibbwa bwe balisinda, n’abalala ne battibwa wakati mu ggwe? 16 (M)Olwo abalangira bonna ab’oku lukalu lw’ennyanja baliva ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka ne bambulamu ebyambalo byabwe ne baggyako n’engoye zaabwe ez’emiddalizo. Mu kutya okungi, balituula wansi ku ttaka, nga bakankana buli kaseera nga basamaaliridde. 17 (N)Balikukungubagira ne bakugamba nti,

“ ‘Ng’ozikiriziddwa, ggwe ekibuga ekyatutumuka,
    ekyabeerangamu abantu abalunnyanja.
Wali wa maanyi ku nnyanja, ggwe n’abantu bo,
    watiisatiisanga bonna abaabeeranga ku lubalama lw’ennyanja.
18 (O)Kaakano olubalama lw’ennyanja
    lukankana ku lunaku olw’okugwa kwo,
era n’ebizinga ebiri mu nnyanja
    bitidde olw’okugwa kwo.’

19 (P)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Bwe ndikufuula ekibuga ekirimu ebifulukwa, ng’ebibuga ebitakyabaamu bantu era bwe ndikuyimusizaako obuziba bw’ennyanja, n’amazzi gaayo ne gakubikka, 20 (Q)kale ndikussa wansi ng’abo abagenda mu bunnya eri abaafa edda. Olibeera wansi mu ttaka, mu bifo ebyazika edda ennyo, n’abo abaserengeta mu bunnya, so tojja kudda wadde okufuna ekifo mu nsi ya balamu. 21 (R)Ndikutuusa ku nkomerero embi, so toliwulirwa nate. Balikunoonya, naye toliddayo kulabika,’ bw’ayogera Mukama Katonda.”

Cross references

  1. 26:2 : a 2Sa 5:11; Is 23 b Ez 25:3
  2. 26:3 : Is 5:30; Yer 50:42; 51:42
  3. 26:4 : a Is 23:1, 11 b Am 1:10
  4. 26:5 : a Ez 27:32 b Ez 29:19
  5. 26:7 : a Yer 27:6 b Ezr 7:12; Dan 2:37 c Ez 23:24; Nak 2:3-4
  6. 26:8 : a Yer 6:6 b Ez 21:22
  7. 26:10 : Yer 4:13
  8. 26:11 : a Is 5:28 b Yer 43:13 c Is 26:5
  9. 26:12 : Is 23:8; Ez 27:3-27; 28:8
  10. 26:13 : a Yer 7:34 b Is 14:11 c Yer 25:10; Kub 18:22
  11. 26:14 : Yob 12:14; Mal 1:4
  12. 26:15 : a Ez 27:35 b Yer 49:21
  13. 26:16 : a Yob 8:22 b Kos 11:10 c Ez 32:10
  14. 26:17 : a Ez 19:1; 27:32 b Is 14:12
  15. 26:18 : Is 23:5; 41:5; Ez 27:35
  16. 26:19 : Is 8:7-8
  17. 26:20 : a Ez 32:18; Am 9:2; Yon 2:2, 6 b Ez 32:24, 30
  18. 26:21 : Ez 27:36; 28:19; Kub 18:21
Next
Ezeekyeri 25
Ezeekyeri 27
Next
dropdown
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo

Font Size

Font Size

Dark Mode

Light Mode Dark Mode

About

  • About
  • Learn About the Bible
  • Statement of Faith
  • Mobile App
  • Store
  • Blog
  • Newsroom
  • Support Us

Help

  • FAQs
  • Tutorials
  • Use Bible Gateway on Your Site
  • Advertise with us
  • Contact us
  • Privacy policy
  • California Privacy Rights
  • Do Not Sell My Personal Information
  • Site: Terms of use
  • Widget: Terms of use

Our Network

  • FaithGateway
  • StudyGateway
  • ChurchSource
  • HarperCollins Christian Publishing
  • Grupo Nelson
  • Editorial Vida
  • Thomas Nelson
  • WestBow Press
  • Zondervan
  • MasterLectures

Social

  • Facebook
  • Instagram
  • Pinterest
  • TikTok
  • X
  • YouTube

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway
Sign Up for Bible Gateway: News & Knowledge
Get weekly Bible news, info, reflections, and deals in your inbox.

By submitting your email address, you understand that you will receive email communications from Bible Gateway, operated by HarperCollins Christian Publishing, 501 Nelson Pl, Nashville, TN 37214 USA, including commercial communications and messages from partners of Bible Gateway. You may unsubscribe from Bible Gateway’s emails at any time. If you have any questions, please review our Privacy Policy or email us at privacy@biblegateway.com.

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway