Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya Dawudi. Bwe yeefuula okuba omugu w’eddalu mu maaso ga Abimereki, oluvannyuma eyamugoba, era naye n’amuviira.
34 (A)Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera,
akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo.
2 (B)Omwoyo gwange guneenyumiririzanga mu Mukama;
ababonyaabonyezebwa bawulire bajaguzenga.
3 (C)Kale tutendereze Mukama,
ffenna tugulumizenga erinnya lye.
4 (D)Nanoonya Mukama, n’annyanukula;
n’ammalamu okutya kwonna.
5 (E)Abamwesiga banajjulanga essanyu,
era tebaaswalenga.
6 Omunaku ono yakoowoola Mukama n’amwanukula,
n’amumalako ebyali bimuteganya byonna.
7 (F)Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama,
n’abawonya.
8 (G)Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi!
Balina omukisa abaddukira gy’ali.
9 (H)Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be,
kubanga abamutya tebaajulenga.
10 (I)Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi;
naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako.
11 (J)Mujje wano baana bange, mumpulirize;
mbayigirize okutya Mukama.
12 (K)Oyagala okuwangaala mu bulamu obulungi,
okuba mu ssanyu emyaka emingi?
13 (L)Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana,
n’akamwa ko kaleme okwogera eby’obulimba.
14 (M)Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi;
noonya emirembe era ogigobererenga.
15 (N)Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu,
n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.
16 (O)Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi,
okubasaanyizaawo ddala n’obutaddayo kujjukirwa ku nsi.
17 (P)Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira
n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.
18 (Q)Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.
5 (A)Era Mukama, Mukama ow’Eggye,
akwata ku nsi n’esaanuuka,
abantu baayo bonna abagibeeramu ne bakungubaga,
ensi yonna n’etumbiira nga Kiyira
ate n’ekka ng’amazzi g’omugga gw’e Misiri;
6 (B)oyo eyazimba olubiri lwe olulungi ennyo mu ggulu,
omusingi gwalwo ne gubeera ku nsi,
ayita amazzi g’ennyanja,
n’agayiwa wansi ku lukalu,
Mukama lye linnya lye.
7 (C)Mukama ayongera n’agamba nti,
“Mmwe abaana ba Isirayiri temuli ng’Abakuusi gye ndi?
Ssabaggya mu nsi y’e Misiri
nga bwe naggya Abafirisuuti e Katufoli,
n’Abasuuli e Kiri?”
Essuubi lya Isirayiri
8 (D)“Ddala ddala amaaso ga Mukama Katonda,
gatunuulidde nkaliriza obwakabaka obwonoonyi.
Ndibuzikiriza ne mbusaasaanya
okuva ku nsi.
Kyokka sirizikiririza ddala
ennyumba ya Yakobo okugimalawo,”
bw’ayogera Mukama.
9 (E)“Kubanga ndiwa ekiragiro,
ennyumba ya Isirayiri erinyeenyezebwa
mu mawanga gonna,
ng’emmere ey’empeke bwe kuŋŋutibwa mu kakuŋŋunta
era tewaliba kayinja akaligwa wansi.
10 (F)Aboonoonyi bonna mu bantu bange,
balifa kitala,
abo bonna aboogera nti,
‘Akabi tekalitutuukako.’ ”
Isirayiri edda obuggya
11 (G)“Mu biro ebyo ndizzaawo
ennyumba ya Dawudi eyagwa
era ndiddaabiriza ebifo ebyamenyebwamenyebwa,
ne nzizaawo ebyali amatongo,
ne biba nga bwe byabeeranga,
12 (H)balyoke batwale ekitundu kya Edomu ekyasigalawo
n’amawanga gonna ge nayita okuba abantu bange,”
bw’ayogera Mukama alikola ebintu ebyo byonna.
13 (I)“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,
“akungula lw’alisinga asiga,
n’asiga ensigo lw’alisinga atunda emizabbibu.
Wayini omuggya alitonnya okuva mu nsozi,
n’akulukuta okuva mu busozi.
14 (J)Ndikomyawo abantu bange Isirayiri okuva mu buwaŋŋanguse,
ne bazimba nate ebibuga ebyamenyebwa, babibeeremu.
Balisimba ennimiro zaabwe ez’emizabbibu ne banywa wayini avaamu,
era balisimba ennimiro balye ebibala byamu.
15 (K)Ndisimba Isirayiri mu nsi yaabwe,
era tebaliggibwa nate
mu nsi gye nabawa,”
bw’ayogera Mukama Katonda wammwe.
13 (A)Abooluganda, mmanyi nti sinnakifuna, naye kye nkola kwe kwerabira ebyo ebiri emabega ne nduubirira ebyo ebiri mu maaso. 14 (B)Nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey’okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu.
15 (C)Noolwekyo ffe ffenna abatuukiridde ekyo kye tusaana okulowoozanga, naye obanga mulowooza bulala, na kino Katonda alikibabikkulira. 16 Naye ka tunywerere ku ekyo kye tutuuseeko.
17 (D)Kale, abooluganda, mwegatte n’abo abangoberera era mugobererenga abo abatambulira mu ebyo bye twabalaga. 18 (E)Ekyo newaakubadde nkibabuulidde emirundi emingi, nkiddamu nga nkaaba n’amaziga, nti waliwo abalabe b’omusaalaba gwa Kristo, 19 (F)era ekibalindiridde kwe kuzikirira, kubanga okulya kubafuukidde katonda waabwe, ebyo ebyandibakwasizza ensonyi kye kitiibwa kyabwe era balowooza bintu bya mu nsi. 20 (G)Kyokka ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, era Omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo, gye tumulindirira okuva. 21 (H)Kale bw’alijja emibiri gyaffe gino eminafu egifa aligifuula ng’ogugwe ogw’ekitiibwa, ng’akozesa amaanyi okussa ebintu byonna mu buyinza bwe.
Okuyigiriza
4 (I)Kale, baganda bange abaagalwa, era be nnumirirwa omwoyo, mmwe ssanyu lyange era mmwe ngule yange; noolwekyo abaagalwa, muyimirire mu Mukama waffe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.