Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 98

Zabbuli.

98 (A)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
    kubanga akoze eby’ekitalo.
Omukono gwe ogwa ddyo,
    era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi.
(B)Mukama ayolesezza obulokozi bwe,
    era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe.
(C)Ajjukidde okwagala kwe okutakoma
    n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri.
Enkomerero z’ensi yonna zirabye
    obulokozi bwa Katonda waffe.

(D)Muyimbire Mukama n’essanyu lingi mwe ensi yonna;
    muyimbe ennyimba mu maloboozi ag’essanyu.
(E)Mutendereze Mukama n’ennanga ez’enkoba;
    n’ennanga ez’enkoba n’amaloboozi ag’okuyimba,
(F)n’amakondeere n’eddoboozi ly’eŋŋombe.
    Muyimbe n’essanyu mu maaso ga Mukama era Kabaka.

(G)Ennyanja eyire ne byonna ebigirimu,
    n’ensi ne byonna ebigirimu bijaguze.
(H)Emigga gikube mu ngalo
    n’ensozi zonna ziyimbire wamu olw’essanyu;
(I)byonna biyimbe mu maaso ga Mukama,
    kubanga ajja okulamula ensi.
Aliramula ensi mu butuukirivu;
    aliramula amawanga mu bwenkanya.

Danyeri 6

Danyeri asuulibwa mu Mpuku y’Empologoma

Daliyo yalonda abaamasaza kikumi mu abiri mu bwakabaka bwonna, (A)era mu abo n’alonda abaabakuliranga basatu, Danyeri nga y’omu ku bo. Abaamasaza baateekebwawo okutegeezanga ng’obwakabaka bwe, bwe bwaddukanyizibwanga, kabaka aleme kufiirizibwa. Era ekyo ne kisanyusa Daliyo. (B)Mu biro ebyo Danyeri n’ayatiikirira nnyo okusinga abakulu abalala bonna n’abaamasaza bonna kubanga yalimu omwoyo omulungi, era kabaka n’ateekateeka okumukuza okuvunaanyizibwanga ensonga zonna z’obwakabaka bwonna. Olwawulira ebyo, abakungu abalala ababiri n’abaamasaza ne basala amagezi okunoonya ensonga ku Danyeri ku nzirukanya ye ey’ebyemirimu egy’obwakabaka, naye ne batayinza kulaba nsonga nkyamu newaakubadde akabi konna, kubanga yali musajja mwesigwa ataalina kwonoona okw’engeri yonna newaakubadde obulagajjavu. (C)Awo abasajja abo ne bayiiya ensonga endala, ne boogera nti, “Tetugenda kulaba nsonga evunaanyisa Danyeri wabula ng’ekwata ku tteeka lya Katonda we.”

(D)Abakungu abo n’abaamasaza kyebaava bagenda bonna eri kabaka mu kibiina ne boogera nti, “Ayi kabaka Daliyo, owangaale! (E)Abakungu bonna, n’abamyuka baabwe, n’abaamasaza, n’abawi b’amagezi ab’oku ntikko, n’abakungu, bateesezza ne bakkiriziganya okusaba kabaka okuteeka etteeka, n’okuwa ekiragiro ekinywevu, nga buli anaasabanga eri katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu ezinaddirira, okuggyako ng’asinza ggwe, ayi kabaka, asuulibwe mu mpuku y’empologoma. (F)Kaakano ayi kabaka teeka etteeka era liwandiikibwe, ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi agatajjulukuka bwe gali, kireme okukyusibwa.”

Awo kabaka Daliyo n’akola etteeka n’alissaako n’omukono gwe. 10 (G)Awo Danyeri bwe yamanya ng’etteeka liwandiikiddwa, n’agenda ewuwe mu nnyumba ye, n’ayambuka mu kisenge kye ekya waggulu ekyalina amadirisa nga goolekedde Yerusaalemi, n’afukamiranga emirundi esatu olunaku, n’asabanga era ne yeebazanga Katonda we nga bwe yakolanga bulijjo. 11 Awo abasajja bali ne bateekateeka okugenda ng’ekibiina ne basanga Danyeri ng’asaba era nga yeegayirira Katonda we. 12 (H)Ne bagenda eri kabaka ne bamujjukiza ekiragiro ne boogera nti, “Ayi kabaka, tewateeka etteeka nga buli anaasabanga katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu eziddirira wabula ng’asinza ggwe, alisuulibwa mu mpuku y’empologoma?”

Kabaka n’addamu nti, “Weewaawo, etteeka bwe liri, ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi bwe gali agatajjulukuka.”

13 (I)Awo ne bagamba nti, “Danyeri omu ku baawaŋŋangusibwa okuva mu Yuda, takussaako mwoyo, ayi kabaka, newaakubadde etteeka ly’owandiise. Asaba eri Katonda we emirundi esatu buli lunaku.” 14 (J)Kabaka bwe yawulira ebigambo ebyo n’anakuwala nnyo, n’agezaako okuwonya Danyeri, era n’amala olunaku lwonna ng’afuba nnyo okumuwonya.

15 (K)Naye abasajja ne bagenda bonna ng’ekibiina eri kabaka ne bamugamba nti, “Jjukira, ayi kabaka, ng’etteeka ery’Abameedi n’Abaperusi kabaka ly’ataddeko omukono, terikyusibwa.”

16 (L)Awo kabaka n’alagira, Danyeri n’aleetebwa, n’asuulibwa mu mpuku y’empologoma. Kabaka n’agamba Danyeri nti, “Nkusabira eri Katonda wo, gw’oweereza bulijjo akulokole!”

17 (M)Ne baleeta ejjinja ne baliteeka ku mulyango gw’empuku, kabaka n’alissaako akabonero ke ye, n’abakungu be ne balissaako obubonero bwabwe, ekigambo kyonna kireme okukyusibwa ku nsonga ya Danyeri. 18 (N)Awo kabaka n’addayo mu lubiri lwe, naye n’atalya kintu na kimu ekiro ekyo, era n’atakkiriza kusanyusibwa, n’otulo ne tumubula.

19 Ku makya ennyo emambya ng’esaze, kabaka n’agolokoka n’ayanguwa okugenda ku mpuku ey’empologoma. 20 (O)Bwe yasembera okumpi ne Danyeri we yali, n’amukoowoola mu ddoboozi ery’ennaku ng’agamba nti, “Danyeri omuddu wa Katonda omulamu, Katonda wo, gw’oweereza bulijjo akuwonyezza empologoma?”

21 (P)Danyeri n’addamu nti, “Wangaala, ayi kabaka. 22 (Q)Katonda wange yatumye malayika we, n’aziba emimwa gy’empologoma zireme okunkolako akabi kubanga nasangiddwa nga sirina musango mu maaso ge. Ate ne mu maaso go sirina musango, ayi kabaka.”

23 (R)Kabaka n’asanyuka nnyo n’alagira Danyeri aggyibwe mu mpuku. Awo Danyeri n’aggyibwa mu mpuku, n’atasangibwako kiwundu na kimu, kubanga yeesiga Katonda we.

24 (S)Awo amangwago kabaka n’alagira, abasajja abaalumiriza Danyeri baleetebwe, era basuulibwe mu mpuku y’empologoma, wamu ne bakyala baabwe n’abaana baabwe. Baali tebanatuuka na ku ntobo y’empuku, empologoma ne zibasinza amaanyi ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna.

25 (T)Awo kabaka Daliyo n’awandiikira abantu bonna, n’amawanga gonna n’abantu ab’ennimi zonna mu nsi yonna nti,

“Emirembe gibeere gye muli!

26 (U)“Nteeka etteeka mu buli kitundu ky’obwakabaka bwange bwonna nga ndagira nti abantu bateekwa okutya n’okussaamu Katonda wa Danyeri ekitiibwa.

“Kubanga ye Katonda omulamu,
    abeerera emirembe gyonna;
n’obwakabaka bwe tebuliggwaawo,
    n’okufuga kwe tekulikoma.
27 (V)Alokola era awonya:
    akola obubonero n’ebyamagero
    mu ggulu ne ku nsi.
Yalokodde Danyeri
    mu mannyo[a] g’empologoma.”

28 (W)Awo Danyeri n’aba n’omukisa mu mirembe gya Daliyo era n’awangaala okutuusa ne mu mirembe gya Kuulo Omuperuzi.

Matayo 17:22-27

22 (A)Ne bakuŋŋaanira mu Ggaliraaya, Yesu n’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu anaatera okuliibwamu olukwe aweebweyo mu mikono gy’abantu 23 (B)abalimutta, kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.” Abayigirizwa be ne banakuwala nnyo.

Omusolo gwa Yeekaalu

24 (C)Bwe baatuuka e Kaperunawumu abasolooza b’omusolo gwa Yeekaalu babiri ne bajja eri Peetero ne bamubuuza nti, “Mukama wammwe tawa musolo?”

25 (D)Peetero n’abaddamu nti, “Awa!”

Peetero n’ayingira mu nnyumba. Naye Yesu n’amwesooka n’amubuuza nti, “Olowooza otya Simooni, bakabaka b’ensi basolooza omusolo ku bantu baabwe abatuuze oba ku bannamawanga be baba bawangudde?”

26 Peetero n’addamu nti, “Basolooza ku bannamawanga.”

Yesu n’amugamba nti, “Kale bannansi bo ba ddembe.” 27 (E)“Naye obutabanyiiza, genda ku nnyanja osuulemu eddobo, ekyennyanja ky’onoosooka okukwasa okyasamye akamwa. Mu kamwa kaakyo onoolabamu esutateri,[a] ozitwale oziweeyo osasule omusolo gwange n’ogugwo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.