Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 23

Zabbuli ya Dawudi.

23 (A)Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
    (B)Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto.
Antwala awali amazzi amateefu.
    (C)Akomyawo emmeeme yange.
Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu
    olw’erinnya lye.
(D)Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;
    kubanga ggwe oli nange.
Oluga lwo n’omuggo gwo
    bye binsanyusa.

(E)Onsosootolera emmere
    abalabe bange nga balaba;
onsiize amafuta ku mutwe,[a]
    ekikompe kyange kiyiwa.
Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nange
    ennaku zonna ez’obulamu bwange;
nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama,
    ennaku zonna.

Isaaya 22:8-14

(A)Okwerinda kwa Yuda kuggyiddwawo.
    Ku lunaku olwo watunuulira
    ebyokulwanyisa eby’omu Lubiri olw’Ekibira.
(B)Walaba amabanga agaali mu kwerinda
    kw’Ekibuga kya Dawudi,
wakuŋŋaanya amazzi
    mu Kidiba eky’Emmanga.
10 Wabala ebizimbe mu Yerusaalemi
    n’omenya amayumba okusobola okunyweza bbugwe.
11 (C)Wasima ekidiba omuterekebwa amazzi wakati w’ebisenge ebibiri,
    n’okuŋŋaanya ag’ekidiba ekikadde,
naye tewatunuulira Oyo eyakisima,
    wadde okussaamu ekitiibwa Oyo eyakiteekateeka mu biro eby’edda.

12 (D)Ku lunaku olwo Mukama Katonda ow’Eggye
    yalangirira okukaaba n’okukuba ebiwoobe,
n’okwemwako enviiri
    n’okwambala ebibukutu.
13 (E)Naye laba, ssanyu na kujaguza,
    okubaaga ente n’okutta endiga,
    okulya ennyama n’okunywa envinnyo.
Mwogere nti, “Leka tulye, era tunywe
    kubanga enkya tunaafa.”

14 (F)Mukama ow’Eggye akimbikulidde n’aŋŋamba nti, “Ekibi kino tekirisonyiyibwa wadde okuggyibwawo okutuusa lw’olifa,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

Yakobo 4:4-10

(A)Mmwe abenzi temumanyi ng’okuba mikwano gy’ensi bulabe eri Katonda? Noolwekyo omuntu yenna bw’alondawo okuba mukwano gw’ensi afuuka mulabe wa Katonda. Oba mulowooza nti Ekyawandiikibwa tekiba na makulu bwe kigamba nti, “Omwoyo gwe yassa mu ffe, atulabirira n’okwagala okujjudde obuggya”? (B)Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti,

“Katonda alwana n’ab’amalala
    naye abawombeefu abawa ekisa.”

(C)Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga. (D)Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga. (E)Mukungubage, mukube ebiwoobe era mukaabe. Okuseka kwammwe kufuuke okukungubaga, n’essanyu lifuuke okunakuwala. 10 Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.