Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 9:1-14

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa okujjukira Okufa kw’Omwana. Zabbuli ya Dawudi.

(A)Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna;
    nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.
(B)Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe.
    Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.

Abalabe bange bazzeeyo emabega,
    beesittadde ne bazikiririra mu maaso go.
(C)Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, n’ensonga zange;
    era otudde ku ntebe yo ey’obwakabaka n’osala omusango mu bwenkanya.
(D)Waboggolera amawanga, n’ozikiriza ababi;
    erinnya lyabwe n’olisangulirawo ddala emirembe n’emirembe.
(E)Abalabe obamaliddewo ddala,
    n’ebibuga byabwe obizikirizza,
    era tewali aliddayo kubijjukira.

(F)Naye Mukama afuga emirembe gyonna;
    era ataddewo entebe ye ey’okusalirako emisango.
(G)Aliramula ensi mu butuukirivu,
    era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya.
(H)Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;
    era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.
10 (I)Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;
    kubanga abakunoonya tobaleka bokka.

11 (J)Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu Sayuuni;
    mutegeeze amawanga gonna by’akoze.
12 (K)Ajjukira n’awoolera eggwanga
    era assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa.

13 (L)Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya,
    onzigye ku miryango gy’okufa.
14 (M)Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu
    mu miryango[a] gy’omuwala wa Sayuuni:
    era njagulizenga mu bulokozi bwo.

Yobu 16:1-21

Yobu Ayanukula

16 Yobu n’addamu nti,

(A)“Mpulidde ebintu bingi ebiri nga bino;
    mwenna muli mikwano gyange egitagasa.
(B)Ebigambo byammwe bingi, tebiikome?
    Kiki ekibaluma ne mutalekeraawo kuwakana?
(C)Nange nandyogedde nga mmwe, singa mmwe mubadde mu kifo kyange;
    nandyogedde ebigambo ebisengeke obulungi ebibanyiga, ne mbanyeenyeza n’omutwe[a] gwange.
Naye akamwa kange kandibazizzaamu amaanyi;
    ebigambo eby’essuubi okuva mu kamwa kange byandibaleetedde eddembe.

“Ate bwe njogera, obulumi bwange tebuwona,
    bwe nsirika era busigalawo.
(D)Mazima ddala, Ayi Katonda, ommazeemu amaanyi;
    osaanyiririzzaawo ddala ennyumba yange yonna.
(E)Onsibye n’onyweza ekinnumiririza ddala,
    obukovvu bwange bwe bukulaga bwe ndi, kirabika ne ku maaso.
(F)Katonda annumba n’obusungu bwe n’anjuzaayuza,
    annumira emba;
    omulabe wange antunuulira nkaliriza n’amaaso ge agafumita.
10 (G)Abantu bayasamya emimwa gyabwe ne bansekerera;
    bankuŋŋaanirako ne bankuba empi ku matama.
11 (H)Katonda ampaddeyo eri omukozi w’ebibi,
    era n’ansuula mu mikono gy’ababi.
12 (I)Nnali bulungi, n’anjuzaamu wakati;
    yankwata ku nsingo n’ammenyamu.
Anfudde ssabbaawa,
13     (J)abakubi b’obusaale banneetoolodde.
Awatali kusaasira, afumita ensigo zange,
    omususa gwange ne guyiika ku ttaka.
14 (K)Annumba, emirundi n’emirundi,
    n’anfubutukirako ng’omulwanyi omuzira.

15 (L)“Neetungidde ebikutiya eby’okukungubagiramu,
    ne nkweka obwenyi bwange mu nfuufu.
16 Nzenna mmyuse amaaso olw’okukaaba,
    ekisiikirize ekikwafu ennyo kyetoolodde amaaso gange,
17 (M)newaakubadde ng’emikono gyange tegirina bibi bye gikoze,
    n’okusaba kwange nga kutukuvu.

18 (N)“Ggwe ensi, tobikka ku musaayi gwange;
    nneme okusirisibwa!
19 (O)Era kaakano omujulirwa wange ali mu ggulu;
    omuwolereza wange ali waggulu nnyo ddala.
20 (P)Mikwano gyange bansekerera,
    amaaso gange nga gakulukusa amaziga eri Katonda.
21 (Q)Ku lw’omuntu, yeegayirira eri Katonda
    ng’omuntu bwe yeegayiririra mukwano gwe.

Matayo 24:45-51

45 (A)“Kale aliwa omuddu omugezi era omwesigwa mukama we gwe yawa obuvunaanyizibwa okulabirira abaddu ab’omu maka ge, n’okubawa emmere mu kiseera ekituufu? 46 (B)Alina omukisa omuddu oyo, mukama we gw’alisanga ng’akola bw’atyo. 47 (C)Ddala ddala mbagamba nti, alimukwasa ebintu bye byonna. 48 Naye obanga omuddu omubi bw’agamba mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange tajja kudda mangu,’ 49 (D)n’adda ku baddu banne, n’abakuba, n’alya, n’anywa n’abatamiivu, okutuusa lw’alidda. 50 Mukama w’omuddu oyo n’akomawo ku lunaku lw’atamusuubidde ne mu kiseera ky’atamanyi, 51 (E)alimubonereza, era omugabo gwe guliba okubeera awamu n’abannanfuusi, eriba okukaaba n’okuluma obujiji.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.