Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 23

Zabbuli ya Dawudi.

23 (A)Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
    (B)Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto.
Antwala awali amazzi amateefu.
    (C)Akomyawo emmeeme yange.
Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu
    olw’erinnya lye.
(D)Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;
    kubanga ggwe oli nange.
Oluga lwo n’omuggo gwo
    bye binsanyusa.

(E)Onsosootolera emmere
    abalabe bange nga balaba;
onsiize amafuta ku mutwe,[a]
    ekikompe kyange kiyiwa.
Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nange
    ennaku zonna ez’obulamu bwange;
nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama,
    ennaku zonna.

Isaaya 22:1-8

Obunnabbi Obufa ku Yerusaalemi

22 (A)Obunnabbi obukwata ku Kiwonvu ky’Okwolesebwa:

Kiki ekikutawanya kaakano,
    n’okulinnya n’olinnya waggulu ku busolya,
(B)ggwe ekibuga ekijjudde oluyoogaano,
    ggwe ekibuga eky’amasanyu era eky’ebinyumu?
Abantu bo abattibwa,
    tebaafa kitala newaakubadde okufiira mu lutalo.
Abakulembeze bo bonna baddukidde wamu;
    bawambiddwa awatali kulwana.
Bonna baakwatibwa ne batwalibwa wamu nga basibe,
    kubanga badduka.
(C)Kyenava njogera nti, “Munveeko,
    mundeke nkaabire ddala nnyo.
Temugezaako kunsaasira
    olw’okuzikirizibwa kw’omuwala w’abantu bange.”

(D)Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku
    olw’akatabanguko,
    olw’okulinyirirwa n’entiisa mu Kiwonvu ky’Okwolesebwa;
olunaku olw’okumenya bbugwe,
    n’okukaabirira ensozi.
(E)Eramu ayambalidde omufuko gw’obusaale,
    n’atwala n’abavuzi b’amagaali ge n’embalaasi,
    Kiri[a] asabuukulula engabo.
(F)Ebiwonvu byo ebisinga obulungi bijjudde amagaali,
    n’abeebagala embalaasi bassibbwa ku wankaaki.

(G)Okwerinda kwa Yuda kuggyiddwawo.
    Ku lunaku olwo watunuulira
    ebyokulwanyisa eby’omu Lubiri olw’Ekibira.

1 Peetero 5:1-5

Katonda Talemererwa

(A)Noolwekyo mbulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe, omujulirwa w’okubonaabona kwa Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulirwa. (B)Mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, mukiriisenga nga mukirabirira n’okwagala so si na kwemulugunya, nga mukolerera amagoba ag’obukuusa wabula olw’okujjumbira Katonda. (C)Be mukulembera temubakambuwaliranga wabula mubakulemberenga nga mubalaga ekyokulabirako ekirungi. (D)Era Omusumba Omukulu bw’alikomawo, muliweebwa engule ey’ekitiibwa ekitaliggwaawo.

(E)Mmwe abavubuka, mugonderenga abakulu. Muweerezeganenga mwekka na mwekka n’obuwombeefu kubanga

“Katonda akyawa ab’amalala
    naye abawombeefu abawa omukisa.”

1 Peetero 5:12-14

12 (A)Ebbaluwa eno nzija kugikwasa Sirwano[a], gwe mmanyi nga waaluganda mwesigwa ddala, agibaleetere. Nsuubira nga mbazizzaamu amaanyi mu bbaluwa eno, era nga mbalaze engeri Katonda gy’agabamu ekisa kye ekingi. Ebyo bye mbategeezezza bibayambe okunywerera mu kwagala kwe.

13 (B)Balonde bannammwe mu kkanisa y’e Babulooni, babalamusizza. Ne mutabani wange Makko naye abalamusizza.

14 Mulamusagane n’okwagala okw’Ekikristaayo.

Emirembe gibeerenga mu mmwe mwenna abali mu Kristo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.