Revised Common Lectionary (Complementary)
5 (A)Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,
“Bannabbi ababuzaabuza abantu
balangirira nti, ‘Mirembe,’ eri oyo abaliisa,
naye oyo atabaliisa bamuggulako olutalo.
6 (B)Noolwekyo ekiro kiribajjira, awatali kwolesebwa,
n’enzikiza ebajjire awatali kulagulwa.
Enjuba erigwa nga bannabbi balaba,
n’obudde bubazibirire.
7 (C)Abalabi baliswazibwa
n’abalaguzi bakwatibwe ensonyi.
Bonna balibikka amaaso gaabwe
kubanga Katonda tabaanukula.”
8 (D)Naye nze, nzijjudde amaanyi
n’Omwoyo wa Mukama,
okwekaliriza ensonga n’obuvumu,
njasanguze eri Yakobo olw’ebikolwa bye ebibi by’akola,
olw’ekibi kya Isirayiri.
9 (E)Mumpulirize mmwe abakulembeze b’ennyumba ya Yakobo,
Mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri,
Mmwe abanyooma obwenkanya
Ne mukyusa ekituufu ne mukifuula ekikyamu;
10 (F)mmwe abazimbidde Sayuuni ku musaayi,
Ne Yerusaalemi ne mugizimbira ku butali butuukirivu.
11 (G)Abakulembeze be, balya enguzi ne basala omusango nga beekubiira,
bakabona be, baggya ensimbi ku bantu balyoke bayigirize,
ne bannabbi be, baagala okuwa obunnabbi nga bamaze kusasulwa.
Kyokka bajuliza Mukama nga boogera nti,
“Mukama tali naffe?
Tewali kinaatutuukako.”
12 (H)Noolwekyo ku lwammwe,
Sayuuni eririmibwa ng’ennimiro,
ne Yerusaalemi erifuuka ntuumu ya bifunfugu,
n’akasozi okuli yeekaalu kafuuke ng’akabira akakutte.
43 (A)Ayi Katonda, onnejjeereze
omponye eggwanga eritatya Katonda
ondokole mu mikono gy’abantu abalimba, abakola ebibi.
2 (B)Ddala ddala ggwe Katonda, ekigo kyange eky’amaanyi.
Lwaki ondese?
Lwaki ŋŋenda nkaaba
nga nnyigirizibwa omulabe?
3 (C)Kale tuma omusana gwo n’amazima
binnuŋŋamye;
bindeete ku lusozi lwo olutukuvu,
mu kifo mw’obeera.
4 (D)Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda,
eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika.
Weewaawo nnaakutenderezanga n’ennanga,
Ayi Katonda, Katonda wange.
5 (E)Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange?
Lwaki otabusetabuse munda yange?
Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga,
Omulokozi wange era Katonda wange.
9 (A)Abooluganda mujjukire okufuba kwaffe n’okutegana kwaffe; bwe twakolanga emisana n’ekiro tuleme okubazitoowerera, nga tubabuulira Enjiri ya Katonda.
10 (B)Mmwe muli bajulirwa baffe, era ne Katonda akimanyi, nga twali bakkiriza ddala era abatuukirivu abataaliko kya kunenyezebwa, abeeweerayo ddala bwe twali mu mmwe, 11 nga bwe mumanyi nga twali kitaawe wa buli omu ku mmwe nga kitaawe w’abaana bw’abeera eri abaana be, 12 nga tubabuulirira era nga tubagumya mu mwoyo era nga tubaweerako obujulirwa, ne tubakuutira okutambulanga nga musaanira mu maaso ga Katonda, oyo abayita okuyingira mu bwakabaka bwe ye ne mu kitiibwa kye.
13 (C)Naffe kyetuva twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwawulira ekigambo ekiva gye tuli, temwakiwulira ng’ekiva eri abantu wabula ng’ekiva eri Katonda, nga ky’ekigambo kya Katonda kyennyini, ekikolera ne mu mmwe, abakkiriza.
23 Awo Yesu n’ayogera eri ebibiina n’abayigirizwa be ng’agamba nti, 2 (A)“Abawandiisi n’Abafalisaayo batudde ku ntebe ya Musa. 3 Noolwekyo mukole era mwekuume buli kye babagamba wabula temugoberera bikolwa byabwe. Kubanga boogera naye ne batakola bye bagamba. 4 (B)Basiba emigugu emizito ne bagitikka abalala, so nga bo n’okugezaako tebagezaako kukwatako n’engalo yaabwe.
5 (C)“Buli kye bakola bakikola abantu babalabe. Bambala ku mikono gyabwe obusawo[a] omuli ennyiriri eziva mu Byawandiikibwa, ne bawanvuya amatanvuuwa ku byambalo byabwe, agajjukiza abagambala okudda eri Mukama, nga babikola okulaga ababalaba. 6 (D)Baagala nnyo ebifo eby’oku mwanjo ku mbaga, ne mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro. 7 (E)Banyumirwa nnyo okuweebwa ekitiibwa mu butale n’okuyitibwa ‘Labbi.’
8 “Temweyitanga ‘Labbi[b] ,’ kubanga Katonda yekka ye Muyigiriza wammwe, naye mmwe muli baaluganda. 9 (F)Era temuyitanga muntu yenna ku nsi ‘Kitammwe,’ kubanga Katonda ali mu ggulu ye yekka gwe muteekwa okuyita bwe mutyo. 10 Era temuganyanga muntu yenna kubayita ‘bayigiriza,’ kubanga omuyigiriza wammwe ali omu yekka, ye Kristo. 11 (G)Oyo ayagala abantu okumussaamu ekitiibwa. Asaana abeere muweereza waabwe. 12 (H)Naye buli alyegulumiza alikkakkanyizibwa, na buli alyetoowaza aligulumizibwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.